Ddala Katonda Awulira Essaala Zo?
Bw’osaba, olowooza Katonda aba akuwuliriza?
BAYIBULI KY’EGAMBA
Katonda akuwuliriza. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola, abo bonna abamukoowoola mu mazima. . . . Awulira okuwanjaga kwabwe.”—Zabbuli 145:18, 19.
Katonda ayagala omusabe. Bayibuli egamba nti: “Mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”—Abafiripi 4:6.
Katonda akufaako. Katonda amanyi byonna ebitweraliikiriza n’ebizibu bye tulina, era ayagala okutuyamba. Bayibuli egamba nti, ‘mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’—1 Peetero 5:7.