Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

“Nnina Bingi Bye Njigidde ku Balala!”

“Nnina Bingi Bye Njigidde ku Balala!”

NNALI mu nsozi z’omu Algeria, era obudde bwali bwa kiro ng’enzikiza ekutte zzigizzigi. Eggye lyaffe erya Bufalansa lyali lisiisidde mu nsozi ezo, era olutalo mu Algeria lwali lunyiinyiitidde. Nnali nzekka mu kifo we nnali nkuumira, emabega w’entuumu y’obusawo bw’omusenyu, era nnali nkutte emmundu. Nnali nkyali awo ne mpulira ekijja kitambula. Nnasirika bwe cce awatali kwenyeenya. Nnali nnaakaweza emyaka 20 era nnali saagala kutta muntu yenna oba okuttibwa. Nnagamba nti: “Ai Katonda! Ai Katonda!”

Ekintu ekyo eky’entiisa kyakyusa obulamu bwange, kubanga okuva olwo nnatandika okugezaako okumanya Katonda. Nga sinnababuulira ekyaddirira ekiro ekyo, ka nsooke mbabuulira ebintu ebimu bye nnayitamu mu buto ebyandeetera okwagala okumanya ebikwata ku Katonda.

BYE NNAYIGIRA KU TAATA WANGE

Nnazaalibwa mu 1937 mu kabuga akayitibwa Guesnain, mu bukiikakkono bwa Bufalansa. Taata wange yali akola mu kirombe era yanjigiriza nti kikulu okukola emirimu n’obunyiikivu. Taata era yanjigiriza okukyawa obutali bwenkanya. Yakiraba nti abakozi bangi abaali bakola mu kirombe baali tebayisibwa mu ngeri ya bwenkanya era baali bakolera mu mbeera eyali essa obulamu bwabwe mu kabi. Bwe kityo yayagala okubayamba. Ng’agezaako okubayamba, yeegatta ku bibiina ebyali birwanirira eddembe ly’abalombe. Ate era obunnanfuusi bwe yalabanga mu bakulu b’amadiini ab’omu kitundu ekyo bwamuyisanga bubi. Bangi baali mu bulamu obw’okwejalabya, kyokka baasabanga ssente n’emmere abalombe abaali badaagana okweyimirizaawo. Taata yeetamwa nnyo enneeyisa y’abakulu b’amadiini ne kiba nti teyanjigiriza bikwata ku ddiini. Mu butuufu, teyayogeranga bikwata ku Katonda.

Bwe nnakula nange nnakyawa nnyo obutali bwenkanya. Ekimu ku bintu ebitali bya bwenkanya kye nnalabanga bwe busosoze obwakolebwanga ku bagwiira abaali babeera mu Bufalansa. Nnazannyanga omupiira n’abaana b’abagwiira, era nnanyumirwanga nnyo okubeera nabo. Ng’oggyeeko ekyo, maama wange yali nzaalwa ya Poland so si Bufalansa. Nnayagalanga nnyo okulaba nti abantu aba langi ez’enjawulo babeera wamu mu mirembe era nga bayisibwa kyenkanyi.

NNATANDIKA OKULOWOOZA ENNYO KU KIGENDERERWA KY’OBULAMU

Bwe nnali nga nkyali mu magye

Nnayingizibwa mu magye mu 1957. Bwe ntyo bwe nnatuuka okuba mu nsozi z’omu Algeria mu kiro kye nnayogeddeko ku ntandikwa. Oluvannyuma lw’okugamba nti, “Ai Katonda! Ai Katonda!” Nnakiraba nti ekyali kitambula teyali musirikale, wabula yali ndogoyi ey’omu nsiko! Nnawulira obuweerero bwa maanyi. Naye ekyo ekyaliwo era n’olutalo lwennyini, byandeetera okulowooza ennyo ku kigendererwa ky’obulamu. Nneebuuza nti, Lwaki weetuli? Katonda atufaako? Tulifuna emirembe egy’olubeerera?

Oluvannyuma bwe nnali nzizeeyo eka mu bazadde bange okuwummulako, nnasisinkana omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Yampa enkyusa ya Bayibuli ey’Olufalansa eyitibwa La Sainte Bible ngisome nga nzizeeyo mu Algeria. Ekyawandiikibwa ekyasinga okunkwatako ky’ekyo ekiri mu Okubikkulirwa 21:3, 4, awagamba nti: “Weema ya Katonda eri wamu n’abantu . . . Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.” * Ebigambo ebyo byanneewuunyisa nnyo. Muli nneebuuza nti, ‘Ddala bituufu?’ Mu kiseera ekyo nnali sirina kye mmanyi ku Katonda ne ku Bayibuli.

Bwe nnava mu magye mu 1959, nnasisinkana Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa François, eyanjigiriza amazima mangi okuva mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, yandaga okuva mu Bayibuli nti Katonda alina erinnya, era nti erinnya eryo ye Yakuwa. (Zab. 83:18) Era yannyamba okukiraba nti Katonda ajja kuleeta obwenkanya ku nsi, ajja kufuula ensi olusuku lwe, era nti ajja kutuukiriza ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 21:3, 4.

Nnakiraba nti enjigiriza ezo zaali zikola amakulu, era zankwatako nnyo. Kyokka era nnanyiigira nnyo abakulu b’amadiini olw’okuyigiriza ebintu ebitali mu Bayibuli, era nnayagala okugenda okubanenya. Nnali nkyatwaliriziddwa endowooza ya taata wange ey’okulwanyisa obutali bwenkanya era saali mugumiikiriza. Nnali njagala okubaako kye nkolawo mu bwangu!

François n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala bannyamba okukkakkana. Bannyamba okukiraba nti omulimu gw’Abakristaayo si gwa kulamula, wabula gwa kuwa bantu ssuubi okuyitira mu mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Ogwo gwe mulimu Yesu gwe yakola, era gwe yawa abagoberezi be okukola. (Mat. 24:14; Luk. 4:43) Nnalina n’okuyiga okwogera n’abantu mu ngeri ey’amagezi era ey’ekisa, ka kibe ki kye bakkiririzaamu. Bayibuli egamba: “Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna.”​—2 Tim. 2:24.

Nnakola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa era ne mbatizibwa mu 1959 ku lukuŋŋaana olumu olunene. Ku lukuŋŋaana olwo nnasisinkana mwannyinaffe ayitibwa Angèle era ne mpulira nga mmwagadde. Nnatandika okukyalangako mu kibiina mwe yali akuŋŋaanira era twafumbiriganwa mu 1960. Angèle mukyala mulungi nnyo, era kirabo kya muwendo okuva eri Yakuwa.​—Nge. 19:14.

Ku lunaku lwe twagattibwa

NNINA BINGI BYE NNAYIGIRA KU BASAJJA AB’AMAGEZI ERA ABALINA OBUMANYIRIVU

Emyaka bwe gizze giyitawo, nnina ebintu bingi bye njigidde ku b’oluganda ab’amagezi era abalina obumanyirivu. Ekimu ku bintu ebikulu bye njize kye kino: Okusobola okukola obulungi omulimu gwonna ogutali mwangu, tulina okuba abeetoowaze era n’okukolera ku magezi agali mu Engero 15:22, awagamba nti: “Bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.”

Nga tuli mu mulimu gw’okukyalira ebibiina mu Bufalansa mu 1965

Mu 1964, nnatandika okulaba obutuufu bw’ebigambo ebyo. Mu mwaka ogwo nnatandika okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubazimba mu by’omwoyo. Naye mu kiseera ekyo nnalina emyaka 27 era saalina bumanyirivu. Bwe kityo waliwo ensobi ze nnakolanga. Naye nnafuba okubaako kye nziyigirako. N’ekisinga obukulu, nnayiga ebintu bingi okuva eri “abawi b’amagezi” abalungi era abaalina obumanyirivu.

Nzijukira ekyaliwo bwe nnali nnaakafuuka omulabirizi akyalira ebibiina. Bwe nnamala okukyalira ekibiina ekimu mu Paris, ow’oluganda omu omukulu mu by’omwoyo yaŋŋamba nti yalina kye yali ayagala okwogerako nange. Nnamugamba nti, “tekirina buzibu.”

Yambuuza nti, “Louis, omusawo bw’agenda awaka w’omuntu aba agenze kulaba ani?”

Nnamuddamu nti aba agenze kulaba mulwadde.

Yaŋŋamba nti: “Ekyo kituufu. Naye nkyetegerezza nti bw’okyalira ekibiina, ebiseera byo ebisinga obungi obimala n’abo abakola obulungi mu by’omwoyo, gamba ng’abo abalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina. Ekibiina kyaffe kirimu ab’oluganda bangi ne bannyinnaffe abeetaaga okuzzibwamu amaanyi, abapya, n’abalina ensonyi. Kyandibasanyusizza nnyo singa owaayo akadde n’obeerako nabo oba n’ogendako ewaabwe n’oliirako wamu nabo ekijjulo.”

Amagezi ow’oluganda oyo ge yampa gaali malungi nnyo. Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe yalina eri endiga za Yakuwa. Wadde nga tekyannyanguyira kukkiriza nti nnali nkola nsobi, nnakolera ku magezi ge yampa. Nneebaza Yakuwa olwa baganda bange ng’abo.

Mu 1969 ne mu 1973, nnalondebwa okulabirira ekitongole ekyali kikola ku by’emmere ku nkuŋŋaana ebbiri ennene ezeetabwamu ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo ezaali mu Colombes Paris. Ku lukuŋŋaana olwaliwo mu 1973, twalina okuliisa abantu nga 60,000 okumala ennaku ttaano! Ekyo kyantiisa nnyo. Naye ne ku luno, okukolera ku magezi agali mu Engero 15:22 kyannyamba. Nneebuuza ku b’amagezi. Nnasaba ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo abaalina obumanyirivu mu by’emmere okunnyambako. Muno mwe mwali abakinjaagi, abalimi b’enva endiirwa, abafumbi, n’abamanyi okugula ebintu. Okukolera awamu kyatuyamba okutuukiriza omulimu ogwo ogutaali mwangu.

Mu 1973, nze ne mukyala wange twayitibwa okuweereza ku Beseri mu Bufalansa. Omulimu gwe baasooka okumpa nagwo tegwali mwangu. Nnalina okutuusa ebitabo ku b’oluganda mu nsi emu eya Afirika eyitibwa Cameroon, omulimu gwaffe gye gwali gwawerebwa okuva mu 1970 okutuuka mu 1993. Nnali sisuubira nti nnandisobodde okukola omulimu ogwo. Kirabika ow’oluganda eyali alabirira ofiisi y’ettabi mu Bufalansa ekyo yakitegeera. Yanzizaamu amaanyi ng’aŋŋamba nti: “Baganda baffe mu Cameroon beetaaga nnyo emmere ey’eby’omwoyo. Ka tugibatuuseeko!” Era ddala twagibatuusaako.

Nga tuli ku lukuŋŋaana olw’enjawulo mu Nigeria awamu n’ab’oluganda okuva e Cameroon mu 1973

Enfunda n’efunda nnagendanga ku nsalo z’amawanga agaali galiraanye Cameroon okusisinkana abakadde b’omu nsi eyo. Abasajja abo abavumu era abaali ab’amagezi bannyamba okufuna engeri y’okutuusaamu ebitabo mu Cameroon, ab’oluganda basobole okubifuna. Yakuwa yawa omukisa okufuba kwaffe. Mu butuufu okumala emyaka 20, abantu ba Yakuwa mu nsi eyo baafunanga Omunaala gw’Omukuumi obutayosa n’akatabo k’enkuŋŋaana akaayitibwanga Our Kingdom Service akaafulumanga buli mwezi.

Mu 1977, nze ne Angèle bwe twali e Nigeria twanyumirwa nnyo okubeerako awamu n’abalabirizi abakyalira ebibiina awamu ne bakyala baabwe abaava e Cameroon

NNINI BINGI BYE NNAYIGIRA KU MUKYALA WANGE

Okuviira ddala lwe twatandika okwogerezeganya, nnakiraba nti Angèle’s yali mukazi eyettanira ebintu eby’omwoyo. Ekyo kyeyongera okweyolekera ddala nga tumaze n’okufumbiriganwa. Mu butuufu, ku lunaku lwennyini lwe twafumbiriganwa yaŋŋamba nsabe Yakuwa mmutegeeze nti twagala okumuweereza mu bujjuvu nga tuli bafumbo. Essaala eyo Yakuwa yagiddamu.

Angèle era annyambye okweyongera okwesiga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, mu 1973 bwe twayitibwa okuweereza ku Beseri, nnawulira nga saagala kugenda, kubanga nnali nnyumirwa omulimu gw’okukyalira ebibiina. Naye Angèle yanzijukiza nti twali twewaayo eri Yakuwa. N’olwekyo twalina okukola buli kimu ekibiina kya Yakuwa kye kitugamba okukola. (Beb. 13:17) Ekyo nnali sisobola kukiwakanya! N’olwekyo twagenda ku Beseri. Olw’okuba Angèle mukyala mwegendereza, wa magezi, era ayagala nnyo Yakuwa, ekyo kituganyudde nnyo mu myaka gye tumaze mu bufumbo bwaffe era kituyambye okusalangawo mu ngeri ey’amagezi.

Nga ndi ne Angèle ku Beseri mu Bufalansa

Wadde nga tukaddiye, Angèle yeeyongedde okumpagira. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba mangi ku masomero g’ekibiina gakubirizibwa mu Lungereza, nze ne Angèle twafuba okwongera okuyiga olulimi olwo. Wadde nga twali mu myaka 70 mu kiseera ekyo, twasalawo okugenda mu kibiina ekyali kyogera Olungereza. Olw’okuba nnali ku Kakiiko k’Ettabi, kyanzibuwaliranga okufuna obudde okuyiga olulimi olulala. Naye nze ne Angèle buli omu yawagiranga munne. Wadde nga kati tuli mu myaka 80, tukyeyongera okutegeka enkuŋŋaana mu Lungereza n’Olufalansa. Ate era tufuba nga bwe tusobola okwenyigira mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira awamu n’ekibiina kyaffe. Yakuwa atuwadde emikisa olw’okufuba okuyiga Olungereza.

Ogumu ku mikisa egyo twagufuna mu 2017. Nze ne Angèle twafuna enkizo ey’okugenda mu Ssomero Eritendeka ab’Oluganda Abali ku Bukiiko bw’Amatabi ne Bakyala Baabwe, eribeera ku Watchtower Educational Center e Patterson, New York.

Mazima ddala Yakuwa ye Muyigiriza Asingiridde. (Is. 30:20) N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu be, abato n’abakulu, bafuna okuyigirizibwa okusingayo obulungi! (Ma. 4:5-8) Mu butuufu nkyetegerezza nti abavubuka abawuliriza Yakuwa n’ab’oluganda ne bannyinaffe abakuze mu by’omwoyo, basalawo mu ngeri ey’amagezi era baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Engero 9:9 wagamba nti: “Yigiriza omuntu ow’amagezi, aneeyongera okuba ow’amagezi. Yigiriza omutuukirivu, aneeyongera okuyiga.”

Ntera okujjukira ebyo ebyaliwo mu kiro nga tuli mu nsozi ez’omu Algeria emyaka 60 emabega. Nnali simanyi nti ebirungi bingi byali binnindiridde mu maaso. Nnina bingi bye njigidde ku balala! Nze ne Angèle, Yakuwa atuwadde emikisa mingi nnyo mu bulamu. N’olwekyo tuli bamalirivu okweyongera okuyigira ku Kitaffe ow’omu ggulu ne ku baganda baffe ne bannyinaffe ab’amagezi era abalina obumanyirivu, abamwagala.

^ lup. 11 Enkyusa ey’Ensi Empya.