OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2020 | Okunoonya Amazima
Bayibuli erimu eby’okuddamu ebituufu ebikwata ku bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu.
Okunoonya Amazima
Mu nsi eno erimu abantu abangi abalimba, waliwo enkola gy’osobola okugoberera n’ofuna eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu.
Bayibuli Erimu Amazima
Beera mukakafu nti ebiri mu Bayibuli bituufu.
Amazima Agakwata ku Katonda ne Kristo
Njawulo ki eriwo wakati wa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo?
Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
Ebyawandiikibwa bitubuulira Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Obwakabaka obwo we businziira okufuga, ekigendererwa kyabwo, abafuzi, ne be bunaafuga.
Amazima Agakwata ku Biseera eby’Omu Maaso
Nyweza okukkiriza kwo mu bisuubizo bya Katonda ebikwata ku nsi mu biseera eby’omu maaso n’abo abanaagibeerako.
Amazima Gasobola Okukuganyula
Okumanya amazima agali mu Bayibuli kirimu emiganyulo mingi.