EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26
Yamba Abalala Okwaŋŋanga Ebibeeraliikiriza
“Mmwenna mubeere n’endowooza emu, buli omu alumirirwe munne, mwagalane ng’ab’oluganda, musaasiragane, era mube beetoowaze.”—1 PEET. 3:8.
OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala
OMULAMWA *
1. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Kitaffe atwagala ennyo?
YAKUWA atwagala nnyo. (Yok. 3:16) Olw’okuba twagala okumukoppa tufuba ‘okulumirirwa abantu bonna, okubaagala, n’okubasaasira,’ naye “okusingira ddala bakkiriza bannaffe.” (1 Peet. 3:8; Bag. 6:10) Bakkiriza bannaffe bwe boolekagana n’ebizibu, tusaanidde okubayamba.
2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Abo bonna abaagala okuweereza Yakuwa bajja kwolekagana n’ebizibu. (Mak. 10:29, 30) Ng’enkomerero egenda esembera tuyinza okweyongera okufuna ebizibu ebirala bingi. Tuyinza tutya okuyambagana? Ka tulabe bye tuyigira ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Lutti, Yobu, ne Nawomi. Ate era tugenda kulabayo ebimu ku bizibu bakkiriza bannaffe bye boolekagana nabyo leero n’engeri gye tuyinza okubayamba okubyaŋŋanga.
BEERA MUGUMIIKIRIZA
3. Nga bwe kiragibwa mu 2 Peetero 2:7, 8, kintu ki ekitaali kya magezi Lutti kye yasalawo, era biki ebyavaamu?
3 Lutti yakola ensobi bwe yasalawo okubeera mu bantu b’e Sodomu abaali abagwenyufu ennyo. (Soma 2 Peetero 2:7, 8.) Wadde nga Sodomu kyali kibuga kigagga, Lutti yafunirayo ebizibu eby’amaanyi. (Lub. 13:8-13; 14:12) Kirabika mukyala we yayagala nnyo ekibuga ekyo oba abamu ku bantu baamu, n’atuuka n’okujeemera Yakuwa. Mukyala wa Lutti yafiirwa obulamu bwe, Yakuwa bwe yatonnyesa omuliro n’amayinja agookya mu kitundu ekyo. Ate lowooza ku bawala ba Lutti ababiri. Baali boogerezebwa abasajja, era abasajja abo baafiira mu Sodomu. Lutti yafiirwa ennyumba ye n’ebintu bye. N’ekyasinga okuba ekibi ennyo, yafiirwa mukyala we. (Lub. 19:12-14, 17, 26) Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Yakuwa yali mugumiikiriza eri Lutti.
4. Yakuwa yagumiikiriza atya Lutti? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
4 Wadde nga Lutti ye yasalawo okubeera mu Sodomu, Yakuwa yamusaasira n’atuma bamalayika be okumuwonyaawo awamu n’ab’omu maka ge. Kyokka mu kifo ky’okuva amangu mu Sodomu nga bamalayika bwe baamulagira, Lutti yadda mu ‘kwekunya.’ Bamalayika baamukwata ku mukono ne bamufulumya ekibuga awamu n’ab’omu maka ge. (Lub. 19:15, 16) Oluvannyuma bamalayika baamugamba addukire mu kitundu eky’ensozi. Naye mu kifo ky’okugondera Yakuwa, Lutti yasaba akkirizibwe okuddukira mu kibuga ekyali okumpi awo. (Lub. 19:17-20) Yakuwa yawuliriza Lutti n’obugumiikiriza n’amukkiriza okugenda mu kibuga ekyo. Oluvannyuma Lutti yatya okubeera mu kibuga ekyo, n’agenda mu kitundu eky’ensozi Yakuwa gye yali asoose okumugamba okugenda. (Lub. 19:30) Mazima ddala Yakuwa yali mugumiikiriza nnyo eri Lutti! Tuyinza tutya okumukoppa?
5-6. Tuyinza tutya okukolera ku 1 Abassessalonika 5:14?
5 Okufaananako Lutti, omu ku bakkiriza bannaffe ayinza okusalawo mu ngeri etali ya magezi ne yeereetera ebizibu eby’amaanyi. Singa ekyo kibaawo, kiki kye tunaakola? Tuyinza okwesanga nga tugambye nti, ‘Akungula kye yasiga,’ era tetuba bakyamu. (Bag. 6:7) Naye ekisinga obulungi kwe kukoppa Yakuwa ne tuyamba muganda waffe oyo nga Yakuwa bwe yayamba Lutti. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
6 Yakuwa yatuma bamalayika okulabula Lutti n’okumuyamba okuva mu Sodomu. Naffe kiyinza okutwetaagisa okulabula muganda waffe singa tukiraba nti agenda kugwa mu buzibu. Ate era tuyinza n’okubaako kye tukolawo okumuyamba. Ne bwe kiba nti aluddewo okukolera ku kuwabula okuba kumuweereddwa okuva mu Bayibuli, tusaanidde okuba abagumiikiriza gy’ali. Tusaanidde okuba nga bamalayika abo ababiri. Mu kifo ky’okwesamba muganda waffe, tusaanidde okunoonya engeri gye tuyinza okumuyambamu. (1 Yok. 3:18) Tuyinza okufuba okulaba engeri gye tuyinza okumuyambamu okukolera ku magezi amalungi agaba gamuweereddwa, mu ngeri eyo ne tuba ng’abamukutte ku mukono.—Soma 1 Abassessalonika 5:14.
7. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yali atwalamu Lutti?
7 Yakuwa yali asobola okusalawo okutunuulira ensobi za Lutti. Mu kifo ky’ekyo, yaluŋŋamya omutume Peetero okuwandiika nti Lutti yali musajja mutuukirivu. Nga tuli basanyufu okuba nti Yakuwa tatunoonyamu nsobi! (Zab. 130:3) Tuyinza tutya okumukoppa? Bwe tunoonya ebirungi mu bakkiriza bannaffe, kijja kutuyamba okubagumiikiriza. Era ekyo kiyinza okukifuula ekyangu gye bali okukkiriza obuyambi bwe tubawa.
BEERA MUSAASIZI
8. Okusaasira abalala kinaatuleetera kukola ki?
8 Obutafaananako Lutti, Yobu ye ebizibu bye yafuna tebyava ku kuba nti yali asazeewo bubi. Yobu yafiirwa ebintu bye, abantu baalekera awo okumussaamu ekitiibwa, era yafuna obulwadde obw’amaanyi. N’ekisinga obubi, ye ne mukyala we baafiirwa abaana baabwe bonna. Ate era mikwano gya Yobu gyamulumiriza eby’obulimba. Lwaki mikwano gya Yobu abasatu tebaamusaasira? Tebaafaayo
kumanyira ddala Yobu kye yali ayitamu. N’ekyavaamu, baafuna endowooza enkyamu ku Yobu era ne bamukolokota. Tuyinza tutya okwewala ensobi ng’eyo? Tusaanidde okukimanya nti Yakuwa y’aba amanyidde ddala ebizingirwa mu mbeera omuntu gy’aba ayitamu. Wuliriza n’obwegendereza ng’omuntu ali mu nnaku alina ky’akubuulira. Ng’oggyeeko okumuwuliriza, gezaako okweteeka mu bigere bye. Ekyo kijja kukuyamba okulumirirwa muganda wo.9. Okulumirirwa abalala kunaatuleetera kwewala kukola ki, era lwaki?
9 Okulumirirwa abalala kijja kutuyamba obutabungeesa ŋŋambo nga tubuulira buli omu ku bizibu bye balina. Omuntu ow’olugambo tazimba kibiina wabula akyawulamu. (Nge. 20:19; Bar. 14:19) Omuntu oyo taba wa kisa era ayogera tasoose kulowooza. Ebigambo bye biyinza okwongera ku bulumi omuntu abonaabona bw’aba alina. (Nge. 12:18; Bef. 4:31, 32) Nga kiba kya magezi okunoonya ebirungi mu balala n’okulaba engeri gye tuyinza okubayambamu okwaŋŋanga ebizibu bye balina!
10. Ebigambo ebiri mu Yobu 6:2, 3 bituyigiriza ki?
10 Soma Yobu 6:2, 3. Oluusi Yobu yayogeranga ebintu “ebitaliimu nsa.” Oluvannyuma yakkiriza nti ebimu ku bigambo bye yali ayogedde tebyali bituufu. (Yob. 42:6) Okufaananako Yobu, omuntu ayolekagana n’ebizibu ayinza okwogera ebintu ebitaliimu nsa era by’ayinza okwejjusa oluvannyuma. Singa ekyo kibaawo, kiki kye twandikoze? Mu kifo ky’okumuvumirira tusaanidde okumusaasira. Kijjukire nti tekyali kigendererwa kya Katonda tuyite mu bizibu bye tuyitamu leero. N’olwekyo tekitwewuunyisa singa omuweereza wa Katonda omwesigwa ayolekagana n’ebizibu amala googera. Ne bw’ayogera ebintu ebitali bituufu ku Yakuwa oba ku ffe, tetusaanidde kwanguwa kumunyiigira oba kumusalira musango olw’okwogera bw’atyo.—Nge. 19:11.
11. Abakadde bayinza batya okukoppa Eriku nga bawabula abalala?
11 Ebiseera ebimu omuntu aba ayolekagana n’ebizibu aba yeetaaga okuwabulwa. (Bag. 6:1) Abakadde bayinza batya okuwabula omuntu oyo? Basaanidde okukoppa Eriku eyalumirirwa Yobu era n’amuwuliriza bulungi. (Yob. 33:6, 7) Eriku yawabula Yobu oluvannyuma lw’okumanya endowooza ye. Okufaananako Eriku, abakadde basaanidde okuwuliriza omuntu n’obwegendereza bategeere bulungi embeera ye. Ekyo kisobola okubayamba okumutuuka ku mutima nga bamuwabula.
YOGERA MU NGERI EY’EKISA
12. Nawomi okufiirwa omwami we ne batabani be ababiri kyamukolako ki?
12 Nawomi yali mukyala mwesigwa eyali ayagala Yakuwa. Naye oluvannyuma lw’omwami we awamu ne batabani be ababiri okufa, yayagala okukyusa erinnya lye ayitibwe “Mala,” eritegeeza “Ennaku.” (Luus. 1:3, 5, 20, obugambo obuli wansi, 21) Luusi eyali muka mutabani wa Nawomi yanywerera ku Nawomi mu bizibu bye yali ayitamu. Ng’oggyeeko okuba nti Luusi yakola ebintu ebitali bimu okuyamba Nawomi naye era yayogera naye mu ngeri ey’ekisa. Mu bigambo bitono, Luusi yakyoleka nti yali ayagala nnyo Nawomi era nti yali ajja kumunywererako.—Luus. 1:16, 17.
13. Lwaki abo ababa bafiiriddwako bannaabwe mu bufumbo beetaaga okubudaabudibwa ennyo?
13 Omu ku bakkiriza bannaffe bw’afiirwa munne mu bufumbo, twetaaga okumubudaabuda ennyo. Omwami n’omukyala abafumbo bayinza okugeraageranyizibwa ku miti ebiri egikulira awamu. Emyaka bwe gigenda giyitawo emirandira gy’emiti egyo gisibagana. Omuti ogumu bwe gusigulwayo, omuti oguba gusigaddewo gukosebwa nnyo. Mu ngeri y’emu omuntu bw’afiirwa munne mu bufumbo, ayinza okufuna obulumi obw’amaanyi okumala ekiseera kiwanvu. Paula, * eyafiirwa omwami mu ngeri eyali tesuubirwa, agamba nti: “Amaanyi ganzigwamu. Nnafiirwa mukwano gwange gwe nnali nsinga okwagala. Omwami wange nnali mmubuulira buli kumu. Yasanyukiranga wamu nange era yannyambanga mu biseera ebizibu. Yampulirizanga nga mmubuulira ebyabanga binneeraliikiriza. Bwe yafa, nnawulira nga gwe basazeeko ekitundu ky’omubiri gwange.”
14-15. Tuyinza tutya okubudaabuda omuntu eyafiirwa munne mu bufumbo?
14 Tuyinza tutya okubudaabuda omuntu eyafiirwa munne mu bufumbo? Ekintu ekisooka kye tuyinza okukola kwe kwogera naye ne bwe kiba nga tekitwanguyira oba nga tetwekakasa kya kwogera. Paula, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nkimanyi nti omuntu bw’afiirwa tekiba kyangu eri abalala okwogera naye. Baba batya nti bayinza okwogera ekintu ekitajja. Naye kisingako omuntu okwogera ekintu ekitajja mu kifo ky’okusirika obusirisi.” Ate era omuntu afiiriddwa ayinza obutatusuubira kwogera kintu kya njawulo nnyo. Paula agamba nti: “Kyaŋŋumyanga nnyo mikwano gyange ne bwe bajjanga obuzzi ne baŋŋamba nti, ‘Nga kitalo nnyo.’”
15 William, eyafiirwa mukyala we agamba nti: “Kinsanyusa nnyo bwe mpulira ng’abalala boogera ku bintu ebirungi bye bajjukira ku mukyala wange; kindeetera okuwulira nti baali bamwagala. Ekyo kinzizaamu nnyo amaanyi. Ebigambo ng’ebyo bimbudaabuda nnyo, kubanga mukyala wange yali wa muwendo
nnyo gye ndi era yannyambanga nnyo.” Bianca, eyafiirwa omwami we agamba nti: “Kinzizaamu nnyo amaanyi abalala bwe basabirako awamu nange era ne bansomerayo ekyawandiikibwa kimu oba bibiri. Kinsanyusa nnyo bwe boogera ku mwami wange era bwe bampuliriza nga mmwogerako.”16. (a) Kiki kye tusaanidde okukolera omuntu eyafiirwa omuntu we? (b) Okusinziira ku Yakobo 1:27, buvunaanyizibwa ki bwe tulina?
16 Nga Luusi bwe yanywerera ku nnamwandu Nawomi, naffe tusaanidde okweyongera okuyamba abo ababa bafiiriddwa abantu baabwe. Paula, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Omwami wange bwe yali yaakafa, bangi bannyamba nnyo. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo baddamu okwemalira ku bintu byabwe ebya bulijjo. Naye nze obulamu bwange bwali bukyukidde ddala. Kiyamba nnyo singa abalala bakijjukira nti omuntu aba yafiirwa omuntu we yeetaaga okubudaabudibwa ne bwe waba nga wayiseewo emyezi oba oluusi n’emyaka.” Kyo kituufu nti abantu ba njawulo. Abamu bamanyiira mangu embeera. Naye abalala buli lwe bakola ekintu kye baakoleranga awamu ne munnaabwe eyafa, ennaku ekomawo. Engeri abantu gye bakungubagamu eyawukana. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa atukwasizza obuvunaanyizibwa okufaayo ku abo abaafiirwa bannaabwe mu bufumbo.—Soma Yakobo 1:27.
17. Lwaki twetaaga okubudaabuda abo ababa balekeddwawo bannaabwe mu bufumbo?
17 Abantu abamu boolekagana n’ennaku ey’amaanyi bannaabwe mu bufumbo bwe babalekawo. Joyce, omwami we gwe yalekawo
n’agenda n’omukazi omulala agamba nti: “Obulumi bwe nnafuna nga tugattuluddwa n’omwami wange bwali bungi nnyo okusinga kw’obwo bwe nnandifunye singa yali afudde bufi. Singa yali afudde kabenje oba bulwadde si ye yandibadde akyesaliddewo. Naye omwami wange ye yasalawo okunjabulira. Nnawulira nga mpeebuddwa era nga nfeebezeddwa.”18. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abo abatakyalina bannaabwe mu bufumbo?
18 Bwe tubaako obuntu obutonotono bwe tukolera abo ababa batakyalina bannaabwe mu bufumbo, kibakakasa nti tubaagala. Abantu abo beetaaga nnyo emikwano. (Nge. 17:17) Oyinza otya okukiraga nti oli mukwano gwabwe? Osobola okubayita ne baliirako wamu naawe ekijjulo. Oba oyinza okukola enteekateeka ne musanyukirako wamu nabo oba n’obuulirako wamu nabo. Oba olumu n’olumu oyinza okubayita ne babaawo mu kusinza kwammwe okw’amaka. Bw’okola bw’otyo, ojja kusanyusa Yakuwa kubanga “ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese” era ye ‘mukuumi wa bannamwandu.’—Zab. 34:18; 68:5.
19. Okusinziira ku 1 Peetero 3:8, kiki ky’omaliridde okukola?
19 Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, ‘ebizibu bye tulina kati tebijja kujjukirwa.’ Twesunga nnyo ekiseera ‘ebintu ebyasooka lwe biriba nga tebikyajjukirwa, era nga tebikyali mu mutima.’ (Is. 65:16, 17) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okuyambagana, tukirage mu bigambo ne mu bikolwa nti twagala bakkiriza bannaffe bonna.—Soma 1 Peetero 3:8.
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
^ lup. 5 Lutti, Yobu, ne Nawomi baaweereza Yakuwa n’obwesigwa naye era baayolekagana n’ebizibu mu bulamu bwabwe. Ekitundu kino kiraga ebyo bye tubayigirako. Ate era kiraga ensonga lwaki tusaanidde okugumiikiriza baganda baffe aboolekagana n’ebizibu, okubasaasira, n’okwogera nabo mu ngeri ey’ekisa.
^ lup. 13 Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.
^ lup. 57 EBIFAANANYI: Ow’oluganda nga musunguwavu era ng’ayogera ebigambo “ebitaliimu nsa” ng’omukadde amuwuliriza n’obugumiikiriza. Oluvannyuma ng’ow’oluganda oyo akkakkanye, omukadde amuwabula mu ngeri ey’ekisa.
^ lup. 59 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga bafunyeeyo akadde okubeerako awamu n’ow’oluganda eyafiirwa mukyala we gye buvuddeko awo. Boogera ku birungi bye bajjukira ku mukyala we.