Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19

Tewali Kiyinza Kuleetera Batuukirivu Kwesittala

Tewali Kiyinza Kuleetera Batuukirivu Kwesittala

“Abo abaagala amateeka go baba n’emirembe mingi; tewali kiyinza kubeesittaza.”​—ZAB. 119:165.

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

OMULAMWA *

1-2. Biki omuwandiisi omu bye yayogera, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

ABANTU bukadde na bukadde bagamba nti bakkiririza mu Yesu, naye tebakolera ku ebyo bye yayigiriza. (2 Tim. 4:3, 4) Mu butuufu omuwandiisi omu yagamba nti: “Singa wabaawo omusajja omulala alinga Yesu leero n’ayogera ebyo byennyini Yesu bye yayogera . . . , twandigaanye okumukkiriza ng’abantu bwe baagaana okukkiriza Yesu emyaka 2000 emabega? . . . Eky’okuddamu kiri nti: Yee.”

2 Yesu bwe yali ku nsi abantu bangi baamuwulira ng’ayigiriza era baamulaba ng’akola ebyamagero, naye baagaana okumukkiririzaamu. Lwaki? Mu kitundu ekyayita twalaba ebintu bina ebyaleetera abantu okwesittala olw’ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola. Mu kitundu kino tugenda kulabayo ebintu ebirala bina. Ate era tugenda kulaba lwaki leero abantu tebakkiriza bubaka abagoberezi ba Yesu bwe babuulira era n’ekisobola okutuyamba obuteesittala.

(1) YESU YALI TASOSOLA

Bangi beesittala olw’abo Yesu be yabeerangako nabo. Ekintu ng’ekyo kiyinza kitya okuleetera abamu okwesittala leero? (Laba akatundu 3) *

3. Kiki Yesu kye yakola ekyaleetera abamu okwesittala?

3 Bwe yali ku nsi, Yesu yakolagananga n’abantu bonna. Yalyanga wamu n’abantu abagagga, n’ab’ebitiibwa, naye era yamalanga ebiseera bingi n’abantu abaavu n’abanyigirizibwa. Ate era yalaganga obusaasizi abantu abaali batwalibwa ‘ng’aboonoonyi.’ Abantu abamu abaali beetwala okuba abatuukirivu beesittala olw’ekyo Yesu kye yakola. Baabuuza abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza omusolo n’aboonoonyi?” Yesu yabaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga. Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi, basobole okwenenya.”​—Luk. 5:29-32.

4. Okusinziira ku nnabbi Isaaya, kiki Abayudaaya kye bandisuubidde ekyandituuse ku Masiya?

4 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Ng’ebula ekiseera kiwanvu Masiya ajje, nnabbi Isaaya yalaga nti Masiya ensi teyandimukkirizza. Obunnabbi bwagamba nti: “Yanyoomebwa era abantu baamwewala . . . Yalinga atukwese obwenyi bwe. Yanyoomebwa era tetwamulabamu ka buntu.” (Is. 53:3) Obunnabbi bwalaga nti “abantu” bandibadde beewala Masiya. N’olwekyo Abayudaaya mu kiseera kya Yesu, bandibadde basuubira abantu obutakkiriza Yesu.

5. Abantu bangi leero batwala batya abagoberezi ba Yesu?

5 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Abakulembeze b’amadiini bangi basanyuka nnyo okulaba ng’abantu abatutumufu, abagagga, n’abo ensi b’etwala okuba abagezi nga bali mu madiini gaabwe. Bakkiriza abantu abo okuba mu madiini gaabwe, ne bwe baba nga bakola ebintu Katonda by’akyawa. Naye abakulembeze b’amadiini abo banyooma Abajulirwa ba Yakuwa abaweereza Katonda n’obunyiikivu era abayonjo mu mpisa, kubanga abantu bangi mu nsi babanyooma. Pawulo yagamba nti, Katonda yalonda abo ‘abanyoomebwa.’ (1 Kol. 1:26-29) Naye Yakuwa atwala abaweereza be bonna abeesigwa nga ba muwendo.

6. Tuyinza tutya okukoppa endowooza ya Yesu nga bwe kiragibwa mu Matayo 11:25, 26?

6 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? (Soma Matayo 11:25, 26.) Totwalirizibwa ndowooza ensi gy’erina ku bantu ba Katonda. Kijjukire nti Yakuwa akozesa bantu bawombeefu bokka okukola by’ayagala. (Zab. 138:6) Lowooza ku bintu ebingi Yakuwa by’akoze ng’akozesa abantu ensi b’etwala ng’abatali bagezi oba abataasoma!

(2) YESU YAYANIKA ENDOWOOZA ENKYAMU

7. Lwaki Yesu yayita Abafalisaayo abannanfuusi, era ekyo kyabakwatako kitya?

7 Yesu yayanika obunnanfuusi bw’abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye. Ng’ekyokulabirako, yayanika obunnanfuusi bw’Abafalisaayo, abaali bafaayo ennyo ku ngeri gye banaabamu engalo okusinga bwe baali bafaayo ku ngeri gye balabiriramu bazadde baabwe. (Mat. 15:1-11) Abayigirizwa ba Yesu bayinza okuba nga beewuunya nnyo olw’ebyo bye yayogera. Mu butuufu baamugamba nti: “Okimanyi nti Abafalisaayo banyiize bwe bawulidde by’oyogedde?” Yesu yabaddamu nti: “Buli kimera Kitange ow’omu ggulu ky’ataasimba, kijja kusimbulwa. Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.” (Mat. 15:12-14) Wadde ng’abakulembeze b’eddiini baanyiiga olw’ebyo Yesu bye yayogera, ekyo tekyamuleetera kulekera awo kwogera mazima.

8. Yesu yakiraga atya nti si buli nzikiriza nti esanyusa Katonda?

8 Ate era Yesu yayanika enjigiriza z’eddiini enkyamu. Teyagamba nti enjigiriza zonna ez’eddiini zisanyusa Katonda. Mu kifo ky’ekyo yagamba nti abantu bangi bali mu kkubo eggazi erigenda mu kuzikirira, era nti batono nnyo abali mu kkubo effunda erigenda mu bulamu. (Mat. 7:13, 14) Yakyoleka kaati nti abantu abamu bandirabise ng’abaweereza Katonda, naye ng’ate tebamuweereza. Yagamba nti: “Mwekuume bannabbi ab’obulimba abajjira mu byambalo by’endiga, naye nga munda gye misege egikavvula. Mulibategeerera ku bibala byabwe.”​—Mat. 7:15-20.

Bangi beesittala olw’okuba yavumirira enjigiriza n’ebikolwa ebikyamu. Ekintu ng’ekyo kiyinza kitya okuleetera abamu okwesittala leero? (Laba akatundu 9) *

9. Ezimu ku njigiriza z’amadiini Yesu ze yalaga nti nkyamu ze ziruwa?

9 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Obunnabbi bwali bwalaga nti Masiya yandyagadde nnyo ennyumba ya Yakuwa. (Zab. 69:9; Yok. 2:14-17) Okwagala ennyo ennyumba ya Yakuwa kyaleetera Yesu okwanika ebikolwa n’enjigiriza z’eddiini ebikyamu. Ng’ekyokulabirako, Abafalisaayo baali bakkiriza nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu; Yesu yayigiriza nti abafu bali ng’abali mu tulo. (Yok. 11:11) Abasaddukaayo baali tebakkiririza mu kuzuukira; Yesu yazuukiza mukwano gwe Laazaalo. (Yok. 11:43, 44; Bik. 23:8) Abafalisaayo baali bakkiriza nti buli kintu omuntu ky’akola oba ekyo ekimutuukako, Katonda y’aba akisazeewo oba nti waliwo amaanyi agatali ga bulijjo agaba gakiviiriddeko okubaawo; Yesu yayigiriza nti abantu basobola okusalawo okuweereza Katonda oba obutamuweereza.​—Mat. 11:28.

10. Lwaki leero bangi batukyawa olw’enjigiriza zaffe?

10 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Bangi batukyawa kubanga enjigiriza zaffe ezeesigamiziddwa ku Bayibuli zaanika obulimba bw’amadiini. Abakulu b’amadiini bayigiriza abantu nti, Katonda abonereza abantu mu muliro ogutazikira. Bakozesa enjigiriza eyo ey’obulimba okuba n’obuyinza ku bantu. Abaweereza ba Yakuwa abasinza Katonda ow’okwagala, bayamba abantu okukiraba nti enjigiriza eyo nkyamu. Abakulu b’amadiini era bayigiriza nti omuntu bw’afa waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu. Tuyamba abantu okukiraba nti enjigiriza eyo si ya mu Byawandiikibwa kubanga singa enjigiriza eyo ntuufu, okuzuukira kwandibadde tekwetaagisa. Era wadde ng’amadiini mangi gakkiriza nti buli kintu kye tukola kiba kyasalibwawo dda Katonda, oba amaanyi amalala agatalabika, ffe tuyigiriza nti omuntu alina eddembe ery’okwesalirawo era asobola okusalawo okuweereza Katonda oba obutamuweereza. Ekyo kikwata kitya ku bakulu b’amadiini? Kitera okubanyiiza!

11. Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 8:45-47, kiki Katonda kye yeetaagisa abantu be?

11 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? Bwe tuba nga ddala twagala amazima, tulina okukkiriza Katonda by’agamba. (Soma Yokaana 8:45-47.) Obutafaananako Sitaani Omulyolyomi, ffe tunywerera mu mazima. Twewala okukola ekintu kyonna ekikontana n’ebyo bye tukkiriza. (Yok. 8:44) Katonda yeetaagisa abantu be ‘okukyawa ebintu ebibi’ era ‘banywerere ku birungi,’ nga Yesu bwe yakola.​—Bar. 12:9; Beb. 1:9.

(3) YESU YAYIGGANYIZIBWA

Bangi beesittala olw’okuba yafiira ku muti. Ekintu ng’ekyo kiyinza kitya okuleetera abamu okwesittala leero? (Laba akatundu 12) *

12. Lwaki engeri Yesu gye yattibwamu yaviirako Abayudaaya bangi okwesittala?

12 Kintu ki ekirala ekyesittaza Abayudaaya mu kiseera kya Yesu? Pawulo yagamba nti: “Tubuulira ebikwata ku Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge eyeesittaza.” (1 Kol. 1:23) Lwaki engeri Yesu gye yattibwamu yaviirako Abayudaaya bangi okwesittala? Yesu okuttirwa ku muti, kyabaleetera okumutwala ng’omumenyi w’amateeka era omwonoonyi, so si Masiya.​—Ma. 21:22, 23.

13. Kiki abo abeesittala ku lwa Yesu kye baalemwa okutegeera?

13 Abayudaaya abeesittala ku lwa Yesu, baalemwa okukiraba nti Yesu teyalina musango, nti baamuwaayiriza, era nti yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Abo abaawozesa Yesu tebaali benkanya. Kooti eyawozesa Yesu yatuula mangu, era teyagoberera mateeka gakwata ku kuwozesa misango. (Luk. 22:54; Yok. 18:24) Mu kifo ky’okuwuliriza ebyo bye baali bavunaana Yesu nga tebalina kyekubiira, abalamuzi baatandika okunoonya “obujulizi obw’obulimba bwe bandisinziddeko okutta Yesu.” Naye ekyo bwe kyalema kabona omukulu yagezaako okuleetera Yesu okwogera ekintu ekikyamu, basobole okusinziira okwo okumusingisa omusango. Ekyo kyali kimenya mateeka. (Mat. 26:59; Mak. 14:55-64) Ate oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, abalamuzi abo baawa abasirikale Abaruumi abaali bakuuma entaana ya Yesu “ebitundu bya ffeeza ebiwerako” okubunyisa obulimba ku nsonga lwaki entaana ya Yesu yali njereere.​—Mat. 28:11-15.

14. Obunnabbi bwali bwagamba ki ku kufa kwa Masiya?

14 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Wadde ng’Abayudaaya bangi mu kiseera kya Yesu baali tebasuubira Masiya kufa, weetegereze obunnabbi kye bwali bwagamba. Bwagamba nti: “Yawaayo obulamu bwe era yabalirwa wamu n’aboonoonyi; yeetikka ebibi by’abantu bangi, era yawolereza aboonoonyi.” (Is. 53:12) N’olwekyo Abayudaaya tebaalina nsonga yonna kwesittala Yesu bwe yattibwa ng’omwonoonyi.

15. Ebimu ku bintu ebivunaaniddwa Abajulirwa ba Yakuwa ebiviiriddeko abantu abamu okwesittala bye biruwa?

15 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee! Yesu yasibibwako emisango era ne bagimusingisa. N’Abajulirwa ba Yakuwa leero bwe batyo bwe bayisibwa. Lowooza ku byokulabirako bino. Mu Amerika mu myaka gya 1930 ne 1940, enfunda n’enfunda Abajulirwa ba Yakuwa baakubwanga mu mbuga z’amateeka nga bagezaako okubamalako eddembe lyabwe ery’okusinza Katonda. Kyeyoleka lwatu nti abalamuzi abamu baali tebaagala Bajulirwa ba Yakuwa. Mu Quebec, Canada, bannaddiini ne bannabyabufuzi, baakolera wamu okuziyiza omulimu gwaffe. Abajulirwa ba Yakuwa bangi baasibibwa olw’okubuulirako abalala ku Bwakabaka bwa Katonda. Mu kiseera ky’obufuzi bw’Abanazi mu Bugirimaani ab’oluganda abavubuka bangi battibwa. Era mu myaka egiyise, baganda baffe bangi mu Russia bavunaaniddwa omusango gw’okubuulira abalala ebikwata ku Bayibuli ne basibibwa, era omulimu ogwo gavumenti eguyita gwa “bannalukalala.” Ate era ne Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya mu lulimi Olulasa yawerebwa era etwalibwa ng’ebimu ku bitabo bya “bannalukalala” kubanga ekozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa.

16. Nga bwe kiragibwa mu 1 Yokaana 4:1, lwaki tetusaanidde kubuzaabuzibwa eby’obulimba ebyogerwa ku bantu ba Yakuwa?

16 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? Funa obukakafu. Bwe yali ayigiriza ku lusozi, Yesu yagamba nti abagoberezi be ‘bandibawaayirizza ebintu ebibi ebya buli kika.’ (Mat. 5:11) Ensibuko y’obulimba obwo ye Sitaani. Aleetera abo abawakanya amazima okwogera eby’obulimba ku abo abaagala amazima. (Kub. 12:9, 10) Tetusaanidde kukkiriza bulimba obwogerwa abo abatuziyiza. Era tetusaanidde kubukkiriza kutuleetera kutya oba okunafuya okukkiriza kwaffe.​—Soma 1 Yokaana 4:1.

(4) YESU BAAMULYAMU OLUKWE ERA NE BAMWABULIRA

Bangi beesittala olw’okuba Yuda yamulyamu olukwe. Ekintu ng’ekyo kiyinza kitya okuleetera abamu okwesittala leero? (Laba akatundu 17-18) *

17. Mu ngeri ki ebintu ebyaliwo nga Yesu tannafa gye biyinza okuba nga byaleetera abamu okwesittala?

17 Yesu bwe yali tannattibwa, omu ku batume be 12 yamulyamu olukwe. Ate omutume we omulala yamwegaana emirundi esatu, era abatume be bonna baamwabulira mu kiro ekyasembayo amale attibwe. (Mat. 26:14-16, 47, 56, 75) Ekyo tekyewuunyisa Yesu. Yali yakiraga nti ekyo kyandibaddewo. (Yok. 6:64; 13:21, 26, 38; 16:32) Ebyo bwe byabaawo, biyinza okuba nga byaleetera abamu okwesittala, nga bagamba nti, ‘Bwe kiba nti abatume ba Yesu bwe batyo bwe beeyisa, saagala kubeera omu ku bayigirizwa ba Yesu!’

18. Ebintu ebyaliwo nga Yesu tannafa byatuukiriza bunnabbi ki?

18 Ebyawandiikibwa bigamba ki? Emyaka mingi emabega, Yakuwa yali yakiraga mu Kigambo kye nti Masiya yandiririddwamu olukwe olw’ebitundu bya ffeeza 30. (Zek. 11:12, 13) Oyo eyandiriddemu Yesu olukwe, yandibadde omu ku mikwano gya Yesu egy’oku lusegere. (Zab. 41:9) Nnabbi Zekkaliya naye yagamba nti: “Kuba omusumba endiga zisaasaane.” (Zek. 13:7) Mu kifo ky’okwesittala olw’ebyo ebyali bibaddewo, abantu ab’emitima emirungi okukkiriza kwabwe kwandibadde kweyongera bweyongezi kunywera oluvannyuma lw’okulaba obunnabbi obwo nga butuukiridde ku Yesu.

19. Kiki abantu ab’emitima emirungi kye bamanyi?

19 Ekizibu ekyo weekiri ne leero? Yee. Mu kiseera kyaffe, abantu abamu bavudde mu mazima ne bafuuka bakyewaggula era ne bagezaako okusendasenda abalala okuva mu mazima. Okuyitira ku mikutu gy’empuliziganya, basaasaanyizza eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa. Naye abantu ab’emitima emirungi ekyo tekibeesittaza. Bakimanyi nti Bayibuli yagamba nti ekyo kyandibaddewo.​—Mat. 24:24; 2 Peet. 2:18-22.

20. Tuyinza tutya okwewala okwesittala olw’abo abavudde mu mazima? (2 Timoseewo 4:4, 5)

20 Tuyinza tutya okwewala okwesittala? Tulina okunyweza okukkiriza kwaffe nga twesomesa, nga tusaba obutayosa, era nga tunyiikirira omulimu Yakuwa gw’atuwadde. (Soma 2 Timoseewo 4:4, 5.) Bwe tuba n’okukkiriza okunywevu, tetujja kutya nga tuwulidde eby’obulimba ebyogerwa ku Bajulirwa ba Yakuwa. (Is. 28:16) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa, eri Ekigambo kye, n’eri baganda baffe bijja kutuyamba obutakkiriza abo abaava mu mazima okutuleetera okwesittala.

21. Wadde nga bangi leero bagaana obubaka bwaffe, tuli bakakafu ku ki?

21 Mu kyasa ekyasooka bangi beesittala ne bagaana okukkiriza Yesu. Naye era waliwo bangi abaamukkiriza. Mu bano mwalimu n’omu ku b’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, ne “bakabona bangi.” (Bik. 6:7; Mat. 27:57-60; Mak. 15:43) Ne leero waliwo bangi abateesittadde. Lwaki? Kubanga bamanyi era baagala amazima agali mu Byawandiikibwa. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abo abaagala amateeka go baba n’emirembe mingi; tewali kiyinza kubeesittaza.”​—Zab. 119:165.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

^ lup. 5 Mu kitundu ekyayita twalaba ensonga nnya lwaki abantu baagaana okukkiriza Yesu, n’ensonga lwaki bagaana okukkiriza obubaka bw’abagoberezi be leero. Mu kitundu kino tugenda kulabayo ensonga endala nnya. Ate era tugenda kulaba lwaki abantu eb’emitima emirungi era abaagala Yakuwa tebakkiriza kintu kyonna kubeesittaza.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Yesu ng’aliira wamu ne Matayo n’abasolooza b’omusolo abalala.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Yesu ng’agoba abasuubuzi mu yeekaalu.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Yesu ng’asitudde omuti ogw’okubonaabona.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Yuda ng’alyamu Yesu olukwe ng’amunywegera.