Salawo Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda Kati!
Kuba akafaananyi nga waliwo olusozi olunaatera okubumbulukuka mu kitundu kyo. Ebitongole bya gavumenti birabula abantu okuva mu kitundu ekyo AMANGU DDALA! Kiki kye wandikoze? Oba olina okuva mu kitundu ekyo awatali kulwa.
Mu butuufu, waliwo akabi akatwolekedde ffenna. Akabi ako Yesu yakayita “ekibonyoobonyo ekinene.” (Matayo 24:21) Tetusobola kwewala kibonyoobonyo ekyo, naye tusobola okukiyitamu. Mu ngeri ki?
Lumu Yesu bwe yali ayigiriza, yagamba nti: “Kale musooke munoonyenga Obwakabaka [bwa Katonda] n’obutuukirivu bwe.” (Matayo 6:33) Ekyo tuyinza kukikola tutya?
Musooke munoonyenga Obwakabaka. Ekyo kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda tusaanidde okubutwala ng’ekintu ekisinga ebirala byonna obukulu. (Matayo 6:25, 32, 33) Lwaki? Kubanga abantu tebasobola kumalawo bizibu by’abantu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okubimalawo.
Munoonyenga obutuukirivu bwe. Tusaanidde okufuba okugoberera amateeka ga Katonda n’okukolera ku magezi g’atuwa. Lwaki? Kubanga bwe twesalirawo eky’okukola nga tusinziira ku ndowooza yaffe, ebivaamu tebiba birungi. (Engero 16:25) Ku luuyi olulala, bwe tugoberera emitindo gya Katonda, tumusanyusa era naffe tuganyulwa.—Isaaya 48:17, 18.
Weeyongere okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe. Yesu yagamba nti abamu bayinza okulowooza nti bwe baba ne ssente nnyingi bajja kuba n’obulamu obulungi. Abalala bayinza okulemererwa okunoonya Obwakabaka bwa Katonda olw’okweraliikirira eby’obulamu.—Matayo 6:19-21, 25-32.
Kyokka, Yesu yasuubiza nti abo abawagira Obwakabaka bwa Katonda bajja kufuna bye beetaaga kati era bajja kufuna n’emikisa emirala mu biseera eby’omu maaso.—Wadde ng’abagoberezi ba Yesu abaasooka baanoonyanga Obwakabaka bwa Katonda era nga bakola Katonda by’ayagala, nabo baafunanga ebizibu. Naye waliwo ebyabayambanga okugumira ebizibu. Biki ebyabayambanga?
Okugoberera amateeka ga Katonda kyabayamba obutafuna bizibu abantu abatakola Katonda by’ayagala bye baafunanga. Essuubi lye baalina nti Obwakabaka bwa Katonda bwandizze lyabayamba okugumira n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Ate era, Katonda yabawa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ne basobola okugumira ebizibu bye baalina.—2 Abakkolinso 4:7-9.
ONOOSOOKA OKUNOONYA OBWAKABAKA?
Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baawuliriza okulabula kwa Yesu ne babunyisa amawulire amalungi mu bitundu bingi. (Abakkolosaayi 1:23) Waliwo abakola omulimu ogwo leero?
Yee! Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti ekiseera ekisigaddeyo kitono, era bakola kyonna ekisoboka okutuukiriza ebigambo bya Yesu bino: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14.
Onookola ki nga bakubuulidde amawulire amalungi? Tukukubiriza okubeera ng’Abakristaayo abaali mu Beroya eky’omu Masedoniya eky’edda. Omutume Pawulo bwe yababuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, ‘baagakkiriza mangu,’ era “beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebyo bye baawulira byali bituufu,” era baakolera ku ebyo bye baayiga.—Ebikolwa 17:11, 12.
Naawe osobola okukola kye kimu. Bw’onoosooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ojja kuba musanyufu kati era ofune n’obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.