Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye
Ng’ekyokulabirako, Sally, a abeera mu Amerika, eyafiirwa ebintu bye ebisinga obungi mu muyaga, agamba nti: “Nnawulira nga nsobeddwa era nnamala ennaku nnyingi nga simanyi kya kukola.”
Ate kiba kitya ng’ofiiriddwa omuntu wo gw’oyagala ennyo? Janice, abeera mu Australia, agamba nti: “Bwe nnafiirwa batabani bange bombi, nnawulira ng’ennaku empitiriddeko era kyantwalira ekiseera okuguma. Nnasaba Katonda ne mugamba nti: ‘Mpulira sikyasobola kugumira mbeera eno! Nkwegayiridde, ndeka nfe nneme kuba mulamu.’”
Ate ye Daniel yasoberwa nnyo bwe yakimanya nti mukyala we teyali mwesigwa gy’ali. Agamba nti: “Mukyala wange bwe yaŋŋamba nti tabadde mwesigwa gye ndi, nnawulira nga gwe bafumise ekiso ku mutima. Ekintu ekyo kyannuma nnyo.”
Mu katabo kano, tugenda kulaba ensonga lwaki tosaanidde kuggwaamu maanyi wadde nga
Ka tusooke tulabe ekiyinza okutuyamba okugumiikiriza nga tukoseddwa akatyabaga.
a Amanya agamu gakyusiddwa.