EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI
3 | Ggya Obukyayi mu Birowoozo Byo
Bayibuli Ky’Egamba:
“Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”—ABARUUMI 12:2.
Kye Kitegeeza:
Katonda afaayo nnyo ku ngeri gye tulowoozaamu. (Yeremiya 17:10) Tetulina kukoma ku kwewala kwogera oba kukola kintu kyonna ekyoleka obukyayi. Obukyayi butandikira mu mutima. N’olwekyo tulina okulekera awo okulowooza ku kintu kyonna ekiyinza okutuleetera okukyawa abalala. Ekyo kye kisobola okutuyamba ‘okukyuka’ ne tweggyamu obukyayi.
Ky’Oyinza Okukola:
Weekebere mu bwesimbu olabe endowooza gy’olina ku balala, naddala aba langi endala oba ab’eggwanga eddala. Weebuuze: ‘Abantu abo mbatwala ntya? Endowooza gye mbalinako esinziira ku ebyo bye mbamanyiiko? Oba esinziira ku busosoze bwe nnina gye bali?’ Weewale emikutu emigattabantu, firimu, oba eby’okwesanyusaamu ebitumbula obukyayi n’ebikolwa eby’obukambwe.
Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okweggyamu obukyayi mu mitima gyaffe
Oluusi tekiba kyangu kwekebera mu bwesimbu. Naye Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba “okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Abebbulaniya 4:12) N’olwekyo weeyongere okwekenneenya Bayibuli ky’egamba. Geraageranya endowooza yo n’ekyo ky’egamba era ofube okutuukanya endowooza yo n’ekyo ky’egamba. Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okweggyamu obukyayi ‘obwasimba amakanda’ mu mitima gwaffe.—2 Abakkolinso 10:4, 5.