Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?

Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?

Lwaki waliwo obukyayi bungi mu nsi? Okusobola okumanya ensonga lwaki weebuli, tulina okusooka okutegeera obukyayi kye ki, lwaki abantu bakyawa abalala, n’ensonga lwaki obukyayi buli buli wamu.

Obukyayi Kye Ki?

Obukyayi kwe kuwulira nga toyagalira ddala muntu, oba ekiti ekimu eky’abantu. Enneewulira eyo tebaawo kaseera buseera wabula etwala ekiseera kiwanvu.

ENSONGA LWAKI ABANTU BAKYAWA ABALALA

Waliwo ensonga nnyingi eziviirako abantu okukyawa abalala. Emirundi mingi abantu bakyayibwa si olw’ebyo bye bakola, wabula olw’ekyo kye bali. Abo abakyayibwa bayinza okutwalibwa ng’abantu ababi, abalina ebigendererwa ebikyamu, oba abatasobola kukyuka ne baba bantu balungi. Bayinza okutwalibwa ng’aba wansi, ab’obulabe, oba abaleetera abalala emitawaana. Abo abakyawa abalala bayinza okuba nga baakolwako ebikolwa eby’obukambwe, baayisibwako mu ngeri etali ya bwenkanya, oba nga baakolwako ekintu ekirala ekibi ekibaleetera okufuna obukyayi.

ENGERI ABANTU GYE BATANDIKAMU OKUKYAWA ABALALA

Omuntu ayinza okukyawa abantu abalala nga takolaganangako nabo. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okutwalirizibwa endowooza y’abantu b’assaamu ekitiibwa, oba b’atera okukolagana nabo. N’olwekyo, kyangu abantu okutandika okukyawa abalala olw’okuba abantu be balimu baakyawa abantu abo.

Bwe tumanya engeri gye kiri ekyangu abantu okutandika okukyawa abalala, kituyamba okutegeera ensonga lwaki waliwo obukyayi bungi. Naye okusobola okweggyamu obukyayi, tulina okusooka okumanya engeri obukyayi gye bwatandikamu. Bayibuli etulaga engeri gye bwatandikamu.

BAYIBULI ETULAGA ENGERI OBUKYAYI GYE BWATANDIKAMU

ABANTU SI BE BAATANDIKAWO OBUKYAYI. Obukyayi bwatandikawo oluvannyuma lwa malayika omu mu ggulu amanyiddwa nga Sitaani, okujeemera Katonda. Sitaani Omulyolyomi ‘okuva lwe yatandika okujeema, mussi.’ Ate era nga Bayibuli bw’eraga, olw’okuba ‘mulimba era nga ye kitaawe w’obulimba,’ yeeyongedde okutumbula obukyayi. (Yokaana 8:44; 1 Yokaana 3:11, 12) Bayibuli eraga nti Sitaani wa ttima nnyo, alina obusungu bungi, era mukambwe nnyo.​—Yobu 2:7; Okubikkulirwa 12:9, 12, 17.

KYANGU ABANTU ABATATUUKIRIDDE OKUBA N’OBUKYAYI. Adamu, omuntu eyasooka okutondebwa, yeegatta ku Sitaani okujeemera Katonda. Ekyo kyaviirako abantu bonna okusikira ekibi n’obutali butuukirivu. (Abaruumi 5:12) Kayini, omwana wa Adamu gwe yasooka okuzaala, yakyawa muganda we Abbeeri era n’amutta. (1 Yokaana 3:12) Kyo kituufu nti abantu bangi balaga abalala okwagala n’obusaasizi. Kyokka olw’okuba twasikira ekibi, abantu bangi beefaako bokka, balina obuggya n’amalala, era ng’ebintu ebyo bibaleetera okukyawa abalala.​—2 Timoseewo 3:1-5.

OMUNTU ATAYAGALA BANTU BA NJAWULO KU YE KIBA KYANGU OKUBAKYAWA. Abantu bangi mu nsi tebalina busaasizi, era bakola ebintu ebiviirako obukyayi okweyongera. Ebintu ng’obutaagala balala, okusosola, okuvuma, okutulugunya, n’okwonoona ebintu by’abalala, byeyongedde nnyo, olw’okuba “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi,” Sitaani Omulyolyomi.​—1 Yokaana 5:19.

Kyokka Bayibuli tekoma ku kutulaga wa obukyayi gye bwava, naye era etulaga ekiyinza okumalawo obukyayi.