Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula

Ennyanjula

Ensi gye tulimu ejjudde obukyayi. Obukyayi bweyolekera mu ngeri nnyingi, gamba ng’okusosola abalala, okubatulugunya, oba okubavuma. Ddala kisoboka okweggyamu obukyayi? Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba okweggyamu obukyayi. Ate era kalaga nti mu biseera eby’omu maaso Katonda ajja kuggirawo ddala obukyayi.