Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekiseera Lwe Watalibaawo Bukyayi!

Ekiseera Lwe Watalibaawo Bukyayi!

Ne bwe tweggyamu obukyayi mu mitima gyaffe, tetuyinza kukyusa bikolwa by’abalala awamu n’endowooza yaabwe. Abantu abatalina musango bakyeyongera okukolwako ebintu ebibi ebyoleka obukyayi. Kati olwo kiki ekiyinza okumalirawo ddala obukyayi?

Yakuwa Katonda yekka y’asobola okumalirawo ddala obukyayi obuliwo leero. Era Bayibuli eraga nti ekyo ky’ajja okukola.z—Engero 20:22.

KATONDA AJJA KUGGYAWO EBIVIIRAKO OBUKYAYI

  1. 1. SITAANI OMULYOLYOMI. Sitaani malayika eyajeemera Katonda, ye nsibuko y’obukyayi obuliwo leero. Katonda ajja kuzikiriza Sitaani awamu n’abo abooleka obukyayi nga ye.​—Zabbuli 37:38; Abaruumi 16:20.

  2. 2. ENSI YA SITAANI EJJUDDE OBUKYAYI. Katonda ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi ebiri mu nsi eno, nga muno mwe muli bannabyabufuzi abalyi b’enguzi, ne bannaddiini abasiga obukyayi mu balala. Ate era ajja kuggyawo enteekateeka y’eby’obusuubuzi ejjudde abantu ab’omululu, abalyi b’enguzi, era abakozesa abalala okubaako bye babafunamu.​—2 Peetero 3:13.

  3. 3. OBUTALI BUTUUKIRIVU BW’ABANTU. Bayibuli eraga nti abantu bonna baasikira obutali butuukirivu, kwe kugamba, ebirowoozo byabwe byekubidde ku kukola bintu bibi. (Abaruumi 5:12) Ekimu ku ebyo ebirowoozo byabwe kye byekubiddeko, kwe kukola abalala ebintu ebyoleka obukyayi. Katonda ajja kuyamba abantu okuggwaamu endowooza zonna embi, era n’ekinaavaamu, obukyayi bujja kuggweerawo ddala.​—Isaaya 54:13.

BAYIBULI ESUUBIZA NTI ENSI EJJA KUGGWAAMU OBUKYAYI

  1. 1. TEWALI N’OMU AJJA KUYISIBWA MU NGERI ETALI YA BWENKANYA. Ensi ejja kufugibwa Bwakabaka bwa Katonda, ng’eno ye gavumenti ejja okuleetawo obwenkanya, era ejja okufuga emirembe gyonna ng’esinziira mu ggulu. (Danyeri 2:44) Obusosoze n’obukyayi bijja kuggweerawo ddala. Katonda ajja kumalirawo ddala ebintu byonna ebitali bya bwenkanya abantu bye boolekagana nabyo.​—Lukka 18:7.

  2. 2. BULI MUNTU AJJA KUBA N’EMIREMBE. Tewali n’omu ajja kubonaabona olw’ebikolwa eby’obukambwe, oba olw’entalo. (Zabbuli 46:9) Ensi ejja kuba ntebenkevu ng’erimu bantu abaagala emirembe bokka.​—Zabbuli 72:7.

  3. 3. ABANTU BAJJA KUBAAWO EMIREMBE GYONNA NGA BALI MU MBEERA NNUNGI. Abantu bonna abanaabeera mu nsi bajja kuba balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. (Matayo 22:39) Tewali n’omu ajja kuba mu nnaku wadde okufuna obulumi olw’okulowooza ku bintu eby’emabega ebitali birungi. (Isaaya 65:17) Mu kiseera ekyo ng’obukyayi buweddewo, “walibaawo emirembe mingi.”​—Zabbuli 37:11.

Wandyagadde okubeera mu nsi ng’eyo? Ne mu kiseera kino abantu bangi bayize okukolera ku magezi agali mu Bayibuli ne beggyamu obukyayi. (Zabbuli 37:8) Ekyo bwe kityo bwe kiri eri Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi. Wadde nga bava mu nsi za njawulo n’obuwangwa bwa njawulo, bonna bali bumu era baagalana ng’ab’oluganda.​—Isaaya 2:2-4.

Abajulirwa ba Yakuwa baagala nnyo okubuulirako abalala ebyo bye bayize ebibayambye okugumira obutali bwenkanya n’okuggwaamu obusosoze. Ebyo by’onooyiga bijja kukuyamba okuggwaamu obusosoze, era n’okuba omuntu alaga abalala okwagala. Osobola okumanya engeri gy’oyinza okuyisaamu abalala mu ngeri ey’ekisa, ka babe abo abayinza okuba nga tebasiima, oba abo abooleka obukyayi. N’ekinaavaamu, ojja kweyongera okuba omusanyufu kati, era enkolagana yo n’abalala ejja kweyongera okuba ennungi. N’ekisinga obukulu, ojja kuyiga ekyo ky’oyinza okukola okusobola okubeera mu nsi ejja okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, era etalibaamu bukyayi.​—Zabbuli 37:29.