Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuteebereza Ebinaabaawo

Okuteebereza Ebinaabaawo

Wali weebuuzizzaako ebiseera byo eby’omu maaso n’eby’ab’omu maka go bwe biribeera? Olowooza embeera eneetereera oba eneeyongera kwonooneka? Abantu bamaze emyaka mingi nga beebuuza ekibuuzo ekyo.

Leero abakugu beetegereza ebizze bibaawo mu nsi, ne bateebereza ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Wadde ng’ebimu ku bintu bye bateebereza bituukirira, ebisinga obungi tebituukirira. Ng’ekyokulabirako, mu 1912, Guglielmo Marconi, eyasooka okuyiiya ebyuma ebiweereza amaloboozi mu bitundu eby’ewala yagamba nti: “Okukola ebyuma ng’ebyo kijja kumalawo entalo.” Ate mu 1962, kitunzi wa kampuni y’abayimbi eyitibwa Decca Record Company yagamba nti abayimbi ba kadongo kamu baali bagenda kuviirawo ddala.

Abantu bangi bagenda mu balaguzi nga baagala okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Abamu beebuuza ku balaguzisa emmunyeenye, era ebifaananyi by’emmunyeenye ezo batera okufulumira mu magazini ne mu mpapula z’amawulire. Ate abalala beebuuza ku balaguzi abagamba nti basobola “okumanya” ebinaatuuka ku muntu mu biseera eby’omu maaso nga bakozesa kaadi, ennamba, oba layini eziri mu kibatu ky’omuntu.

Mu biseera eby’edda, abantu abamu baagendanga eri omulaguzi eyababuuliranga obubaka ng’agamba nti buvudde eri katonda we. Ng’ekyokulabirako, kigambibwa nti Kabaka Kolusasi ow’e Luda yaweereza omulaguzi ow’e Delphi mu Buyonaani ebirabo, ng’amusaba amubuulire ebyandivudde mu lutalo lwe yali agenda okulwana ne Kabaka Kuulo owa Buperusi. Omulaguzi oyo yagamba nti Kolusasi yandizikirizza “obwakabaka obw’amaanyi.” Olw’okuba yali mukakafu nti yandiwangudde, Kolusasi yagenda mu lutalo olwo, kyokka obwakabaka bwe, bwe bwazikirizibwa!

Ebigambo by’omulaguzi oyo byali bibuzaabuza kubanga tebyalaga bwakabaka ki obwandiwanguddwa. Kolusasi yafiirwa buli kimu olw’okuwuliriza ebigambo eby’obulimba. Abantu abagenda eri abalaguzi, basobodde okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?