3 Etuyamba Okugumira Ebizibu
Leero waliwo ebizibu bye tutasobola kwewala wadde okuggyawo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ofiiriddwa omuntu wo, oba bw’oba olina obulwadde obutawona, oba tolina kya kukola wabula okugumira embeera eyo. Olowooza Bayibuli esobola okukuyamba mu mbeera ezo enzibu?
OBULWADDE OBUTAWONA
Rose agamba nti: “Nnazaalibwa n’obulwadde obundeetera obulumi obw’amaanyi ennyo. Omubiri gwange gunafuye nnyo.” Ekyali kisinga okumweraliikiriza kwe kuba nti ebiseera ebimu yali tasobola kussaayo mwoyo ng’asoma Bayibuli oba ebitabo ebirala ebikwata ku Katonda. Naye ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 19:26 byamuzzaamu nnyo amaanyi. Wagamba nti: “Eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” Waliwo engeri ez’enjawulo Rose z’akozesa okuyiga ebikwata ku Katonda. Olw’okuba okusoma kumuzibuwalira nnyo olw’obulumi bw’alina, kati awuliriza buwuliriza Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola nga bisomebwa. * Agamba nti: “Singa eby’okuwuliriza tebiriiwo, simanyi bwe nnandisobodde kukuuma nkolagana yange ne Katonda nga nnywevu.”
Rose bw’awulira ennaku olw’ebyo by’atakyasobola kukola, ebigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 8:12 bimuzzaamu amaanyi. Wagamba nti: “Singa omuntu aba mwetegefu okubaako ky’awaayo, kikkirizibwa okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.” Ebigambo ebyo bijjukiza Rose nti Katonda asiima nnyo by’akola, kubanga akola ekyo ky’asobola mu mbeera gy’alimu.
OKUWULIRA ENNAKU OLW’OKUFIIRWA
Delphine, gwe twayogeddeko agamba nti: “Muwala wange ow’emyaka 18 bwe yafa, nnawulira ennaku ya maanyi nnyo nga simanyi nti nsobola okweyongera okuba omulamu. Nnali siwulirangako bwe ntyo.” Ebigambo ebiri mu Zabbuli 94:19 byamuzzaamu amaanyi. Omuwandiisi wa Zabbuli eyo yayogera bw’ati ku Katonda: “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.” Delphine agamba nti, “Nnasaba Yakuwa annyambe nfune eby’okukola ebisobola okukkakkanya ebirowoozo byange.”
Yasalawo okukola emirimu egiyamba abalala. Yeegeraageranya ku kalaamu eza langi ez’enjawulo omwana z’akozesa okusiiga—n’ezo ezimenyese ziba zikyali za mugaso. Mu ngeri y’emu, wadde nga yali awulira ng’amenyese, yayiga nti yali akyasobola okuyamba abalala. Agamba nti: “Nnakiraba nti bwe nkozesa ebyawandiikibwa okuzzaamu abantu be njigiriza Bayibuli amaanyi, mu ngeri eyo Yakuwa aba anzizaamu amaanyi.” Yawandiika amannya g’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaayitako mu mbeera gye yali ayitamu. Era agamba nti: “Nnakizuula nti abantu abo bonna baasabanga nnyo Katonda.” Ate era yakiraba nti “okusoma Bayibuli kuzzaamu amaanyi.”
Delphine alina ekintu ekirala ky’ayize mu kusoma Bayibuli. Ayize okulowooza ku by’omu maaso so si ku byayita. Essuubi eriri mu Ebikolwa 24:15 limuzzaamu nnyo amaanyi. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” Delphine mukakafu nti Yakuwa ajja kuzuukiza muwala we. Agamba nti: “Nninga alaba muwala wange nga Yakuwa amuzuukizizza. Mmulaba nga tuli wamu naye era nga mmwagala nnyo nga bwe nnali mmwagala nga nnaakamuzaala.”
^ lup. 4 Obutambi bingi biri ku mukutu gwa Intaneeti ogwa jw.org.
Bayibuli esobola okukubudaabuda mu biseera ebizibu ennyo