Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?

Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?

Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, ayagala nnyo okuwuliriza essaala zaffe bwe tumusaba mu bwesimbu. Naye waliwo ebiyinza okumuleetera obutaddamu ssaala zaffe. Bye biruwa ebyo? Era biki bye tusaanidde okukuumira mu birowoozo nga tusaba? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba.

“Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga mu bigambo.”​—Matayo 6:7.

Yakuwa tayagala tuddiŋŋane ssaala ze twakwata mu mutwe oba okusoma ezaawandiikibwa mu bitabo. Mu kifo ky’ekyo, ayagala tumubuulire ebituli ku mutima. Wandiwulidde otya, singa mukwano gwo ayogera naawe ng’akozesa ebigambo bye bimu buli kiseera? Abantu ab’omukwano baba beesimbu, era buli omu abuulira munne ebimuli ku mutima. Bwe tusaba Kitaffe ow’omu ggulu nga tumubuulira ebituli ku mutima, kiba kiraga nti tumutwala nga mukwano gwaffe.

“Bwe musaba temufuna kubanga musaba olw’ekigendererwa ekikyamu.”​—Yakobo 4:3.

Tetuyinza kusuubira nti Katonda ajja kuddamu essaala zaffe singa tumusaba ekintu kye tumanyi nti takyagala. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’akuba zzaala n’asaba Katonda amuwe omukisa awangule, ddala Katonda asobola okuddamu essaala ng’eyo? Nedda. Katonda atugamba okwewala omululu n’obutakkiririza mu bintu ebitali bya ddala. (Isaaya 65:11; Lukka 12:15) Katonda okusobola okuddamu essaala zaffe, tulina okukakasa nti ebyo bye tumusabye bikwatagana n’ebyo by’atugamba mu Bayibuli.

“Agaana okuwuliriza amateeka, n’okusaba kwe kuba kwa muzizo.”​—Engero 28:9.

Mu biseera eby’edda, Katonda yagaana okuwuliriza okusaba kw’abo abaali bamenya amateeka ge. (Isaaya 1:15, 16) Katonda takyukanga. (Malaki 3:6) Bwe tuba twagala Katonda awulire okusaba kwaffe, tulina okufuba okukola ebyo by’ayagala. Watya singa twakola ebintu ebibi mu biseera ebyayita? Ekyo kitegeeza nti Katonda tasobola kuwuliriza ssaala zaffe? Nedda! Bwe twenenya era ne tufuba okukola ebisanyusa Katonda, atusonyiwa.​—Ebikolwa 3:19.