Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi

4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi

Bayibuli Ky’Egamba:

“Ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.”​ABAGGALATIYA 5:22, 23.

Kye Kitegeeza:

Katonda asobola okutuyamba okweggyamu obukyayi. Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okukulaakulanya engeri ze tutandisobodde kukulaakulanya ku lwaffe. Mu kifo ky’okukozesa obusobozi bwaffe okweggyamu obukyayi, tusaanidde okwesigama ku buyambi Katonda bw’atuwa. Bwe tukola tutyo, tusobola okuba ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Mazima ddala tujja kusobola okugamba nti: “Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.”​—Zabbuli 121:2.

Ky’Oyinza Okukola:

“Yakuwa annyambye okukyuka. Kati sikyali muntu mukambwe, wabula ndi muntu wa mirembe.”​—WALDO

Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Lukka 11:13) Musabe akuyambe okukulaakulanya engeri ennungi. Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri ezituyamba okwewala obukyayi. Gamba nga, okwagala, emirembe, obugumiikiriza, n’okwefuga. Fuba okukulaakulanya engeri ezo era beera n’abantu abafuba okwoleka engeri ezo. Abantu ng’abo bajja ‘kukukubiriza okwagala abalala n’okukola ebikolwa ebirungi.’​—Abebbulaniya 10:24.