Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20

Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ku Buweereza Bwo

Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ku Buweereza Bwo

“Siga ensigo zo . . . era towummuza mukono gwo.”​—MUB. 11:6.

OLUYIMBA 70 Noonya Abagwanira

OMULAMWA *

Oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, abayigirizwa be baabuulira n’obunyiikivu mu Yerusaalemi ne mu bitundu ebirala (Laba akatundu 1)

1. Kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abagoberezi be, era kiki kye baakola? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

YESU bwe yali ku nsi, yasigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwe era ayagala abagoberezi be nabo babe n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwabwe. (Yok. 4:35, 36) Yesu bwe yali akyali n’abayigirizwa be, baali baagala nnyo omulimu gw’okubuulira. (Luk. 10:1, 5-11, 17) Naye bwe yakwatibwa era n’attibwa, okumala akaseera, okwagala kwe baalina eri omulimu gw’okubuulira kwaddirira. (Yok. 16:32) Yesu bwe yamala okuzuukira, yakubiriza abayigirizwa be okwemalira ku mulimu gw’okubuulira. Era bwe yamala okuddayo mu ggulu, abayigirizwa be baabuulira n’obunyiikivu ne kiba nti abalabe baabwe baagamba nti: “Laba! mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe.”​—Bik. 5:28.

2. Yakuwa awadde atya omulimu gw’okubuulira omukisa?

2 Yesu yawa Abakristaayo abo abaasooka obulagirizi nga bakola omulimu gw’okubuulira, era Yakuwa yabawa emikisa ne beeyongera obungi. Ng’ekyokulabirako, ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., abantu nga 3,000 be baabatizibwa. (Bik. 2:41) Era omuwendo gw’abakkiriza gweyongerera ddala okulinnya. (Bik. 6:7) Kyokka Yesu yakiraga nti abantu bangi n’okusingawo bandikkirizza amawulire amalungi mu nnaku ez’enkomerero.​—Yok. 14:12; Bik. 1:8.

3-4. Lwaki abamu omulimu gw’okubuulira tegubanguyira, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Ffenna tufuba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gw’okubuulira. Mu nsi ezimu, kyangu omubuulizi okusigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu. Lwaki? Kubanga abantu bangi nnyo baagala okuyigirizibwa Bayibuli ne kiba nti abamu baba balina okusooka okulindako okutuusa lwe balifuna Omujulirwa wa Yakuwa asobola okubayigiriza! Naye mu nsi endala, ababuulizi tebanguyirwa mulimu gwa kubuulira kubanga abantu tebatera kubeera waka, ate abo be basanga awaka oluusi baba tebaagala kuwuliriza bubaka obuli mu Bayibuli.

4 Bw’oba ng’obeera mu kitundu gye kitali kyangu kukola mulimu gwa kubuulira, amagezi agali mu kitundu kino gayinza okukuyamba. Tugenda kulaba abamu kye bakoze okusobola okutuuka ku bantu bangi nga babuulira. Era tugenda kulaba ensonga lwaki tusobola okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu abantu ka babe nga bawuliriza obubaka bwaffe obanga tebabuwuliriza.

SIGALA NG’OLINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU NGA SI KYANGU OKUSANGA ABANTU

5. Kusoomooza ki Abajulirwa ba Yakuwa bangi kwe basanga?

5 Abajulirwa ba Yakuwa bangi bakisanga nga kizibu okutuuka ku bantu mu maka gaabwe. Ababuulizi abamu babeera mu bitundu ng’ebizimbe bingi ebisulwamu bikuumibwa butiribiri oba nga biriko ebikomera. Wayinza okubaawo omukuumi ku mulyango atakkiriza muntu yenna kuyingira okuggyako nga waliwo eyamuyise. Ababuulizi abalala basobola okutuuka ku mayumba g’abantu awatali kukugirwa kwonna, naye tebatera kusanga bantu waka. Ate abalala babuulira mu byalo oba mu bitundu ebyesudde, nga birimu abantu batono nnyo. Ababuulizi bayinza okutambula olugendo luwanvu nnyo okutuuka ku nnyumba y’omuntu oluusi ayinza n’okuba nga taliiyo! Bwe tuba nga twolekagana n’okusoomooza ng’okwo, tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Kiki kye tuyinza okukola okuvvuunuka okusoomooza ng’okwo, tusobole okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka?

6. Mu ngeri ki ababuulizi gye bali ng’abavubi?

6 Omulimu gw’okubuulira Yesu yagugeraageranya ku kuvuba. (Mak. 1:17) Abavubi abamu bayinza okuvuba okumala ennaku naye nga tebakwasa kyennyanja kyonna. Naye tebalekaayo kukola mulimu ogwo, wabula bafuba okutuukana n’embeera. Bakyusa mu biseera mwe bavubira, ekifo, oba enkola gye bakozesa okuvuba. Naffe tusobola okukola kye kimu mu mulimu gw’okubuulira. Lowooza ku magezi gano.

Bw’oba ng’obuulira mu kitundu abantu gye batatera kubeera waka, gezaako okutuuka ku bantu abo ng’ogenda gye bali mu biseera ebirala, ng’obuulira mu bifo eby’enjawulo, oba ng’okozesa enkola endala ez’okubuulira (Laba akatundu 7-10) *

7. Kiki ekiyinza okuvaamu singa tubuulira mu biseera eby’enjawulo?

7 Gezaako okugenda okubuulira mu biseera eby’enjawulo. Tusobola okutuuka ku bantu bangi singa tubuulira mu biseera we batera okubeerera awaka. Buli muntu atuuka ekiseera n’adda awaka! Ababuulizi bangi bakirabye nti bwe babuulira mu biseera eby’ettuntu oba eby’olweggulo basanga abantu bangi awaka. Ate era mu biseera ebyo abantu baba bakkakkamu era nga beetegefu okuwuliriza. Oba oyinza okukola ekyo omukadde omu ayitibwa David ky’akola. Agamba nti oluvannyuma lw’okubuulira mu kitundu okumala ekiseera, ye n’oyo gw’aba abuulira naye baddayo mu maka mwe baba batasanze bantu. Agamba nti, “Kyewuunyisa nti bwe tuddayo omulundi ogw’okubiri, mangi ku maka ago tusangamu abantu.” *

Bw’oba ng’obuulira mu kitundu abantu gye batatera kubeera waka, gezaako okutuuka ku bantu abo ng’ogenda gye bali mu biseera ebirala (Laba akatundu 7-8)

8. Tuyinza tutya okukolera ku Omubuulizi 11:6 mu buweereza bwaffe?

8 Tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino kitulaga endowooza gye tusaanidde okuba nayo. (Soma Omubuulizi 11:6.) David, ayoggeddwako waggulu teyaggwamu maanyi. Oluvannyuma lw’okugenda mu maka agamu emirundi egiwera nga tasangayo muntu, yamala n’amusanga. Omusajja oyo yali ayagala nnyo okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli era yagamba nti, “Mmaze wano emyaka nga munaana, naye sirabangako Mujulirwa wa Yakuwa ng’azze ewange.” David agamba nti, “Nkizudde nti bw’omala n’osanga abantu awaka, emirundi mingi baba beetegefu okuwuliriza obubaka bwaffe.”

Bw’oba ng’obuulira mu kitundu abantu gye batatera kubeera waka, gezaako okutuuka ku bantu abo ng’obuulira mu bifo eby’enjawulo (Laba akatundu 9)

9. Ababuulizi abamu basobodde batya okutuuka ku bantu abatali bangu kutuukako?

9 Gezaako ekifo ekirala. Okusobola okutuuka ku bantu abatali bangu kutuukako mu maka gaabwe, ababuulizi abamu bakyusizza ebifo mwe babuulirira. Ng’ekyokulabirako, enkola ey’okubuulirira ku nguudo oba okukozesa akagaali esobozesezza ababuulizi okutuuka ku bantu ababeera mu bizimbe ebitakkirizibwa kubuulirwamu. Ekyo kibasobozesa okwogera maaso ku maaso n’abantu oboolyawo be batandisobodde kutuukako. Ate era ababuulizi bangi bakizudde nti abantu batera okukkiriza ebitabo byaffe bwe basangibwa mu bifo ebya lukale gamba nga, ebifo ebiwummulirwamu, obutale, n’ebifo omukolerwa bizineesi. Floiran, omulabirizi akyalira ebibiina abeera mu Bolivia, agamba nti: “Tugenda mu butale ne mu bifo omukolerwa bizineesi wakati w’essaawa musanvu n’omwenda ez’olweggulo abasuubuzi we babeerera nga tebalina baguzi bangi. Batera okutuwuliriza era ne tutandika n’okubayigiriza Bayibuli.”

Bw’oba ng’obuulira mu kitundu abantu gye batatera kubeera waka, gezaako okutuuka ku bantu abo ng’okozesa enkola endala ez’okubuulira (Laba akatundu 10)

10. Kiki ekirala ky’oyinza okukola okusobola okutuuka ku bantu?

10 Gezaako enkola endala. Watya singa ogezezzaako enfunda n’enfunda okutuuka ku muntu, ng’okyusizzaamu ku biseera w’ogenderayo, naye era n’otomusanga waka. Waliwo engeri endala gy’oyinza okutuuka ku muntu oyo? Katarína agamba nti, “Abo be mba sisanze waka mbawandiikira amabaluwa, era amabaluwa ago ngassaamu ebyo bye nnandibadde njogera nabo.” Ekyo kituyigiriza ki? Fuba okutuuka ku buli muntu mu kitundu ky’obuuliramu ng’okozesa enkola ezitali zimu.

SIGALA NG’OLINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU NG’ABANTU TEBAAGALA KUWULIRIZA

11. Lwaki abantu abamu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe?

11 Abantu abamu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Tebalaba bwetaavu bwa kumanya Katonda oba ebyo ebiri mu Bayibuli. Tebakkiririza mu Katonda olw’okuba balaba nti mu nsi mulimu okubonaabona kungi. Tebaagala kumanya ebyo ebiri mu Bayibuli kubanga balaba obunnanfuusi bw’abakulembeze b’amadiini abeetwala okuba nti bakkiririza mu Bayibuli. Ate abalala beemalidde ku mirimu gyabwe, ku maka gaabwe, oba ku bizibu byabwe, ne kiba nti tebasobola kulaba ngeri Bayibuli gy’esobola kubayambamu. Tuyinza tutya okusigala nga tuli basanyufu, abo be tubuulira bwe baba ng’obubaka bwaffe tebabutwala nga bukulu?

12. Okukolera ku bigamba ebiri mu Abafiripi 2:4 kiyinza kitya okutuyamba mu kubuulira?

12 Laga nti ofaayo ku bantu. Abantu bangi mu kusooka abaali bataagala kuwuliriza bubaka bwaffe oluvannyuma baabuwuliriza bwe baakiraba nti omubuulizi yali abafaako. (Soma Abafiripi 2:4.) Ng’ekyokulabirako, David eyayogeddwako waggulu agamba nti, “Omuntu bw’agamba nti tayagala kuwuliriza, Bayibuli zaffe oba ebitabo byaffe tubizzaayo mu nsawo ne tumugamba nti: ‘Twandyagadde okumanya ensonga lwaki toyagala kumanya biri mu Bayibuli.’” Omuntu bw’aba afaayo ku bantu, ekyo abantu bakiraba. Bayinza okwerabira ebyo bye tuba twogedde nabo, naye kiba kizibu okwerabira engeri gye tuba tubayisizzaamu. Abantu ne bwe batatukkiriza kwogera nabo, tuyinza okukiraga mu nneeyisa yaffe ne ku ndabika yaffe ey’oku maaso nti tubafaako.

13. Tuyinza tutya okutuukanya obubaka bwaffe n’ebyetaago by’omuntu gwe tuba tubuulira?

13 Bwe tutuukanya obubaka bwaffe n’ebyetaago by’abantu be tuba tubuulira, tuba tukiraga nti tubafaako. Ng’ekyokulabirako, waliwo ekiraga nti mu maka mulimu abaana? Abazadde bayinza okwagala okuwulira amagezi Bayibuli g’ewa agakwata ku kukuza abaana, oba engeri y’okuba n’essanyu mu maka. Ku luggi kuliko kkufulu nnyingi? Tuyinza okusalawo okwogera ku bumenyi bw’amateeka ne ku kutya okuli mu bantu okwetooloola ensi. Omuntu ayinza okwagala okuwuliriza bwe tumubuulira ekyo ekinaagonjoolera ddala ekizibu ekyo. Buli lw’osanga abantu abaagala okuwuliriza, fuba okubayamba okulaba engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gasobola okubayambamu. Katarína, eyayogeddwako waggulu agamba nti, “Ntera okufumiitiriza ku ngeri amazima gye gannyambyemu mu bulamu bwange.” Ekyo kireetera Katarína okwogera nga yeekakasa, era abantu b’aba ayogera nabo bakiraba.

14. Okusinziira ku Engero 27:17, ababuulizi bayinza batya okuyambagana nga babuulirira wamu?

14 Ganyulwa mu buyambi obukuweebwa abalala. Mu kyasa ekyasooka, Pawulo yayigiriza Timoseewo okubuulira n’okuyigiriza era naye n’amukubiriza okukola kye kimu eri abalala. (1 Kol. 4:17) Okufaananako Timoseewo, naffe tusobola okuyigira ku abo abalina obumanyirivu mu kibiina. (Soma Engero 27:17.) Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Shawn. Okumala ekiseera yaweereza nga payoniya mu kyalo abantu abasinga obungi gye baali abamativu n’amadiini gaabwe. Yasobola atya okusigala nga musanyufu? Agamba nti, “Buli lwe kyabanga kisoboka nnabangako n’omubuulizi gwe nkola naye. Bwe twabanga tutambula okuva ku nnyumba emu okudda ku ndala, ekiseera ekyo twakikozesanga buli omu okuyamba munne okwongera okutereeza mu ngeri gy’ayigirizaamu. Ng’ekyokulabirako, twayogeranga ku ngeri gye twabanga tukuttemu omuntu gwe twabanga tuva okubuulira. Oluvannyuma twakubaganyanga ebirowoozo ku ngeri endala gye twandikuttemu embeera eyo singa twali tuzzeemu okugisanga.”

15. Lwaki okusaba kikulu nnyo nga tubuulira?

15 Saba Yakuwa akuyambe. Buli lw’oba ogenda okubuulira saba Yakuwa akuwe obulagirizi. Awatali buyambi bw’omwoyo omutukuvu tewali n’omu ku ffe yandisobodde kubaako ky’atuukiriza mu mulimu gw’okubuulira. (Zab. 127:1; Luk. 11:13) Bw’oba osaba Yakuwa akuyambe, mutegeereze ddala ekyo ky’oyagala. Ng’ekyokulabirako, musabe akuyambe okuzuula omuntu ayinza okuba n’endowooza ennuŋŋamu era omwetegefu okuwuliriza. Oluvannyuma kolera ku kusaba kwo ng’ofuba okubuulira abo bonna b’osanga.

16. Lwaki okwesomesa kikulu nnyo okusobola okukola obulungi omulimu gw’okubuulira?

16 Fuba okwesomesa. Bayibuli egamba nti: “Mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Bar. 12:2) Gye tukoma okuba abakakafu nti tumanyi amazima agakwata ku Katonda, gye tukoma okwogera n’abalala nga twekakasa nga tubuulira. Katarína ayogeddwako waggulu agamba nti: “Emabegako awo nnakiraba nti nnali nneetaaga okwongera okunyweza okukkiriza kwange mu zimu ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Bwe kityo nneeyongera okwekenneenya obukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi, nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda, era nti Katonda alina ekibiina ekimukiikirira leero.” Katarína agamba nti okwesomesa kwayongera okunyweza okukkiriza kwe, era kwamusobozesa okweyongera okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira.

LWAKI TUSIGALA NGA TULINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU MULIMU GW’OKUBUULIRA?

17. Lwaki Yesu yasigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gw’okubuulira?

17 Yesu yasigala alina endowooza ennuŋŋamu era yeeyongera okubuulira wadde ng’abamu baali tebaagala kuwuliriza bubaka bwe. Lwaki? Yali akimanyi nti abantu baali beetaaga nnyo okumanya amazima, era yayagala okuwa abantu bangi nga bwe kisoboka akakisa k’okuwulira obubaka bw’Obwakabaka. Ate era yali akimanyi nti abamu ku abo mu kusooka abaali bataagala kuwuliriza oluvannyuma bandiwulirizza. Lowooza ku ekyo ekyaliwo ku baganda be. Mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu Yesu kye yamala ng’abuulira, tewali n’omu ku baganda be yafuuka muyigirizwa we. (Yok. 7:5) Naye oluvannyuma lw’okuzuukira kwe baafuuka Bakristaayo.​—Bik. 1:14.

18. Lwaki tweyongera okubuulira?

18 Tetumanya baani oluvannyuma abanakkiriza amazima ge tuyigiriza. Abantu abamu batwala ekiseera kiwanvu okukkiriza obubaka bwaffe okusinga abalala. N’abo abagaana okuwuliriza obubaka bwaffe balaba empisa zaffe ennungi n’endowooza ennungi gye tulina, era oluvannyuma bayinza okutandika ‘okugulumiza Katonda.’​—1 Peet. 2:12.

19. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 3:6, 7, kiki kye tusaanidde okujjukira?

19 Bwe tuba tusimba era nga tufukirira, tulina okukijjukira nti Katonda y’akuza. (Soma 1 Abakkolinso 3:6, 7.) Ow’oluganda Getahun abeera mu Esiyopiya agamba nti, “Okumala emyaka egisukka mu 20 nze Mujulirwa wa Yakuwa nzekka eyali abeera mu kitundu ekitatera kubuulirwamu. Naye kati mu kitundu kino mulimu ababuulizi 14. Kkumi na basatu ku bo baabatizibwa, nga mw’otwalidde ne mukyala wange n’abaana bange basatu. Okutwaliza awamu mu nkuŋŋaana tubeerawo ng’abantu 32.” Getahun musanyufu okuba nti yeeyongera okubuulira nga bw’alindirira Yakuwa okuleeta abantu ab’emitima emirungi mu kibiina kye!​—Yok. 6:44.

20. Tufaananako tutya abo abataasa abantu abali mu kabi?

20 Obulamu bw’abantu bonna Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. Atuwadde enkizo ey’okukolera awamu n’Omwana we okukuŋŋaanya abantu okuva mu mawanga gonna ng’enkomerero tennajja. (Kag. 2:7) Omulimu gw’okubuulira gwe tukola gufaananako n’omulimu ogukolebwa abo abataasa abantu abali mu kabi. Era tuli ng’abantu abasindikiddwa okutaasa abantu ababuutikiddwa ettaka mu kirombe. Wadde ng’abalombe abazuulibwa nga balamu bayinza okuba abatono ennyo, omulimu oguba gukoleddwa abo ababa bataasizza obulamu bwabwe guba mukulu nnyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku mulimu gwe tukola ogw’okubuulira. Tetumanyi bantu bameka abakyali mu nsi ya Sitaani abajja okununulibwayo. Kyokka Yakuwa asobola okukozesa omuntu yenna ku ffe okubayamba. Andreas abeera mu Bolivia agamba nti, “Buli lwe wabaawo omuntu ayiga Bayibuli n’abatizibwa nkiraba nti tuba tukoledde wamu okumuyamba.” Naffe ka tufube okuba n’endowooza ng’eyo ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe. Bwe tukola tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa era tujja kufuna essanyu lingi mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira.

OLUYIMBA 66 Buulira Amawulire Amalungi

^ lup. 5 Tuyinza tutya okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe ne bwe kiba nti abantu bangi tetubasanga waka oba nga tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe? Ekitundu kino kigenda kutuwa amagezi aganaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu.

^ lup. 7 Ababuulizi bwe baba bakozesa enkola ez’enjawulo ez’okubuulira ezoogerwako mu kitundu kino, basaanidde okukikola mu ngeri etamenya mateeka agakuuma ebikwata ku bantu kinnoomu.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: (okuva waggulu okudda wansi): Omwami ne mukyala we babuulira mu kitundu gye kiri ekizibu okusanga abantu awaka. Nnannyini maka agasooka ali ku mulimu, ow’okubiri ali mu ddwaliro, ate ow’okusatu agenze kugula bintu. Omuntu ow’omu maka agasooka bamutuukako nga bagenda ewuwe mu biseera ebirala mu lunaku. Ow’omu maka ag’okubiri bamutuukako nga babuulira mu kifo ekya lukale okumpi n’eddwaliro ly’abadde agenzeemu. Ate ow’okusatu bamutuukako nga bamukubira essimu.