Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
Abantu bangi basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, naye wali weebuuzizzaako nti Obwakabaka bwa Katonda kye ki era nti bunaakola ki?
LOWOOZA KU EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA:
Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
Ye gavumenti ey’omu ggulu era nga Yesu Kristo ye Kabaka waayo.—Isaaya 9:6, 7; Matayo 5:3; Lukka 1:31-33.
Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola?
Bujja kuggyawo ebintu ebibi byonna ku nsi era buleetere abantu emirembe egya nnamaddala.—Danyeri 2:44; Matayo 6:10.
Kitegeeza ki okusooka okunoonya Obwakabaka?
Kitegeeza okuwagira Obwakabaka bwa Katonda era n’okubwesiga nti bwe bwokka obujja okutereeza ensi nga Katonda bwe yali ayagala ebeere.—Matayo 6:33; 13:44.