Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21

Yakuwa Ajja Kukuwa Amaanyi

Yakuwa Ajja Kukuwa Amaanyi

“Bwe mbeera omunafu lwe mbeera ow’amaanyi.”​—2 KOL. 12:10.

OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu

OMULAMWA *

1-2. Bizibu ki abaweereza ba Yakuwa bangi bye boolekagana nabyo?

OMUTUME PAWULO yakubiriza Timoseewo n’Abakristaayo abalala bonna okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwabwe. (2 Tim. 4:5) Okubuulirira kwa Pawulo okwo ffenna tukutwala nga kukulu nnyo. Wadde kiri kityo, twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Baganda baffe bangi ne bannyinnaffe kibeetaagisa okuba abavumu ennyo okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (2 Tim. 4:2) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku baganda baffe ababeera mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa oba gye gwawerebwa. Babuulira amawulire amalungi wadde nga bakimanyi nti ekyo kiyinza okubaviirako okusibibwa mu kkomera!

2 Abaweereza ba Yakuwa boolekagana n’ebizibu ebitali bimu ebisobola okubamalamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bangi balina okukola okumala essaawa nnyingi okusobola okufuna ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe. Bandyagadde okukola ekisingawo mu mulimu gw’okubuulira, naye wiiki w’eggweerako baba bakoowu. Abalala basobola kukola kitono nnyo mu buweereza olw’obulwadde obutawona bwe balina oba olw’okukaddiwa; bayinza n’okuba nga tebasobola kuva waka. Abalala batera okufuna enneewulira embi ezibaleetera okuwulira nti tebalina mugaso. Mwannyinaffe Mary, * abeera mu nsi za Buwalabu agamba nti: “Kinneetaagisa okufuba ennyo okusobola okulwanyisa enneewulira embi era kinviirako okukoowa mu birowoozo. Ekyo kindeetera okulumirizibwa omutima kubanga kintwalako ebiseera n’amaanyi bye nnandibadde nteeka mu mulimu gw’okubuulira.”

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Ka tube nga tuli mu mbeera ki Yakuwa asobola okutuwa amaanyi okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tuba twolekagana nabyo ne tweyongera okumuweereza okusinziira ku busobozi bwaffe. Nga tetunnalaba ngeri Yakuwa gy’ayinza kutuyamba, ka tusooke tulabe engeri gye yawa Pawulo ne Timoseewo amaanyi okusobola okutuukiriza obuweereza bwabwe wadde nga baali boolekagana n’ebizibu.

ATUWA AMAANYI OKWEYONGERA OKUBUULIRA

4. Bizibu ki Pawulo bye yayolekagana nabyo?

4 Pawulo yayolekagana n’ebizibu bingi. Yali yeetaaga nnyo amaanyi abalabe be bwe baamukuba embooko, bwe baamukuba amayinja, era bwe baamusiba. (2 Kol. 11:23-25) Pawulo yagamba nti ebiseera ebimu yalina okufuba ennyo okweggyamu endowooza ezimalamu amaanyi. (Bar. 7:18, 19, 24) Ate era yayolekagana n’ekizibu ekyali ‘ng’eriggwa mu mubiri’ kye yali ayagala ennyo Katonda eggyewo.​—2 Kol. 12:7, 8.

Kiki ekyasobozesa Pawulo okutuukiriza obuweereza bwe? (Laba akatundu 5-6) *

5. Biki Pawulo bye yakola wadde nga yali ayolekagana n’ebizibu?

5 Yakuwa yawa Pawulo amaanyi n’asobola okutuukiriza obuweereza bwe wadde nga yayolekagana n’ebizibu bingi. Lowooza ku ebyo Pawulo bye yakola. Ng’ekyokulabirako, bwe yali ng’asibiddwa mu nnyumba mu Rooma, yabuulira n’obunyiikivu abakulembeze b’Abayudaaya era oboolyawo n’abakungu ba gavumenti. (Bik. 28:17; Baf. 4:21,22) Ate era yabuulira abakuumi ba kabaka bangi, awamu n’abantu bonna abajjanga okumukyalira. (Bik. 28:30, 31; Baf. 1:13) Era mu kiseera ekyo kye kimu, Pawulo yawandiika amabaluwa agaaluŋŋamizibwa agaganyudde Abakristaayo ab’amazima n’okutuusa leero. Ate era ekyokulabirako kya Pawulo kyanyweza ekibiina ky’omu Rooma ne kiviirako bakkiriza banne ‘okwoleka obuvumu nga babuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya.’ (Baf. 1:14) Wadde ng’oluusi Pawulo yali tasobola kukola ebyo bye yandyagadde kukola, yakola kyonna kye yali asobola mu mbeera ye ne ‘kiviirako amawulire amalungi okubunyisibwa.’​—Baf. 1:12.

6. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 12:9, 10, kiki ekyasobozesa Pawulo okutuukiriza obuweereza bwe?

6 Pawulo yali akimanyi nti byonna bye yakola mu buweereza bwe eri Yakuwa teyabikola mu maanyi ge wabula Yakuwa ye yamuwa amaanyi okubikola. Yagamba nti amaanyi ga Katonda “gatuukirira mu bunafu.” (Soma 2 Abakkolinso 12:9, 10.) Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yawa Pawulo amaanyi n’asobola okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwe, wadde nga yayolekagana n’okuyigganyizibwa, yasibibwa mu kkomera, era yafuna n’ebizibu ebirala bingi.

Kiki ekyasobozesa Timoseewo okutuukiriza obuweereza bwe? (Laba akatundu 7) *

7. Bizibu ki Timoseewo bye yayolekagana nabyo ebyandibadde bimulemesa okutuukiriza obuweereza bwe?

7 Timoseewo eyakoleranga awamu ne Pawulo naye Katonda yamuwa amaanyi okusobola okutuukiriza obuweereza bwe. Timoseewo yawerekerako Pawulo ku ŋŋendo empanvu ez’obuminsani. Ate era Pawulo yamusindika ku ŋŋendo endala okukyalira ebibiina n’okubizzaamu amaanyi. (1 Kol. 4:17) Timoseewo ayinza okuba nga muli yali awulira nti tasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo. Eyo eyinza okuba nga ye nsonga lwaki Pawulo yamugamba nti: “Omuntu yenna takunyoomanga olw’obuvubuka bwo.” (1 Tim. 4:12) Ate era mu kiseera ekyo ne Timoseewo yalina eriggwa mu mubiri; yali ‘alwalalwala.’ (1 Tim. 5:23) Naye Timoseewo yali akimanyi nti omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwandimuwadde amaanyi ge yali yeetaaga okusobola okubuulira amawulire amalungi n’okuweereza baganda be.​—2 Tim. 1:7.

ATUWA AMAANYI OKUSIGALA NGA TULI BEESIGWA WADDE NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU

8. Yakuwa awa atya abantu be amaanyi leero?

8 Leero Yakuwa awa abantu be “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” basobole okweyongera okumuweereza n’obwesigwa. (2 Kol. 4:7) Ka tulabeyo ebintu bina Yakuwa by’atuwa okusobola okutuzzaamu amaanyi n’okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali: okusaba, Bayibuli, bakkiriza bannaffe, n’omulimu gw’okubuulira.

Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu kusaba (Laba akatundu 9)

9. Okusaba kutuyamba kutya?

9 Okusaba kutuyamba okufuna amaanyi. Mu Abeefeso 6:18, Pawulo atukubiriza okusaba Katonda “buli kiseera.” Katonda addamu essaala zaffe ng’atuwa amaanyi. Jonnie, abeera mu Bolivia, yafuna amaanyi bwe yali ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Mukyala we ne bazadde be bombi baafuna obulwadde obw’amaanyi mu kiseera kye kimu. Jonnie yalina okubalabirira bonsatule. Maama we yafa era mukyala we ne taata we kyabatwalira ekiseera kiwanvu nga tebannawona. Bw’alowooza ku kiseera ekyo, Jonnie agamba nti, “Bwe nnabanga nneeraliikirira nnyo, nnasabanga Yakuwa ne mmutegeeza engeri gye nnabanga mpuliramu.” Yakuwa yawa Jonnie amaanyi ge yali yeetaaga okugumira embeera eyo. Ronald abeera mu Bolivia era aweereza ng’omukadde yakimanya nti maama we yali afunye obulwadde bwa kookolo. Maama we yafa oluvannyuma lw’omwezi gumu. Kiki ekyamuyamba okwaŋŋanga embeera eyo? Agamba nti: “Okusaba kunsobozesa okubuulira Yakuwa byonna ebindi ku mutima n’engeri gye nneewuliramu. Nkimanyi nti antegeera bulungi okusinga omuntu yenna, era n’okusinga bwe nneetegeera.” Oluusi tuyinza okuwulira nga tuzitoowereddwa nnyo oba nga tetumanyi na kya kwogera mu kusaba. Naye Yakuwa atugamba okumusaba ne bwe tuba nga tukaluubirirwa okumutegeeza ekiri mu birowoozo byaffe oba engeri gye twewuliramu.​—Bar. 8:26, 27.

Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu Bayibuli (Laba akatundu 10)

10. Nga bwe kiragibwa mu Abebbulaniya 4:12, lwaki okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye kikulu nnyo?

10 Bayibuli etuyamba okufuna amaanyi. Ng’Ebyawandiikibwa bwe byayamba Pawulo okufuna amaanyi n’okubudaabudibwa, naffe bisobola okutuyamba. (Bar. 15:4) Bwe tuba tusoma Ekigambo kya Katonda era nga tukifumiitirizaako, Yakuwa asobola okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okulaba engeri Ebyawandiikibwa bye tuba tusoma gye bisobola okutuyamba mu mbeera gye tuba tulimu. (Soma Abebbulaniya 4:12.) Ronald ayogeddwako waggulu agamba nti: “Ŋŋanyuddwa nnyo mu kuba nti, nneemanyiiza okusoma Bayibuli buli kiro. Nfumiitiriza nnyo ku ngeri za Yakuwa ne ku ngeri gy’alagamu abaweereza be okwagala. Ekyo kinnyamba okufuna amaanyi.”

11. Bayibuli yayamba etya mwannyinaffe eyalina ennaku ey’amaanyi olw’okufiirwa omwami we?

11 Bwe tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda, kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye tuba tulina. Lowooza ku ngeri Bayibuli gye yayambamu mwannyinaffe eyafiirwa omwami we. Omukadde omu yamugamba nti okusoma ekitabo kya Yobu kyandimuyambye okubaako ebintu by’ayiga ebyandimuganyudde. Bwe yali asoma ekitabo ekyo, mu kusooka yayanguwa mangu okunenya Yobu olw’endowooza enkyamu gye yalina. Muli yagamba nti: “Yobu! Ebirowoozo byo tobimalira ku bizibu byo byokka!” Naye oluvannyuma yakiraba nti endowooza ye yali teyawukana ku ya Yobu. Ekyo kyamuyamba okukyusa endowooza ye era n’afuna amaanyi agaamuyamba okwaŋŋanga obulumi bwe yali ayitamu olw’okufiirwa omwami we.

Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu bakkiriza bannaffe (Laba akatundu 12)

12. Yakuwa atuwa atya amaanyi okuyitira mu bakkiriza bannaffe?

12 Tuzzibwamu amaanyi okuyitira mu bakkiriza bannaffe. Engeri endala Yakuwa gy’awamu abaweereza be amaanyi, kwe kuyitira mu bakkiriza bannaabwe. Pawulo yagamba nti yali ayagala nnyo okulaba baganda be bamuzzeemu amaanyi era naye abazzeemu amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Mary, ayogeddwako waggulu ayagala nnyo okubeera ne bakkiriza banne. Agamba nti: “Yakuwa yakozesa baganda bange ne bannyinaze okunzizaamu amaanyi ng’abamu ku bo baali tebamanyi na bizibu bye mpitamu. Baayogeranga ebintu ebinzizaamu amaanyi, oba bampandiikirangayo kaadi era ng’ekyo kyennyini kye nnabanga nneetaaga. Ate era bw’oyogerako ne baganda bo abaayitako mu mbeera gy’oyitamu kikuyamba okubaako ky’obayigirako. Ate era abakadde bulijjo bandeetera okuwulira nti ndi wa muwendo mu kibiina.”

13. Tuyinza tutya okuziŋŋanamu amaanyi nga tuzze mu nkuŋŋaana?

13 Ekimu ku bifo ebisingayo obulungi we tuyinza okuzziŋŋanamu amaanyi ze nkuŋŋaana. Bw’ojja mu nkuŋŋaana fuba okuzzaamu abalala amaanyi ng’obaako ebigambo ebyoleka okwagala by’obagamba, oba ng’obasiima? Ng’ekyokulabirako, lumu ng’olukuŋŋaana terunnatandika, omukadde ayitibwa Peter yayogerako ne mwannyinaffe omu alina omwami ataweereza Yakuwa n’amugamba nti: “Bwe tukulaba ng’ozze mu nkuŋŋaana kituzzaamu nnyo amaanyi. Abaana bo omukaaga oba obateeseteese bulungi, era nga buli omu alina eky’okuddamu.” Mwannyinaffe oyo yasiima nnyo ebigambo ebyo era amaziga gaamujja mu maaso. Yagamba omukadde nti: “Ebigambo ebyo mbadde nneetaaga nnyo okubiwulira olwa leero.”

Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu kubuulira (Laba akatundu 14)

14. Okwenyigira mu kubuulira kituyamba kitya?

14 Okubuulira kutuzzaamu amaanyi. Bwe tubuulirako abalala amazima agali mu Bayibuli, kituzzaamu amaanyi ka babe nga bawulirizza oba nga tebawulirizza. (Nge. 11:25) Mwannyinaffe ayitibwa Stacy yakiraba nti okubuulira kuzzaamu nnyo amaanyi. Omu ku b’eŋŋanda ze bwe yagobebwa mu kibiina, kyamuyisa bubi nnyo era yeebuuzanga nti, ‘Nnandibadde nkola ekisingawo okumuyamba?’ Ebirowoozo bye byonna yali abimalidde ku kizibu ekyo ekyali kizzeewo. Kiki ekyamuyamba okukyaŋŋanga? Okubuulira! Bwe yeenyigira mu kubuulira, yatandika okussa ebirowoozo bye ku bantu mu kitundu kye yali abuuliramu abaali beetaaga obuyambi bwe. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo Yakuwa yampa omuyizi wa Bayibuli eyakulaakulana amangu. Ekyo kyanzizaamu nnyo amaanyi. Ekintu ekisinga okunzizaamu amaanyi mu bulamu kwe kubuulira.”

15. Kiki ky’oyigidde ku bigambo bya Mary?

15 Olw’embeera abamu gye babaamu, bayinza okuwulira nti tebasobola kukola kinene mu mulimu gw’okubuulira. Bw’oba nga naawe bw’owulira, kijjukire nti Yakuwa asiima nnyo bw’okola ekisingayo obulungi ky’osobola. Lowooza ku Mary ayogeddwako waggulu. Bwe yagenda mu kitundu gye boogera olulimi olulala, yawulira nti yali akola kitono nnyo. Agamba nti, “Okumala ekiseera, ekyo kyokka kye nnali nsobola okukola kwe kubaako eky’okuddamu ekyangu kye nziramu mu nkuŋŋaana, oba okubaako ekyawandiikibwa kye nsoma, oba okugaba tulakiti mu kubuulira.” Ekyo kyamuleetera okuwulira nti talina kya maanyi ky’akola bwe yeegeraageranya n’abo abaali boogera obulungi olulimi olwo. Naye yamala n’akyusa endowooza ye. Yakiraba nti Yakuwa yali asobola okumukozesa wadde nga yali tasobola kwogera bulungi lulimi olwo. Agamba nti, “Amazima agawonya obulamu mangu nnyo, era amazima ago ge gakyusa obulamu bw’abantu.”

16. Abo abatasobola kuva waka, kiki ekisobola okubayamba okuddamu amaanyi?

16 Bwe tuba nga twagala okwenyigira mu kubuulira, ne bwe tuba nga tetusobola kuva waka, ekyo Yakuwa akiraba era akisiima nnyo. Asobola okutuyamba ne tufuna akakisa okubuulira abo abatulabirira oba abasawo. Bwe tugeraageranya kye tusobola okukola kati n’ekyo kye twakolanga edda, tusobola okuggwaamu amaanyi. Naye bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu kati, tusobola okufuna amaanyi ge twetaaga okugumira ekizibu kyonna n’essanyu.

17. Okusinziira ku Omubuulizi 11:6, lwaki tusaanidde okweyongera okwenyigira mu kubuulira ne bwe tuba nga tetulabirawo bibala?

17 Tetumanyi nsigo ki ez’amazima ze tusiga ezinaamera era ne zikula. (Soma Omubuulizi 11:6.) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Barbara ali mu myaka 80 abuulira obutayosa ng’akozesa essimu oba ng’awandiika amabaluwa. Mu emu ku bbaluwa gye yawandiika, yassaamu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 1, 2014, ogwalimu ekitundu ekigamba nti “Omanyi Katonda Kye Yakukolera?” Mu butamanya, ebbaluwa eyo yagisindikira omwami n’omukyala abaali batakyali Bajulirwa ba Yakuwa. Magazini eyo baagisoma enfunda n’enfunda. Omwami agamba nti yawulira nga Yakuwa eyali ayogera naye butereevu. Bombi omwami n’omukyala baatandika okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, era baddamu okuweereza Yakuwa oluvannyuma lw’emyaka 27 nga tebamuweereza. Barbara ateekwa okuba nga yaddamu nnyo amaanyi okuba nti ebbaluwa gye yawandiika yavaamu ebibala!

Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu (1) kusaba, (2) Bayibuli, (3) bakkiriza bannaffe, ne (4) okubuulira (Laba akatundu 9-10, 12, 14)

18. Kiki kye tulina okukola okusobola okuzzibwamu amaanyi?

18 Yakuwa atuwadde ebintu bingi ebituyamba okuzzibwamu amaanyi. Bwe tukozesa ebintu ebyo, gamba ng’okusaba, Bayibuli, bakkiriza bannaffe, awamu n’okubuulira, tuba tukiraga nti twesiga Yakuwa nti asobola okutuyamba. Ka bulijjo twesige Kitaffe ow’omu ggulu, asanyuka “okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”​—2 Byom. 16:9.

OLUYIMBA 61 Mugende mu Maaso, Mmwe Abajulirwa!

^ lup. 5 Ebiseera bye tulimu bizibu nnyo, naye Yakuwa atuwa obuyambi bwe twetaaga okusobola okubyaŋŋanga. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yayambamu omutume Pawulo ne Timoseewo okweyongera okumuweereza wadde nga baali boolekagana n’ebizibu. Era tugenda kulaba ebintu bina Yakuwa by’atuwadde okusobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo leero.

^ lup. 2 Erinnya likyusiddwa.

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Bwe yali ng’asibiddwa mu nnyumba e Rooma, Pawulo yawandiikira ebibiina ebiwerako amabaluwa era yabuulira amawulire amalungi abo bonna abaamukyaliranga.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Timoseewo yazzangamu bakkiriza banne amaanyi mu bibiina gye yakyalanga.