Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu

Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu

Pamela bwe yafuna obulwadde obw’amaanyi yagenda mu ddwaliro. Naye era yasaba Katonda amuyambe asobole okugumira embeera gye yalimu. Okusaba kwamuyamba kutya?

Pamela agamba nti, “Bwe nnali nfuna obujjanjabi bw’ekirwadde kya kookolo, nneeraliikiriranga nnyo. Naye bwe nnasabanga Yakuwa Katonda, kyannyambanga okuguma era n’okuba omukkakkamu. Nkyalina obulumi, naye okusaba kunnyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Abantu bwe bambuuza engeri gye mpuliramu, mbaddamu nti ‘ssewulira bulungi, naye ndi musanyufu!’”

Kyokka, tetulina kulinda kufuna bulwadde bwa maanyi oba okubeera mu mbeera enzibu, ne tulyoka tusaba. Ffenna tufuna ebitusoomooza, ka bibe binene oba bitono, era tuba twetaaga obuyambi okusobola okubivvuunuka. Okusaba kuyinza okutuyamba?

Bayibuli egamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga. Talireka mutuukirivu kugwa.” (Zabbuli 55:22) Ebigambo ebyo nga bizzaamu nnyo amaanyi! Kati olwo okusaba kuyinza kutya okukuyamba? Bw’osaba Katonda mu ngeri entuufu, ajja kukuyamba okuvvuunuka ekizibu ky’olina oba okukigumira.​—Laba ebiri wansi w’omutwe, “ Emiganyulo Egiri mu Kusaba.”