Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omutima Gwo Gusse ku by’Obugagga eby’Omwoyo

Omutima Gwo Gusse ku by’Obugagga eby’Omwoyo

“Eby’obugagga byammwe gye bibeera, n’emitima gyammwe gye gibeera.”LUK. 12:34.

ENNYIMBA: 153, 104

1, 2. (a) Eby’obugagga eby’omwoyo ebisatu Yakuwa by’atuwadde bye biruwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

YAKUWA y’asingayo obugagga mu ggulu ne ku nsi. (1 Byom. 29:11, 12) Olw’okuba Yakuwa mugabi, abo bonna abatwala ebintu eby’omwoyo ng’ekintu eky’omuwendo abibagabira mu bungi. Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa atuwadde eby’obugagga eby’omwoyo, nga muno mwe muli (1) Obwakabaka bwe, (2) omulimu gw’okubuulira, ne (3) amazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kye! Kyokka bwe tutaba beegendereza, tuyinza okulekera awo okusiima eby’obugagga ebyo, ne tubisuula. Okusobola okubinyweza, tusaanidde okubikozesa obulungi era n’okufubanga okuzza obuggya okwagala kwe tulina eri eby’obugagga ebyo. Yesu yagamba nti: “Eby’obugagga byammwe gye bibeera, n’emitima gyammwe gye gibeera.”Luk. 12:34.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukulaakulanya okwagala kwe tulina eri Obwakabaka bwa Katonda, omulimu gw’okubuulira, n’eri amazima. Nga twekenneenya ekitundu kino, fumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okwongera okunyweza okwagala kw’olina eri eby’obugagga ebyo eby’omwoyo.

OBWAKABAKA BWA KATONDA—LUULU EY’OMUWENDO ENNYO

3. Kiki omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu kye yali amaliridde okukola okusobola okufuna luulu ey’omuwendo omungi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 9.)

3 Soma Matayo 13:45, 46. Yesu yagera olugero olukwata ku musuubuzi eyali anoonya luulu. Okumala emyaka mingi, omusuubuzi oyo yagula era n’atunda luulu nnyingi. Naye lumu yazuula luulu ey’omuwendo okusinga endala zonna ze yali alabyeko. Okusobola okugula luulu eyo, yali alina okutunda ebintu byonna bye yalina. Kya lwatu nti omusuubuzi oyo luulu eyo yali agitwala nga ya muwendo nnyo.

4. Bwe tuba twagala Obwakabaka bwa Katonda, kiki kye tujja okukola?

4 Kiki kye tuyigira ku lugero olwo? Amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda galinga luulu eyo ey’omuwendo omungi. Bwe tuba twagala Obwakabaka ng’omusuubuzi oyo bwe yali ayagala luulu, tujja kuba beetegefu okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okutulemesa okufugibwa Obwakabaka obwo. (Soma Makko 10:28-30.) Lowooza ku bantu babiri abaakola bwe batyo.

5. Zaakayo yakiraga atya nti yali ayagala nnyo okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda?

5 Zaakayo yali mukulu w’abasolooza b’omusolo eyali agaggawadde ennyo olw’okunyaga ssente ku bantu. (Luk. 19:1-9) Naye omusajja oyo ataali mutuukirivu bwe yawulira Yesu ng’abuulira ku Bwakabaka, yakiraba nti Obwakabaka obwo bwa muwendo nnyo era amangu ddala n’abaako ky’akolawo. Yagamba Yesu nti: “Mukama wange, kimu kya kubiri eky’ebintu bye nnina nkigabira abaavu, era buli gwe nnanyagako ssente mmuliyirira emirundi ena.” Zaakayo yeggyako eby’obugagga bye yali afunye mu makubo amakyamu era n’alekera awo okululunkanira ebintu.

6. Nkyukakyuka ki Rose ze yakola okusobola okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, era lwaki yakola enkyukakyuka ezo?

6 Emyaka mitono emabega, omukazi gwe tujja okuyita Rose yawulira ku mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka. Mu kiseera ekyo yali mulyi wa bisiyaga era ng’akulira ekibiina ekimu ekirwanirira eddembe ly’abalyi b’ebisiyaga. Naye Rose bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yakiraba nti amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda ga muwendo nnyo. Kyokka era yakiraba nti yalina okubaako enkyukakyuka ez’amaanyi z’akola. (1 Kol. 6:9, 10) Rose yava mu kibiina ekyo era n’alekayo n’omuze gw’okulya ebisiyaga. Rose yabatizibwa mu 2009, era omwaka ogwaddako yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Okwagala kwe yalina eri Yakuwa n’Obwakabaka kwali kwa maanyi nnyo okusinga okwegomba kwe okw’omubiri.Mak. 12:29, 30.

7. Tuyinza tutya okukuuma okwagala kwe tulina eri Obwakabaka bwa Katonda nga kunywevu?

7 Kya lwatu nti bangi ku ffe twakola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Bar. 12:2) Wadde kiri kityo, tukyalina okufuba ennyo. Tulina okusigala obulindaala tuleme okutwalirizibwa ebintu ebiyinza okuleetera okwagala kwe tulina eri Obwakabaka okuwola. Mu bintu ebyo mwe muli omwoyo ogw’okwagala ebintu n’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Nge. 4:23; Mat. 5:27-29) Okusobola okutuyamba okukuuma okwagala kwe tulina eri Obwakabaka bwa Katonda nga kunywevu, Yakuwa atuwadde eky’obugagga ekirala eky’omuwendo ennyo.

OMULIMU GW’OKUBUULIRA

8. (a) Lwaki Pawulo yagamba nti omulimu gw’okubuulira ‘bugagga obuli mu bibya eby’ebbumba’? (b) Pawulo yakiraga atya nti omulimu gw’okubuulira yali agutwala nga gwa muwendo?

8 Yesu yatuwa omulimu ogw’okubuulira abantu amawulire amalungi agakwata ku Bakabaka bwa Katonda n’okubayigiriza. (Mat. 28:19, 20) Omutume Pawulo omulimu ogwo yali agutwala nga gwa muwendo nnyo. Eyo ye nsonga lwaki omulimu gw’okubuulira yagwogerako ‘ng’obugagga obuli mu bibya eby’ebbumba.’ (2 Kol. 4:7; 1 Tim. 1:12) Wadde nga tetutuukiridde, obubaka bwe tubuulira busobola okutuyamba awamu n’abo abatuwuliriza okufuna obulamu obutaggwaawo. Pawulo yagamba nti: “Nkola ebintu byonna olw’amawulire amalungi nsobole okugabuulirako abalala.” (1 Kol. 9:23) Olw’okuba Pawulo yali ayagala nnyo omulimu gw’okubuulira, yakola kyonna ekisoboka okufuula abantu abayigirizwa. (Soma Abaruumi 1:14, 15; 2 Timoseewo 4:2.) Ekyo kyamuyamba okugumira okuyigganyizibwa okw’amaanyi. (1 Bas. 2:2) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo?

9. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti omulimu gw’okubuulira tugutwala nga gwa muwendo bye biruwa?

9 Engeri emu Pawulo gye yakiragamu nti omulimu gw’okubuulira yali agutwala nga gwa muwendo kwe kukozesa buli kakisa ke yafunanga okubuulira. Okufaananako abatume n’Abakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka, tubuulira mbagirawo, tubuulira mu bifo ebya lukale, era ne nnyumba ku nnyumba. (Bik. 5:42; 20:20) Era embeera zaffe bwe ziba zitusobozesa, tugaziya ku buweereza bwaffe, oboolyawo nga tuweereza nga bapayoniya abawagizi oba bapayoniya aba bulijjo. Ate era tusobola n’okuyiga olulimi olulala, okugenda okuweereza mu kitundu ekirala mu nsi yaffe, oba okugenda okuweereza mu nsi endala.Bik. 16:9, 10.

10. Mikisa ki Irene gy’afunye olw’okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu?

10 Lowooza ku mwannyinaffe ali obwannamunigina ayitibwa Irene, abeera mu Amerika. Irene yali ayagala nnyo okubuulira abantu aboogera Olulasa abaabanga bagenze mu Amerika. We yatandikira okubuulira abantu abo mu 1993, waaliwo ababuulizi nga 20 bokka mu kibinja ky’olulimi Olulasa mu kibuga New York. Kati Irene amaze emyaka nga 20 ng’abuulira abantu aboogera Olulasa. Agamba nti: “N’okutuusa leero sinnayiga bulungi kwogera Lulasa.” Wadde kiri kityo, Yakuwa amuwadde emikisa awamu n’abo abooleka omwoyo ng’ogugwe. Leero mu kibuga New York mulimu ebibiina by’Olulasa mukaaga. Era Irene yaakasomesa abantu 15 ne batuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Abamu ku bo baweereza ku Beseri, baweereza nga bapayoniya, era abamu baweereza ng’abakadde mu kibiina. Irene agamba nti: “Tewali kintu kirala kyandindeetedde ssanyu ng’eryo lye nfunye mu buweereza buno.” Mu butuufu omulimu gw’okubuulira agutwala nga gwa muwendo nnyo!

Omulimu gw’okubuulira ogutwala ng’eky’obugagga, era ekyo kyeyolekera mu nteekateeka yo eya buli wiiki? (Laba akatundu 11, 12)

11. Birungi ki ebivaamu bwe tweyongera okubuulira wadde nga tuyigganyizibwa?

11 Omulimu gw’okubuulira bwe tuba nga tugutwala nga gwa muwendo, tujja kuba ng’omutume Pawulo, eyeeyongera okubuulira wadde nga yayigganyizibwa nnyo. (Bik. 14:19-22) Mu myaka gya 1930 ne mu gya 1940, baganda baffe mu Amerika baayigganyizibwa nnyo. Naye okufaananako Pawulo, baasigala nga banywevu era beeyongera okubuulira. Ate era ab’oluganda abo baalwanirira eddembe lyaffe ery’okubuulira nga bakozesa amateeka. Mu 1943, Ow’oluganda Nathan H. Knorr, bwe yali ayogera ku buwanguzi Abajulirwa ba Yakuwa bwe baatuukako mu kooti ya Amerika ey’oku ntikko, yagamba nti: “Obuwanguzi bwe tutuuseeko buvudde ku mmwe ababuulizi. Singa temwagenda mu maaso n’okubuulira, tewandibaddewo musango gutwalibwa mu kkooti ey’oku ntikko; Naye olw’okuba mmwe ababuulizi mu nsi yonna mweyongedde kubuulira, tusobodde okuwangula abatuyigganya.” Ne mu nsi endala abantu ba Yakuwa batuuse ku buwanguzi kubanga ab’oluganda basigadde nga bakola omulimu gw’okubuulira wadde nga bayigganyizibwa. Mu butuufu, okwagala kwe tulina eri omulimu gw’okubuulira kusobola okutuyamba okuwangula abo abatuyigganya.

12. Kiki ky’omaliridde okukola bwe kituuka ku mulimu gw’okubuulira?

12 Omulimu gw’okubuulira bwe tugutwala ng’eky’obugagga eky’omuwendo Yakuwa ky’atuwadde, tetujja kugukola lwa kwagala kuweza buweza ssaawa. Mu kifo ky’ekyo, tujja kukola kyonna kye tusobola “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.” (Bik. 20:24; 2 Tim. 4:5) Naye biki bye tunaayigiriza abantu? Lowooza ku ky’obugagga ekirala Katonda ky’atuwadde.

ETTEREKERO ERY’AMAZIMA GE TUYIGA

13, 14. ‘Etterekero’ Yesu lye yayogerako mu Matayo 13:52 kye ki, era tulijjuza tutya?

13 Eky’obugagga eky’okusatu kye tulina lye tterekero ery’amazima ge tuyiga. Yakuwa ye nsibuko y’amazima. (2 Sam. 7:28; Zab. 31:5) Olw’okuba Katonda mugabi, asobozesa abo bonna abamutya okuyiga amazima. Okuva lwe twatandika okuyiga amazima, tweyongedde okuyiga amazima amalala ag’omuwendo okuva mu Kigambo kya Katonda Bayibuli, okuva mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, n’okuva mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Nga Yesu bwe yagamba, ekiseera bwe kigenda kiyitawo ‘etterekero’ lyaffe lijjula amazima amapya n’amakadde. (Soma Matayo 13:52.) Bwe tweyongera okunoonya amazima ng’abanoonya eby’obugagga ebyakwekebwa, Yakuwa atuyamba okwongera mu “tterekero” lyaffe amazima amapya ge tuba tuzudde. (Soma Engero 2:4-7.) Ekyo tukikola tutya?

14 Tulina okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era tulina okunoonyereza mu Kigambo kya Katonda ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Ekyo kijja kutusobozesa okuzuula amazima ‘amapya,’ kwe kugamba, ebintu bye tubadde tetumanyi. (Yos. 1:8, 9; Zab. 1:2, 3) Magazini ya Watchtower eyasooka eyakubibwa mu Jjulaayi 1879, yagamba nti: “Amazima gasobola okugeraageranyizibwa ku kimuli ekirabika obulungi ekiri ku ttale ekyetooloddwa omuddo omuwanvu. Bw’okirengera, ofuba okulaba nga tokiggyaako maaso. . . . Bw’okituukako okutama n’okinoga. Naye tosaanidde kuba mumativu na kimuli kimu kyokka eky’amazima. . . . Weeyongera okunoonya ebirala.” Tusaanidde okufuba ennyo okwongera ku mazima agali mu tterekero lyaffe.

15. Lwaki amazima agamu tugayita ‘makadde,’ era agamu ku mazima amakadde ge galuwa?

15 Bwe twali twakatandika okuyiga Bayibuli n’abantu ba Katonda, waliwo amazima ge twayiga. Amazima ago tugayita ‘makadde’ kubanga tugamanyidde ebbanga ddene. Agamu ku mazima ago ge galuwa? Twayiga nti Yakuwa ye Mutonzi waffe, ye yatuwa obulamu, era nti ateekeddeteekedde abantu ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Era twayiga nti Yakuwa yatulaga okwagala kungi n’awaayo Omwana we atufiirire tusobole okusumululwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Ate era twayiga nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo okubonaabona kwonna ku nsi, tufune obulamu obutaggwaawo.Yok. 3:16; Kub. 4:11; 21:3, 4.

16. Kiki kye tusaanidde okukola nga waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa ebimu?

16 Oluusi n’oluusi wayinza okubaawo enkyukakyuka ezikolebwa mu ngeri gye tutegeeramu obunnabbi obumu oba ebyawandiikibwa ebimu. Enkyukakyuka ng’ezo bwe zijjawo, tusaanidde okufuba okuzeetegereza n’okuzifumiitirizaako. (Bik. 17:11; 1 Tim. 4:15) Tetusaanidde kukoma ku kwetegereza nkyukakyuka ez’amaanyi eziba zikoleddwa, wabula tulina n’okwetegereza enkyukakyuka entono eziba zikoleddwa era ne tufuba okulaba enjawulo wakati w’entegeera empya n’enkadde. Ekyo kisobola okutuyamba okwongera mu tterekero lyaffe amazima amapya. Lwaki ekyo kikulu?

17, 18. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya?

17 Yesu yagamba nti omwoyo gwa Katonda gusobola okutujjukiza ebintu bye tuba twayiga. (Yok. 14:25, 26) Ekyo kituganyula kitya nga tubuulira? Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Peter. Mu 1970 Peter yalina emyaka 19 era mu kiseera ekyo yali yaakatandika okuweereza ku Beseri y’omu Bungereza. Lumu bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, yasisinkana omusajja omukulu eyalina ekirevu ekiwanvu. Peter yabuuza omusajja oyo obanga yandyagadde okuyiga Bayibuli. Ekibuuzo ekyo kyewuunyisa omusajja oyo era n’agamba Peter nti ye yali musomesa wa ddiini y’Ekiyudaaya. Okusobola okugezesa Peter, omusajja oyo yamubuuza nti, “Mutabani, ekitabo kya Danyeri kyawandiikibwa mu lulimi ki?” Peter yamuddamu nti: “Essuula ezimu mu kitabo ekyo zaawandiikibwa mu Lulamayiki.” Peter agamba nti: “Omusajja oyo yeewuunya nnyo okulaba nti nnali mmanyi eky’okuddamu; naye nze nnasinga okwewuunya! Nnasobola ntya okumanya eky’okuddamu? Bwe nnaddayo eka ne nkebera mu magazini z’Omunaala n’eza Zuukuka! ez’emyezi egyali gyakayita, nnasangamu ekitundu ekyali kiraga nti ekitabo kya Danyeri kyawandiikibwa mu Lulamayiki.” (Dan. 2:4, obugambo obuli wansi.) Tewali kubuusabuusa nti omwoyo omutukuvu gusobola okutujjukiza ebintu bye twasoma ne tubitereka mu tterekero lyaffe.Luk. 12:11, 12; 21:13-15.

18 Amagezi agava eri Yakuwa bwe tuba nga tugatwala nga ga muwendo, kijja kutukubiriza okujjuza mu tterekero lyaffe amazima amapya n’amakadde. Bwe tweyongera okwagala n’okusiima amagezi agava eri Yakuwa, tujja kubeera bayigiriza balungi.

KUUMA EBY’OBUGAGGA BYO

19. Lwaki tulina okukuuma eby’obugagga eby’omwoyo bye tulina?

19 Sitaani n’ensi ye bakola kyonna ekisoboka okulaba nti batuleetera okulekera awo okusiima eby’obugagga eby’omwoyo bye tulabye mu kitundu kino. Bwe tuteegendereza tuyinza okulekera awo okusiima eby’obugagga ebyo. Tuyinza okutwalirizibwa emirimu egisasula obulungi, obulamu obw’okwejalabya, oba omwoyo ogw’okweraga olw’ebintu bye tulina. Omutume Yokaana yagamba nti ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo. (1 Yok. 2:15-17) N’olwekyo, tusaanidde okufuba okukuuma okwagala kwe tulina eri eby’obugagga eby’omwoyo kuleme kuwola.

20. Kiki ky’omaliridde okukola okusobola okukuuma eby’obugagga byo eby’omwoyo?

20 Beera mumalirivu okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okukuleetera okukendeeza okwagala kw’olina eri Obwakabaka bwa Katonda. Weeyongere okubuulira n’obunyiikivu. Weeyongere okunoonya amazima. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba weeterekera ‘eby’obugagga mu ggulu, omubbi gy’atatuuka era ebiwuka gye bitayinza kubiriira. Kubanga eby’obugagga byo gye biba, n’omutima gwo gye gubeera.’Luk. 12:33, 34.