Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKINTU EKY’EBYAFAAYO!

Okufulumizibwa kwa Bayibuli ey’Oluganda Eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya

Okufulumizibwa kwa Bayibuli ey’Oluganda Eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya

SSEBUTEMBA 18, 2015, lwali lunaku lwa byafaayo. Ku olwo, Bayibuli, Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Oluganda yafulumizibwa.

Enkyusa ey’Ensi Empya kati y’emu ku nkyusa za Bayibuli ezikozesebwa abantu abaagala okumanya ebikwata ku Katonda mu Uganda. Naye lwaki kyali kyetaagisa okufulumya enkyusa endala eya Bayibuli? Baani abali emabega w’omulimu guno? Lwaki Enkyusa ey’Ensi Empya yeesigika?

Lwaki Waliwo Enkyusa za Bayibuli Nnyingi?

Waliwo enkyusa empya nnyingi eza Bayibuli ezifulumiziddwa mu myaka egyakayita. Ezimu ku zo ze zisookedde ddala okufulumizibwa mu nnimi ezimu. Ate endala zifulumiziddwa mu nnimi Bayibuli mwe yamala edda okufulumizibwa. Lwaki kiri bwe kityo? Ekitabo ekiyitibwa So Many Versions?, ekyawandiikibwa Sakae Kubo ne Walter Specht, kigamba nti: “Tewali nkyusa ya Bayibuli esobola okutwalibwa ng’ey’enkomeredde. Enkyusa za Bayibuli zirina okutuukana n’ebintu ebipya ebiba bizuuliddwa abeekenneenya ba Bayibuli era n’enkyukakyuka ezibaawo mu nnimi.”

Mu myaka egyakayita, abantu beeyongedde okutegeera Olwebbulaniya, Olulamayiki, n’Oluyonaani, nga zino ze nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Era wabaddewo ebiwandiiko bya Bayibuli ebirala bingi ebizuuliddwa, ng’ate bikadde era nga byesigika okusinga ebyo abavvuunuzi ba Bayibuli ab’emyaka egyayita bye baalinga bakozesa. N’olwekyo, leero Ekigambo kya Katonda kisobola okuvvuunulwa mu ngeri entuufu okusinga bwe kibadde mu biseera eby’emabega!

Declan Hayes, profesa eyeekenneenya eby’obusuubuzi mu nsi yonna, yagamba nti: “Buli mwaka, Bayibuli kye kitabo abantu kye basinga okugula.” Abamu batuuse n’okussa ennyo essira ku kutunda Bayibuli mu kifo ky’okufaayo ku kugivvuunula mu ngeri entuufu. Ng’ekyokulabirako, abavvuunuzi ba Bayibuli abamu batuuse n’okuggya mu Bayibuli ennyiriri ezimu ze baba balowooza nti tezijja kunyumira basomi. Ate abalala bakyusa amakulu g’ebigambo ebimu bye balowooza nti binyiiza abantu abamu. Okugeza, okusobola okusikiriza abasomi abamu, enkyusa ya Bayibuli emu Katonda emuyita “Taata-Maama.”

Okuggya Erinnya lya Katonda mu Bayibuli

Naye ekintu ekisingayo okuba ekibi abavvuunuzi abamu kye bakoze kikwata ku linnya lya Katonda, Yakuwa. (Abamu erinnya eryo baliwandiika nga “Yahweh.”) Mu biwandiiko bya Bayibuli eby’edda, erinnya lya Katonda lyali likiikirirwa ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya ezisobola okuwandiikibwa nga YHWH oba JHVH. Erinnya eryo lisangibwa mu kitundu kya Bayibuli bangi kye bayita Endagaano Enkadde emirundi nga 7,000. (Okuva 3:15; Zabbuli 83:18) Kyeyoleka lwatu nti Omutonzi waffe ayagala abantu okumanya erinnya lye era balikozese!

Emyaka mingi emabega, Abayudaaya baalekera awo okwatula erinnya lya Katonda olw’obulombolombo bwabwe. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, n’Abakristaayo abamu baatandika okugoberera obulombolombo obwo. (Ebikolwa 20:29, 30; 1 Timoseewo 4:1) N’ekyavaamu, abavvuunuzi ba Bayibuli bangi baatandika okuggya erinnya lya Katonda mu Bayibuli era mu kifo kyalyo ne bateekawo ekitiibwa “Mukama.” Leero, Bayibuli ezisinga teziriimu linnya lya Katonda. Ezimu zituuse n’okuggyamu ebigambo ebiraga nti Katonda alina erinnya. Ng’ekyokulabirako, mu Yokaana 17:6, Yesu yagamba nti: “Erinnya lyo ndimanyisizza.” Naye Bayibuli y’Oluganda eya 2003 evvuunula bw’eti ebigambo ebyo: “Nkumanyisizza.”

Lwaki abantu abamu tebaagalira ddala kukozesa linnya lya Katonda? Lowooza ku bigambo ebyawandiikibwa mu katabo akayitibwa Practical Papers for the Bible Translator. Akatabo ako kakubibwa ekitongole ekiyitibwa United Bible Societies (UBS), ekikwanaganya abavvuunuzi ba Bayibuli abasinga obungi mu nsi yonna. Ekitundu ekimu ekyafulumira mu katabo ako kyagamba nti: “Okuva bwe kiri nti YHWH linnya, okuvvuunula erinnya eryo obutereevu kye kyandibadde ekituufu okukola.” Naye ekitundu ekyo era kyagamba nti: “Kyokka waliwo ensonga ezitalina kubuusibwa maaso.”

Naye ensonga ezo zirimu eggumba? Akatabo ako kaagamba nti abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti: “Okuvvuunula erinnya lya Katonda nga tukozesa ebigambo, gamba nga Yahweh, kiyinza okuwa abantu amakulu amakyamu . . . , ne batandika n’okulowooza nti ‘Yahweh’ Katonda mulala, oba nti Katonda mupya, ayawukana ku Katonda gwe bamanyi.” Naye Bayibuli ekiraga bulungi nti Yakuwa Katonda wa njawulo ku bakatonda abalala bonna!​—Isaaya 43:10-12; 44:8, 9.

Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti okuggya erinnya lya Katonda mu Bayibuli mu kifo kyalyo ne bassaamu ekitiibwa “Mukama,” baba bagoberera kalombolombo. Naye Yesu yavumirira eky’okugoberera obulombolombo obutaweesa Katonda kitiibwa. (Matayo 15:6) Ate era Ebyawandiikibwa tebirina we biragira nti kituufu okuggya erinnya lya Katonda mu Bayibuli. Yesu naye alina ebitiibwa bingi, gamba nga “Kigambo kya Katonda” ne “Kabaka wa bakabaka.” (Okubikkulirwa 19:11-16) Kati olwo kiba kituufu okuggya erinnya Yesu mu Bayibuli mu kifo kyalyo ne muteekebwamu ekimu ku bitiibwa ng’ebyo?

Ekitundu ekirala ekyafulumira mu katabo ako kyagamba nti: “Tusaanidde okwewala okuvvuunula erinnya lya Katonda nga ‘Jehovah’ (Yakuwa).” Nsonga ki gye baawa? Ekitundu ekyo kyagamba nti: “Abeekenneenya ba Bayibuli bangi bagamba nti ekigambo ‘Yahweh’ kye kisinga okuggyayo engeri entuufu erinnya lya Katonda gye lyali lyatulwamu edda.” Naye kirowoozeeko: amannya mangi agali mu Bayibuli, gamba nga Isaaya, Yeremiya, ne Yesu gawandiikibwa mu ngeri eyawukana ku ngeri gye gaali gaatulwamu mu Lwebbulaniya (Yeshaʽ·yaʹhu, Yir·meyahʹ, ne Yehoh·shuʹaʽ). Okuva bwe kiri nti erinnya lya Katonda limaze ebbanga ddene nga liwandiikibwa nga “Jehovah” mu Lungereza ne mu nnimi endala, okugamba nti si kituufu kuliwandiika tutyo nsonga eteriimu ggumba. Mu butuufu, abo abagamba nti si kituufu kukozesa linnya lya Katonda beesigama ku ndowooza zaabwe bo ng’abantu kinnoomu, so si ku bujulizi obwesigika.

Naye waliwo n’ensonga enkulu ennyo gye tusaanidde okulowoozaako. Ng’ekyokulabirako, omu ku bamemba b’ekitongole kya UBS abeera mu Buyindi yalaga akabi akali mu kuggya erinnya lya Katonda mu nkyusa za Bayibuli mwe lyali mu kusooka. Yagamba nti: “Abahindu kye basinga okwagala okumanya si bye bitiibwa bya Katonda; wabula erinnya lye. Bwe batamanya linnya eryo, kibazibuwalira okutegeera Katonda.” Ekyo kye yayogera kituufu. Omuntu bw’atamanya linnya lya Katonda, Katonda taba wa ddala eri omuntu oyo era kimuzibuwalira okukitegeera nti ddala gy’ali era nti asobola okumumanya. (Okuva 34:6, 7) Bayibuli egamba nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Abaruumi 10:13) Ekyo kiraga nti Katonda yeetaagisa abaweereza be bonna okukozesa erinnya lye!

Enkyusa ya Bayibuli Eweesa Katonda Ekitiibwa

Enkyusa ey’Ensi Empya ekozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa

Omwaka gwa 1950 gwali mukulu nnyo mu byafaayo, kubanga mu mwaka ogwo Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ey’Olungereza mwe yasooka okufulumizibwa. Mu myaka ekkumi egyaddirira Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, oba bangi bye bayita Endagaano Enkadde, byagenda bifulumizibwa mu bitundutundu. Mu 1961 Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza yafulumizibwa mu Bulambalamba. Enkyusa ey’Ensi Empya ekozesa erinnya “Yakuwa” mu bifo nga 7,000 erinnya lya Katonda we lirina okubeera mu Ndagaano Enkadde. Ate era eteeka erinnya lya Katonda mu bifo 237 we lirina okubeera mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, oba mu “Ndagaano Empya.”

Okuzza erinnya lya Katonda mu bifo we lirina okubeera kiweesa Katonda ekitiibwa era kiyamba abantu okutegeera obulungi Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, enzivuunula za Bayibuli nnyingi zivvuunula bwe ziti Matayo 22:44: “Mukama yagamba Mukama wange nti.” Ekyebuuzibwa kiri nti, ani ayogera eri munne? Mu Enkyusa ey’Ensi Empya, Matayo 22:44 wagamba nti: “Yakuwa yagamba Mukama wange nti,” era ng’ebigambo ebyo bikwatagana bulungi n’ebyo ebiri mu Zabbuli 110:1. Okuvvuunula olunyiriri olwo mu ngeri eyo kiyamba omuntu okulaba enjawulo wakati wa Yakuwa Katonda n’Omwana we.

Baani Abali Emabega w’Omulimu Guno?

Enkyusa ey’Ensi Empya ekubibwa Watch Tower Bible and Tract Society, ekitongole ekikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka. Abajulirwa ba Yakuwa bamaze emyaka egisukka mu kikumi nga bakuba Bayibuli era nga bazibunyisa mu nsi yonna. Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza yavvuunulwa ekibinja ky’Abakristaayo abaali ku kakiiko akayitibwa New World Bible Translation Committee. Abakristaayo abo baali tebeenoonyeza ttutumu, era baasaba nti amannya gaabwe galeme kutegeezebwa balala, n’oluvannyuma lw’okufa kwabwe.​—1 Abakkolinso 10:31.

Lwaki Bayibuli eyo eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya? Ennyanjula eri mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 1950 egamba nti erinnya eryo liraga nti abantu ba Katonda bakakafu nti tunaatera okuyingira mu nsi empya eyogerwako mu 2 Peetero 3:13. Ng’ab’oluganda abaali ku kakiiko ako bwe baagamba, mu kiseera kino nga tunaatera okuyingira mu nsi empya, kikulu nnyo enkyusa za Bayibuli okuyamba abantu okutegeera obulungi amazima agali mu Kigambo kya Katonda.

Enkyusa ya Bayibuli Eyeesigika

Abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya bassa nnyo essira ku kuvvuunula Ekigambo kya Katonda mu ngeri entuufu. Bavvuunula butereevu okuva mu biwandiiko bya Bayibuli eby’edda eby’Olwebbulaniya, eby’Olulamayiki, n’eby’Oluyonaani ebyali bisingayo okwesigika mu kiseera ekyo. * Baafuba nnyo okuvvuunula Ebyawandiikibwa mu ngeri entuufu ddala era mu ngeri etegeerekeka obulungi eri omusomi ow’omu kiseera kyaffe.

N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abeekenneenya ba Bayibuli abamu batenderezza Enkyusa ey’Ensi Empya olw’engeri entuufu gye yavvuunulwamu. Mu 1989, Profesa Benjamin Kedar, eyeekenneenya olulimi Olwebbulaniya mu Isirayiri, yagamba nti: “Bwe mba nnoonyereza ebikwata ku Bayibuli ey’Olwebbulaniya n’enzivuunula za Bayibuli ezitali zimu, ntera okukozesa Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza. Nkirabye nti abavvuunula Bayibuli eyo baafuba nnyo okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa n’okubivvuunula mu ngeri entuufu ddala.”

Okuvvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya mu Nnimi Endala

Abajulirwa ba Yakuwa bafubye n’okukakasa nti Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza evvuunulwa ne mu nnimi endala. Leero enkyusa eyo ekubibwa mu nnimi ezisukka mu 130. Okusobola okukola obulungi omulimu guno, Abajulirwa ba Yakuwa bassaawo enkola ey’okwekenneenya ebigambo bya Bayibuli nga bakozesa kompyuta. Ekitongole ekiyitibwa Translation Services kyateekebwawo okuyamba ku bavvuunuzi. Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kalabirira omulimu ogw’okuvvuunula Bayibuli okuyitira mu Kakiiko Akawandiisi. Naye omulimu gw’okuvvuunula gukolebwa gutya?

Okusookera ddala, wabaawo Abakristaayo abalondebwa okuba ku ttiimu egenda okukola ogw’okuvvuunula. Kizuuliddwa nti abavvuunuzi bwe bakolera awamu nga tiimu, mu kifo kya buli omu okukola yekka, bakola bulungi omulimu ogw’okuvvuunula. (Engero 11:14) Okutwalira awamu, buli omu ku ttiimu aba n’obumanyirivu mu kuvvuunula ebitabo ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Abo bonna abali ku ttiimu baweebwa obulagirizi obukwata ku kuvvuunula Bayibuli n’engeri y’okukozesaamu programu za kompyuta ezikozesebwa mu mulimu ogw’okuvvuunula Bayibuli.

Abo abali ku ttiimu bakubirizibwa okuvvuunula Bayibuli mu ngeri entuufu era eyanguyira omuntu owa bulijjo okugitegeera. We kisoboka, bakubirizibwa okuvvuunula kigambo ku kigambo, kasita kiba nti okuvvuunula mu ngeri eyo tekikyusa makulu g’Ebyawandiikibwa. Kino bakikola batya? Lowooza ku Bayibuli empya eyafulumizibwa. Abavvuunuzi baatandikira ku kuvvuunula ebigambo ebikulu kinnakimu ebiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza nga babizza mu Luganda. Baakozesa programu eyitibwa Watchtower Translation System eyali eraga olukalala lw’ebigambo ebitali bimu ebirina amakulu agafaanagana. Programu eyo era yali eraga n’ebigambo by’Oluyonaani n’Olwebbulaniya n’engeri gye byavvuunulwamu mu Lungereza, era ekyo kyayamba abavvuunuzi okumanya engeri ebigambo ebyo gye byavvuunulwamu mu nnyiriri ezitali zimu. Ebyo byonna byayamba abavvuunuzi okumanya ebigambo eby’Oluganda ebituukirawo bye baali bayinza okukozesa. Abavvuunuzi bwe baamala okukkiriziganya ku bigambo ebyo, baatandika okuvvuunula Bayibuli, era ku buli lunyiriri lwe baatuukangako, kompyuta yaleetanga ebigambo eby’Oluganda bye baali baamala okuyingizaamu ebikwatagana n’eby’Olungereza ebyali mu lunyiriri olwo.

Kyokka, abavvuunuzi bwe baali bavvuunula, tebaamala gateekawo buteesi bigambo. Baafuba okulaba nti balonda ebigambo eby’Oluganda ebiggyayo amakulu g’Ebyawandiikibwa amatuufu mu buli lunyiriri. Ate era baafuba nnyo okulaba nti basengeka ebigambo mu ngeri abantu aboogera Oluganda gye boogeramu. Omulimu gwe baakola gwali gwa maanyi nnyo. Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Oluganda yavvuunulwa mu ngeri ennyangu okusoma, etegeerekeka obulungi, era eggirayo ddala amakulu g’Ebyawandiikibwa. *

Tukukubiriza okusoma Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Oluganda. Osobola okugifuna ku abo abakuba magazini eno oba ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo. Gisome ng’okimanyi nti evvuunula Ekigambo kya Katonda mu ngeri entuufu. Awatali kubuusabuusa, bw’onoogisoma, ojja kukiraba nti okufulumizibwa kwayo kyali kintu kya byafaayo!

^ lup. 24 Ebiwandiiko ebiyitibwa The New Testament in the Original Greek ebya Westcott ne Hort, bye baasinziirako okuvvuunula Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani mu Enkyusa ey’Ensi Empya. Ate ebyo ebiyitibwa Biblia Hebraica ebya R. Kittel bye byasinziirwako okuvvuunula Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ate mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013 waliwo n’ebiwandiiko ebirala eby’omu kyasa eky’okubiri oba eky’okusatu ebyakozesebwa. Ebiwandiiko ebirala ebiraga ebintu ebikulu ebizuuliddwa mu myaka egyakayita, gamba ng’ebyo ebya Nestle ne Aland awamu n’eby’ekitongole ekiyitibwa UBS, nabyo byakozesebwa.

^ lup. 30 Okumanya ebisingawo ebikwata ku bulagirizi abavvuunuzi bwe baagoberera n’ebirala ebiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Oluganda, laba Ebyongerezeddwako A1 ne A2 mu Bayibuli eyo.