4 | Bayibuli Erimu Amagezi Agatuyamba
BAYIBULI EGAMBA NTI: “Buli Kyawandiikibwa . . . kigasa.”—2 TIMOSEEWO 3:16.
Kye Kitegeeza
Wadde nga Bayibuli si kitabo ekikwata ku by’obujjanjabi, erimu amagezi agasobola okutuyamba. Amagezi ago gasobola okuyamba omuntu ng’alina obulwadde obumuviirako okukosebwa mu birowoozo. Ka tulabeyo ebyokulabirako.
Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okukuyamba
“Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” —MATAYO 9:12.
Bayibuli eraga nti oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuna obujjanjabi. Bangi basobodde okufuna obuweerero bwe basomye ebikwata ku bulwadde bwabwe okuva mu nsonda ezeesigika, oba bwe balabye omusawo omukugu asobola okubayamba.
“Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo.”—OMUBUULIZI 4:6.
Okukola ebintu ebiyamba omubiri gwo kiyinza n’okukuyamba mu birowoozo. Ebintu ng’okukola dduyiro obutayosa, okulya emmere erimu ekiriisa, n’okwebaka ekimala, bisobola okukuyamba.
“Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.”—ENGERO 17:22.
Okusoma ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi n’okweteerawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako, kisobola okukuyamba okuba omusanyufu. Bw’ossa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi, era n’oba ng’okikkiriza nti embeera ejja kutereera
mu biseera eby’omu maaso, kisobola okukuyamba ng’otawaanyizibwa obulwadde obukuviirako okukosebwa mu birowoozo.“Abeetoowaze baba ba magezi.” —ENGERO 11:2.
Oluusi oyinza obutasobola kukola buli kintu kyonna kye wandyagadde okukola. N’olwekyo kiba kya magezi okukkiriza abalala okukuyamba. Mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo bayinza okwagala okukuyamba, naye bayinza okuba nga tebamanyi ngeri ya kukuyambamu. Bategeeze engeri gye basobola okukuyambamu. Tobasuubiramu kisukkiridde, era bulijjo siima obuyambi bwe bakuwa.
Engeri Amagezi Agali mu Bayibuli Gye Gayamba Abo Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo
“Nnakiraba nti nnalina ekizibu, era bwe kityo nnagenda okulaba omusawo. Omusawo yankebera era n’annyamba okutegeera ekizibu kyange n’okumanya obujjanjabi bwe nnali nneetaaga okufuna.”—Nicole, a atawaanyizibwa ekizibu eky’okukyukakyuka mu mbeera ne mu birowoozo.
“Nkirabye nti okusoma Bayibuli ne mukyala wange buli lunaku kinnyamba okwewala ebirowoozo ebimalamu amaanyi. Emirundi mingi ekizibu kyange we kibeerera eky’amaanyi ennyo, wabaawo olunyiriri mu Bayibuli olunzizaamu amaanyi.”—Peter, alina ekizibu ky’okwekyawa.
“Tekyannyanguyira kubuulira balala kizibu kyange, kubanga nnali mpulira nti kinswaza. Naye mukwano gwange ow’oku lusegere yampuliriza bulungi era yagezaako okutegeera engeri gye nnali nneewuliramu. Ekyo kyannyamba okuwulira obulungi era kyandeetera okuwulira nti ssiri nzekka.”—Ji-yoo, alina obulwadde obumuleetera okulya ekisukkiridde.
“Bayibuli ennyambye okumanya obukulu bw’okuwummula ekimala, n’obutakola kisukkiridde. Amagezi agagirimu gannyambye nnyo okwaŋŋanga ekizibu kyange.”—Timothy, alina ekizibu ky’okweraliikirira ekisukkiridde n’okuba nga buli kiseera alowooza ku bintu ebimalamu amaanyi.
a Amannya agamu gakyusiddwa.