Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18

Oneesittala ku Lwa Yesu?

Oneesittala ku Lwa Yesu?

“Alina essanyu oyo ateesittala ku lwange.”​—MAT. 11:6.

OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”

OMULAMWA *

1. Kiki ekiyinza okuba nga kyakwewuunyisa lwe wasooka okubuulirako abalala ku ebyo ebiri mu Bayibuli?

OJJUKIRA ekiseera lwe wakitegeera nti ozudde amazima? Bye wali oyize mu Bayibuli byali bitegeerekeka bulungi nnyo! Muli wawulira nti buli omu ajja kukkiriza ebintu by’okkiriza. Wali mukakafu nti obubaka obuli mu Bayibuli busobola okuyamba abantu bonna okuba n’obulamu obw’essanyu kati n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. (Zab. 119:105) N’olwekyo wabuulira bonna nga mw’otwalidde mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo ku mazima ge wali ozudde. Naye kiki ekyabaawo? Kiyinza okuba nga kyakwewuunyisa nnyo bangi bwe baagaana ebyo bye wababuulira.

2-3. Abantu abasinga obungi mu kiseera kya Yesu baamutwala batya?

2 Tekisaanidde kutwewuunyisa abalala bwe bagaana obubaka bwe tubabuulira. Mu kiseera kya Yesu abantu abasinga obungi tebaamukkiriza wadde nga yakola ebyamagero, ekyali kiraga nti Katonda yali wamu naye. Ng’ekyokulabirako, Yesu yazuukiza Laazaalo, ekyamagero n’abo abamuziyiza kye baali batasobola kuwakanya. Wadde kyali kityo, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya tebakkiriza nti Yesu ye yali Masiya. Mu kifo ky’ekyo, baayagala okutta Yesu ne Laazaalo!​—Yok. 11:47, 48, 53; 12:9-11.

3 Yesu yali akimanyi nti abantu abasinga obungi bandigaanye okukikkiriza nti ye yali Masiya. (Yok. 5:39-44) Yagamba abamu ku bayigirizwa ba Yokaana Omubatiza nti: “Alina essanyu oyo ateesittala ku lwange.” (Mat. 11:2, 3, 6) Lwaki abantu bangi baagaana okukkiriza Yesu?

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino n’ekiddako tugenda kulaba ensonga eziwerako lwaki abantu bangi mu kyasa ekyasooka tebakkiririza mu Yesu. Ate era tugenda kulaba lwaki abantu bangi leero bagaana obubaka bwaffe. N’ekisinga obukulu, tugenda kulaba lwaki tusobola okuba n’okukkiriza okunywevu mu Yesu kituyambe obuteesittala.

(1) YESU GYE YAKULIRA

Bangi beesittala olw’embeera Yesu gye yakuliramu. Ekintu ekyo kye kimu kiyinza kitya okuviirako abamu leero okwesittala? (Laba akatundu 5) *

5. Kiki ekiyinza okuba nga kyaleetera abamu okulowooza nti Yesu si ye yali Masiya eyasuubizibwa?

5 Bangi beesittala olw’embeera Yesu gye yakuliramu. Baali bakikkiriza nti Yesu yali muyigiriza mulungi nnyo era nti yali akola ebyamagero. Wadde kyali kityo, baali bamutwala butwazi nga mutabani w’omubazzi omwavu. Ate era yali ava Nazaaleesi, akabuga abantu ke bayinza okuba nga baali batwala ng’akataali kakulu. Ne Nassanayiri eyafuuka omuyigirizwa wa Yesu, mu kusooka yagamba nti: “Waliwo ekirungi ekiyinza okuva e Nazaaleesi?” (Yok. 1:46) Nassanayiri ayinza okuba nga yali tayagala kibuga Yesu gye yali abeera mu kiseera ekyo. Oba ayinza okuba nga yalina mu birowoozo obunnabbi obuli mu Mikka 5:2, obwali bulaga nti Masiya yali wa kuzaalibwa mu Besirekemu so si mu Nazaaleesi.

6. Kiki ekyali kisobola okuyamba abantu mu kiseera kya Yesu okumanya nti ye yali Masiya?

6 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Nnabbi Isaaya yagamba nti abalabe ba Yesu ‘tebandifuddeyo kumanya bikwata ku nsibuko ya Masiya.’ (Is. 53:8) Bingi ebikwata ku Masiya byali byayogerwako mu bunnabbi. Singa abantu abo baawaayo ebiseera ne beekenneenya ebyo ebikwata ku Yesu. Bandikitegedde nti yazaalibwa mu Besirekemu era nti yali ava mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Luk. 2:4-7) Yesu yazaalibwa mu kitundu ekyayogerwako mu bunnabbi obuli mu Mikka 5:2. Kati olwo obuzibu bwava wa? Abantu baayanguwa okusalawo nga tebasoose kwetegereza byonna bizingirwamu. Ekyo kyabaviirako okwesittala.

7. Lwaki bangi leero tebaagala kufuuka Bajulirwa ba Yakuwa?

7 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Okutwalira awamu, abantu ba Yakuwa si bagagga era si batutumufu; bangi babatwala ‘ng’abatali bayigirize.’ (Bik. 4:13) Abantu abamu balowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa tebasaanidde kuyigiriza bikwata ku Bayibuli olw’okuba tebagenda mu masomero ga nsi agayigiriza eby’eddiini. Ate abantu abalala bagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa “ddiini y’Abamerika,” naye ekituufu kiri nti, abasinga obungi ku Bajulirwa ba Yakuwa tebabeera mu Amerika. Ate abalala bagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiririza mu Yesu. Emyaka bwe gizze giyitawo, abamu babaddenga bagamba nti abantu ba Yakuwa “Bakomunisiti,” “bambega ba Amerika,” era “bannalukalala.” N’olwekyo abantu abamu tebaagala kufuuka Bajulirwa ba Yakuwa olw’ebintu ng’ebyo ebikyamu bye batuwulirako n’olw’obutamanya bituufu bitukwatako.

8. Okusinziira ku Ebikolwa 17:11, kiki abantu kye balina okukola okusobola okumanya abantu ba Katonda leero?

8 Omuntu ayinza atya okwewala okwesittala? Kikulu okwetegereza obukakafu. Ekyo omuwandiisi w’Enjiri ya Lukka kye yamalirira okukola. Yafuba okunoonyereza ebintu byonna “n’obwegendereza okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo.” Yayagala abantu abandisomye ebyo by’awandiise ‘bakakase’ ebyo bye baali bawulidde ku Yesu. (Luk. 1:1-4) Abayudaaya abaali babeera mu Beroya baali nga Lukka. Bwe baawulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu, beekenneenya n’obwegendereza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okukakasa ebyo bye baali babagamba. (Soma Ebikolwa 17:11.) Mu ngeri y’emu, abantu leero basaanidde okwekenneenya obukakafu. Basaanidde okugeraageranya ebyo abantu ba Katonda bye bayigiriza n’ebyo Ebyawandiikibwa bye bigamba. Ate era basaanidde okwekenneenya ebyo ebikwata ku bantu ba Yakuwa mu kiseera kyaffe. Bwe beekenneenya obukakafu tebajja kukkiriza kubuzaabuzibwa bintu bya bulimba abantu bye boogera.

(2) YESU YAGAANA OKUKOLA EBYAMAGERO OLW’OKWERAGA OBWERAZI

Bangi beesittala olw’okuba yagaana okukola ebyamagero olw’okweraga obwerazi. Ekintu ekyo kye kimu kiyinza kitya okuviirako abamu leero okwesittala? (Laba akatundu 9-10) *

9. Kiki ekyaliwo Yesu bwe yagaana okulaga akabonero okuva mu ggulu?

9 Abantu abamu mu kiseera kya Yesu tebaali bamativu n’okuyigiriza kwe. Baali baagala ekisingawo ku ekyo. Baamugamba abalage “akabonero okuva mu ggulu” bakakase nti ye yali Masiya. (Mat. 16:1) Oboolyawo baamusaba okukola akabonero ako olw’okutegeera obubi ebyo ebiri mu Danyeri 7:13, 14. Kyokka si kye kyali ekiseera kya Yakuwa obunnabbi obwo okutuukirizibwa. Ebyo Yesu bye yali ayigiriza byali bimala okubakakasa nti ye yali Masiya. Naye bwe yagaana okubalaga akabonero ke baali baagala, beesittala.​—Mat. 16:4.

10. Yesu yatuukiriza atya ebyo Isaaya bye yayogera ku Masiya?

10 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Nnabbi Isaaya yayogera bw’ati ku Masiya: “Talireekaana wadde okuyimusa eddoboozi lye, era eddoboozi lye teririwulirwa mu luguudo.” (Is. 42:1, 2) Yesu bwe yali mu buweereza bwe obw’oku nsi, teyeenoonyeza bitiibwa. Teyazimba yeekaalu eziwuniikiriza, teyayambala byambalo bya njawulo abakulu b’amadiini bye baayambalanga era teyayagala bantu kumuyita bitiibwa. Yesu bwe yali awozesebwa yagaana okukola ebyamagero okusanyusa Kabaka Kerode. (Luk. 23:8-11) Wadde nga Yesu alina ebyamagero bye yakola, ekigendererwa kye ekikulu kwali kubuulira mawulire amalungi. Yagamba abayigirizwa be nti ekyo kye kyamuleeta.​—Mak. 1:38.

11. Ndowooza ki enkyamu abamu ze balina leero?

11 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Leero abantu bangi batwalirizibwa nnyo bwe balaba amasinzizo amanene agajjudde ebintu eby’ebbeeyi, ebitiibwa ebiyitibwa abakulu b’amadiini, n’emikolo egikuzibwa gye batamanyi na nsibuko yaagyo. Naye abantu abagenda mu masinzizo ng’ago tebalina kya maanyi kye bayiga ku Katonda ne ku bigendererwa bye. Kyokka abo abajja mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa bayiga ebyo Yakuwa by’abeetaagisa era n’engeri gye basobola okubikolerako. Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka biba biyonjo era nga birabika bulungi, wadde nga biba tebitimbiddwa bintu bya bbeeyi. Abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa tebambala ngoye za njawulo; era tebayitibwa bitiibwa bya njawulo. Enjigiriza zaffe n’ebyo bye tukkiririzaamu byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. Wadde kiri kityo, bangi leero bagaana obubaka bwaffe olw’okuba tetukola mikolo na bulombolombo ebiri mu madiini amalala era olw’okuba bye tuyigiriza si bye baagala okuwulira.

12. Nga bwe kiragibwa mu Abebbulaniya 11:1, 6, okukkiriza kwaffe tulina kukuzimbira ku ki?

12 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo mu Rooma nti: “Okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo. Era ekigambo kiwulirwa nga waliwo ayogera ebikwata ku Kristo.” (Bar. 10:17) N’olwekyo tuzimba okukkiriza kwaffe nga twekenneenya Ebyawandiikibwa, so si nga twenyigira mu mikolo gy’eddiini egitali gya mu Byawandiikibwa, ka gibe nga gisanyusa gitya. Tulina okuba n’okukkiriza okunywevu okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu kubanga “awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda.” (Soma Abebbulaniya 11:1, 6.) N’olwekyo tetwetaaga kabonero kawuniikiriza okuva mu ggulu, okukakasa nti twazuula amazima. Okwekenneenya n’obwegendereza enjigiriza za Bayibuli kimala okutukakasa nti twazuula amazima, n’okuggwaamu okubuusabuusa kwonna.

(3) YESU TEYAGOBERERA BUNGI KU BULOMBOLOMBO BW’ABAYUDAAYA

Bangi beesittala olw’okuba yagaana okugoberera obumu ku bulombolombo bwabwe. Ekintu ekyo kye kimu kiyinza kitya okuviirako abamu leero okwesittala? (Laba akatundu 13) *

13. Kiki ekyaleetera bangi okunyiigira Yesu?

13 Abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza kyabeewuunyisa nnyo okuba nti abayigirizwa ba Yesu baali tebasiiba. Yesu yabagamba nti abayigirizwa be kyali tekibeetaagisa kusiiba ng’akyali mulamu. (Mat. 9:14-17) Wadde kyali kityo Abafalisaayo n’abalala abaali bawakanya Yesu baamunenya olw’okuba yali tagoberera bulombolombo bwabwe. Kyabanyiizanga nnyo bwe yawonyanga abantu ku Ssabbiiti. (Mak. 3:1-6; Yok. 9:16) Wadde ng’Abafalisaayo baali beenyumiririza nnyo mu kukwata Ssabbiiti, tebaakisangangamu buzibu kukolera bizineesi mu Yeekaalu. Baanyiga nnyo Yesu bwe yabanenya olw’ekintu ekyo. (Mat. 21:12, 13, 15) Ate abantu Yesu be yayigiriza mu kuŋŋaaniro ly’e Nazaaleesi, baanyiga nnyo Yesu bwe yakozesa ebyokulabirako okuva mu byafaayo by’Abayisirayiri okulaga nti baali beefaako bokka era nti tebaalina kukkiriza. (Luk. 4:16, 25-30) Abantu bangi baagaana okukkiriza Yesu kubanga yali teyeeyisa mu ngeri gye baali bamusuubira kweyisa.​—Mat. 11:16-19.

14. Lwaki Yesu yavumirira obulombolombo bw’abantu obwali bukontana n’Ebyawandiikibwa?

14 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Okuyitira mu nnabbi Isaaya Yakuwa yagamba nti: “Abantu bano bantuukirira na mimwa gyabwe era banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye emitima gyabwe gindi wala; era ebiragiro by’abantu bye baayigirizibwa bye basinziirako okuntya.” (Is. 29:13) Yesu yali mutuufu okuvumirira obulombolombo bw’abantu obwali bukontana n’Ebyawandiikibwa. Abo abaali bakulembeza amateeka n’obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’okukulembeza Ebyawandiikibwa baagaana Yakuwa n’oyo gwe yalonda okuba Masiya.

15. Lwaki abantu bangi leero tebaagala Bajulirwa ba Yakuwa?

15 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Bangi leero banyiiga Abajulirwa ba Yakuwa bwe bagaana okubeegattako mu kukuza emikolo egikontana n’Ebyawandiikibwa, gamba ng’okukuza amazaalibwa ne Ssekukkulu. Ate abalala banyiiga Abajulirwa ba Yakuwa bwe bagaana okubeegattako mu kukuza emikolo gy’eggwanga oba mu kukola obulombolombo obukontana n’Ekigambo kya Katonda obukolebwa ng’omuntu afudde. Abo abakyawa Abajulirwa ba Yakuwa olw’okuba tebeenyigira mu bintu ebyo bayinza okuba nga balowooza nti basinza Katonda mu ngeri gy’asiima. Naye tebasobola kusanyusa Katonda bwe kiba nti bakulembeza obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’amazima agasangibwa mu Bayibuli.​—Mak. 7:7-9.

16. Okusinziira ku Zabbuli 119:97, 113, 163-165, kiki kye tulina okukola era kiki kye tulina okwewala?

16 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? Tulina okwagala ennyo amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye. (Soma Zabbuli 119:97, 113, 163-165.) Bwe tuba nga twagala Yakuwa tujja kwewala obulombolombo bwonna obumunyiiza. Tetujja kukkiriza kintu kyonna kwonoona nkolagana yaffe naye.

(4) YESU TEYAKYUSA GAVUMENTI

Bangi beesittala olw’okuba teyeenyigira mu bya bufuzi. Ekintu ekyo kye kimu kiyinza kitya okuviirako abamu leero okwesittala? (Laba akatundu 17) *

17. Biki bangi mu kiseera kya Yesu bye baali basuubira Masiya okukola?

17 Abamu mu kiseera kya Yesu baali baagala gavumenti ekyuke. Baali basuubira Masiya okubanunula okuva mu bufuzi bw’Abaruumi obwali bubanyigiriza. Naye bwe baagezaako okufuula Yesu kabaka waabwe, yagaana. (Yok. 6:14, 15) Ate abalala nga mw’otwalidde ne bakabona baatya nti Yesu ayinza okugezaako okukyusa gavumenti ne kiviirako Abaruumi okunyiiga ne baggyako bakabona obuyinza bwe baali babawadde. Ensonga ezo ez’eby’obufuzi zaaleetera Abayudaaya bangi okwesittala.

18. Bunnabbi ki obukwata ku Masiya bangi bwe batassaako mutima?

18 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Wadde ng’obunnabbi bungi bwalaga nti Masiya yandirwanyisizza abalabe be n’abawangula obunnabbi obulala bwalaga nti yandisoose kufa olw’ebibi byaffe. (Is. 53:9, 12) Kati olwo lwaki Abayudaaya baalina endowooza enkyamu ku Masiya? Bangi ku bo baasambajja obunnabbi bwonna obwali butasuubiza kuggyawo bizibu byabwe mu kiseera ekyo.​—Yok. 6:26, 27.

19. Ndowooza ki enkyamu eziviiriddeko bangi leero okwesittala?

19 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Bangi leero beesittala olw’okuba tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. Bangi batusuubira okulonda. Naye tukimanyi nti bwe tusalawo okulonda omuntu okutufuga, Yakuwa akitwala nti tuba tumugaanye. (1 Sam. 8:4-7) Abantu balowooza nti tusaanidde okuzimba amasomero n’amalwaliro n’okukola ebintu ebirala ng’ebyo ebiyamba abantu. Bagaana okuwuliriza obubaka bwaffe kubanga essira tulissa ku mulimu gw’okubuulira, mu kifo ky’okugezaako okugonjoola ebizibu by’abantu.

20. Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 7:21-23, essira tusaanidde kulissa ku ki?

20 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? (Soma Matayo 7:21-23.) Essira tulina kulissa ku mulimu Yesu gwe yatulagira okukola. (Mat. 28:19, 20) Tetusaanidde kuwugulibwa bya bufuzi n’okwemalira ku kugezaako okugonjoola ebizibu ebiri mu nsi. Twagala abantu era tubalumirirwa olw’ebizibu bye bayitamu, naye tukimanyi nti engeri esingayo obulungi ey’okuyambamu abantu kwe kubayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda n’okubayamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa.

21. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola?

21 Mu kitundu kino tulabye ebintu bina ebyaleetera bangi okwesittala mu kyasa ekyasooka ne bagaana okukkiriza Yesu era ebiyinza okuleetera bangi leero okugaana obubaka abayigirizwa ba Yesu bwe babuulira. Naye ebyo bye bintu byokka bye tusaanidde okwewala? Nedda. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebintu ebirala bina ebiviirako abantu okwesittala. Ka tube bamalirivu obutakkiriza kintu kyonna okutuleetera kwesittala era ka tube bamalirivu okunyweza okukkiriza kwaffe.

OLUYIMBA 56 Nyweza Amazima

^ lup. 5 Wadde nga Yesu ye muyigiriza asingayo eyali abadde ku nsi, abantu bangi mu kiseera kye beesittala ku lulwe. Lwaki? Mu kitundu kino tugenda kulabayo ensonga nnya. Ate era tugenda kulaba lwaki abantu bangi leero beesittala olw’ebyo abagoberezi ba Yesu ab’amazima bye boogera ne bye bakola. N’ekisinga obukulu tugenda kulaba lwaki tusobola okuba n’okukkiriza okunywevu mu Yesu kituyambe obuteesittala.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Firipo ng’agamba Nassanayiri okugenda eri Yesu.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Yesu ng’abuulira amawulire amalungi.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Yesu ng’awonya omusajja eyalina omukono ogwasannyalala ng’eno abalabe be bamutunuulira.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Yesu ng’agenda yekka ku lusozi.