Tusobola Okweggyamu Obukyayi!
Wali oyisiddwaako mu ngeri eyoleka obukyayi?
Ne bw’oba nga toyisibwangako bw’otyo, oyinza okuba ng’olina abantu b’olabye nga bayisibwa mu ngeri eyoleka obukyayi. Amawulire gatera okulaga abantu abayisibwa obubi olw’eggwanga lyabwe, langi yaabwe, oba olw’okuba balyi ba bisiyaga. N’ekivuddemu, gavumenti zitaddewo ebibonerezo ebiweebwa abo abayisa abalala obubi olw’obukyayi bwe baba babalinako.
Abantu abakyayibwa nabo batera okukyawa abalala. Emirundi mingi abantu abakolwako ebintu ebyoleka obukyayi, nabo babikola abalala.
Oboolyawo baali bakusosoddeko, bakujerezeeko, bakuvumyeko, oba okukutiisatiisa. Kyokka obukyayi busingawo ku ebyo. Butera okuviirako abantu okutulugunya abalala, okwonoona ebintu byabwe, okubatta, abakazi okukwatibwa, oba ekitta bantu.
Ebibuuzo bino bigenda kuddibwamu mu katabo kano era kagenda kulaga engeri gye tuyinza okweggyamu obukyayi:
Lwaki waliwo obukyayi bungi?
Tuyinza tutya okweggyamu obukyayi?
Ekiseera kirituuka ne waba nga tewakyaliwo bukyayi?