Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSIIMA EKIRABO EKY’OMUWENDO KATONDA KYE YATUWA?

Onoolaga Otya nti Osiima Ekirabo Katonda kye Yatuwa?

Onoolaga Otya nti Osiima Ekirabo Katonda kye Yatuwa?

“Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza, kubanga . . . yafiirira bonna, abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiirira.”2 Abakkolinso 5:14, 15.

BWE tufuna ekirabo, tusaanidde okwebaza oyo aba akituwadde. Ekyo Yesu yakiraga bulungi bwe yamala okuwonya abasajja kkumi abaalina obulwadde bw’ebigenge. Ku basajja abo, omu yekka ye ‘yakomawo ng’agulumiza Katonda mu ddoboozi ery’omwanguka.’ Yesu yagamba nti: “Bonna ekkumi tebalongooseddwa? Kati olwo omwenda bali wa?” (Lukka 17:12-17) Ekyo kiraga nti tusobola okwerabira amangu ebintu ebirungi abalala bye baba batukoledde.

Ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo. Kati olwo, oyinza otya okulaga nti osiima ekirabo ekyo Katonda kye yakuwa?

  • Fuba okumanya ebikwata ku oyo eyakikuwa. Eky’okuba nti Yesu yatufiirira tekitegeeza nti buli muntu ateekwa okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Singa bakugamba nti waliwo omuntu eyawonya obulamu bwo ng’okyali muto, tewandyagadde kumanya bisingawo bikwata ku muntu oyo n’ensonga lwaki yakuwonya? Yakuwa Katonda eyawaayo Omwana we okukufiirira, ayagala omanye ebimukwatako era ofuuke mukwano gwe. Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”Yakobo 4:8.

  • Kkiririza mu kinunulo. “Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:36) Olina okubaako ky’okolawo okulaga nti okkiririza mu kinunulo. (Yakobo 2:17) Mu ngeri ki? Ekirabo tekiba kikyo okutuusa ng’omaze okukiggya ku oyo akikuwadde. Naawe olina okubaako ky’okolawo okufuna ekirabo Katonda kye yakuwa. Weetaaga okumanya Katonda by’ayagala era obikole. * Saba Katonda akusonyiwe ebibi byo. Bw’okkiririza mu kinunulo, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo!Abebbulaniya 11:1.

  • Beerawo ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu. Yesu yatandikawo omukolo ogutujjukiza ekyo Katonda kye yatukolera, era omukolo ogwo gubaawo buli mwaka. Bwe yali atandikawo omukolo ogwo, yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Lukka 22:19) Abajulirwa ba Yakuwa bajja kujjukira okufa kwa Yesu ku Lwokubiri, nga Apuli 11, 2017, ng’ejuba emaze okugwa. Omukolo ogwo gujja kumala essaawa ng’emu, era abanaabaawo bajja kuwuliriza okwogera okukwata ku ngeri okufa kwa Yesu gye kutuganyulamu kati, era n’engeri gye kujja okutuganyulamu mu biseera eby’omu maaso. Omwaka oguwedde, abantu obukadde ng’abiri be baaliwo ku mukolo ogwo okwetooloola ensi yonna. Tukwaniriza obeewo ku mukolo ogwo, osobole okulaga nti osiima ekirabo eky’omuwendo Katonda kye yatuwa.

^ lup. 7 Ekimu ku binaakuyamba okumanya ebikwata ku Katonda, kwe kuyiga Bayibuli. Buuza omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akubuulire ebisingawo ku nsonga eyo oba genda ku mukutu, www.pr418.com/lg.