OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2023 | Obulwadde Obukosa Ebirowoozo—Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okutuyambamu
Okwetooloola ensi abantu bukadde na bukadde balina obulwadde obukosa ebirowoozo. Obulwadde obwo bukosa abantu aba buli kika, aba langi ez’enjawulo, ab’amadiini ag’enjawulo, abato n’abakulu, abagagga n’abaavu, n’abayivu n’abatali bayivu. Ezimu ku ndwadde ezireetera abantu okukosebwa mu birowoozo ze ziruwa, era zikosa zitya abantu? Magazini eno eraga obukulu bw’okufuna obujjanjabi era n’engeri Bayibuli gy’esobola okuyambamu abantu abatawaanyizibwa endwadde ezo.
Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Buli mu Nsi Yonna
Abantu ab’emyaka egy’enjawulo era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo basobola okukosebwa obulwadde bw’ebirowoozo. Laba engeri Bayibuli gy’esobola okukuyamba ng’otawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo.
Katonda Akufaako
Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa Katonda ategeera engeri gye weewuliramu okusinga omuntu omulala yenna?
1 | Okusaba—‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’
Osobola okusaba Katonda nga waliwo ekintu kyonna ekikweraliikiriza? Okusaba kuganyula kutya abo abalina obulwadde obukosa ebirowoozo?
2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’
Bayibuli eraga nti obulumi bwe tufuna olw’ebirowoozo ebibi bujja kuggwaawo.
3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli
Ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi aboogerwako mu Bayibuli bisobola okutuyamba nga tutawaanyizibwa mu birowoozo.
4 | Bayibuli Erimu Amagezi Agatuyamba
Laba engeri okufumiitiriza ku nnyiriri eziri mu Bayibuli n’okweteerawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako gye kiyinza okukuyamba ng’otawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo.
Okuyamba Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo
Bw’oyamba mukwano gwo alina obulwadde obukosa mu birowoozo kisobola okumubudaabuda.