Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Abantu b’Edda Baakozesanga Ebitoogo mu Kukola Amaato?

Ebitoogo

ABANTU bangi bakimanyi nti edda abantu mu Misiri okusingira ddala baawandiikanga ku bitoogo. Abayonaani n’Abaruumi nabo baawandiikanga ku bitoogo. * Kyokka abantu bangi tebakimanyi nti ebitoogo byakozesebwanga ne mu kukola amaato.

Obwato bubiri obuli mu ntaana emu mu Misiri obulaga engeri amaato g’ebitoogo gye gaalabikangamu

Emyaka egisukka mu 2,500 emabega, nnabbi Isaaya yagamba nti abantu abaali babeera “mu kitundu ky’emigga gya Esiyopiya,” baatuma “ababaka okuyita ku nnyanja, bayite ku mazzi nga bali mu maato ag’ebitoogo.” Ate oluvannyuma nnabbi Yeremiya yagamba nti Abameedi n’Abaperusi bandirumbye Babulooni, ne bookya ‘amaato gaabwe ag’ebitoogo’ baleme kutoloka.​—Is. 18:1, 2; Yer. 51:32.

Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, n’olwekyo abo abasoma Bayibuli tekibeewuunyisa singa abo abeekenneenya ebintu eby’edda, bazuula obukakafu obulaga nti ebitoogo byakozesebwanga edda okukola amaato. (2 Tim. 3:16) Kiki ekizuuliddwa? Abo abanoonyereza ku bintu eby’edda, bazudde obukakafu obulaga nti mu Misiri baakozesanga ebitoogo okukola amaato.

AMAATO G’EBITOOGO BAAGAKOLANGA BATYA?

Mu ntaana eziri mu Misiri mulimu ebifaananyi ebisiige n’ebyayolebwa ku bisenge, ebiraga engeri abantu gye baakuŋŋaanyanga ebitoogo ne babikolamu amaato. Abantu baasalanga ebitoogo ne babisiba mu binywa, ate ebinywa ebyo ne babisibira wamu. Ekitoogo kiba n’ensonda ssatu. N’olwekyo ebitoogo bwe bisibibwa awamu, ekinywa kiba kyekutte bulungi era nga kinywevu. Okusinziira ku kitabo A Companion to Ancient Egypt, amaato agaakolebwanga mu bitoogo gaabanga n’obuwanvu bwa ffuuti nga 55 nga ku buli luuyi wasobola okubaayo abantu nga 10 oba 12 abakuba enkasi.

Ebifaananyi ebyoleddwa ku kisenge mu Misiri ebiraga engeri gye baakolangamu amaato g’ebitoogo

LWAKI ABAKOZI B’AMAATO BAAKOZESANGA EBITOOGO?

Mu Misiri ebitoogo byabanga bingi okumpi n’Omugga Kiyira. Ate era amaato g’ebitoogo gaali mangu okukola. Abantu ne bwe baatandika okukozesa emiti okukola amaato amanene, kirabika abavubi n’abayizzi beeyongera okukozesa amaato g’ebitoogo.

Abantu beeyongera okukozesa amaato g’ebitoogo okumala ekiseera kiwanvu. Omuwandiisi Omuyonaani ayitibwa Plutarch, eyaliwo mu kiseera ky’abatume, yagamba nti abantu baali bakyakozesa amaato g’ebitoogo mu kiseera ekyo.

^ lup. 3 Ebitoogo bikulira bulungi mu ntobazi ne mu mazzi agatatambulira ku sipiidi ya maanyi. Ekitoogo kisobola okuwanvuwa ffuuti nga 16, ate era kisobola okuba n’obunene bwa inci nga 6 wansi.