Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

2 | Weewale Okwesasuza

2 | Weewale Okwesasuza

Bayibuli Ky’Egamba:

“Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. . . . Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna. Temuwooleranga ggwanga . . . kubanga kyawandiikibwa nti: ‘“Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,” Yakuwa bw’agamba.’”​ABARUUMI 12:17-19.

Kye Kitegeeza:

Wadde nga kya bulijjo okunyiiga nga waliwo atuyisizza obubi, Katonda atukubiriza obuteesasuza. Mu kifo ky’ekyo, atugamba okuba abagumiikiriza kubanga asuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala ajja kuggyawo obutali bwenkanya bwonna.​—Zabbuli 37:7, 10.

Ky’Oyinza Okukola:

Abantu abatatuukiridde bwe beesasuza, kiviirako obukyayi okweyongera mu bantu. N’olwekyo, omuntu bw’akuyisa obubi, weewale okwesasuza. Fuba okusigala ng’oli mukkakkamu era weefuge. Oluusi bw’osalawo okubuusa amaaso ekyo ekiba kikukoleddwa, obulumi bw’ofuna buba butonoko. (Engero 19:11) Kyokka emirundi egimu kiyinza okukwetaagisa okutegeeza abalala ekyo ekiba kikukoleddwa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okusalawo okuwaaba ku poliisi oba eri ab’obuyinza abalala, ekintu ekibi ekiba kikukoleddwa.

Bwe weesasuza oba oyongera kwerumya

Watya singa kiringa ekitasoboka kugonjoola nsonga mu ngeri ya mirembe? Oba watya singa okoze kyonna ky’osobola okugonjoola ensonga mu ngeri ey’emirembe naye ne mutavaamu kalungi? Teweesasuza. Okwesasuza kiyinza kwongera bwongezi kusajjula mbeera. Mu kifo ky’okwesasuza, fuba okweggyamu obukyayi. Yiga okwesiga Katonda nti asobola okugonjoola ekizibu. ‘Bw’onoomwesiga, ajja kukuyamba.’​—Zabbuli 37:3-5.