Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Awulira Atya bw’Alaba ng’Obonaabona?

Katonda Awulira Atya bw’Alaba ng’Obonaabona?

Abantu abamu balowooza nti Katonda talaba mbeera gye bayitamu era tafaayo.

BAYIBULI KY’EGAMBA

  • Katonda alaba bye tuyitamu era afaayo

    “Yakuwa n’alaba ng’ebikolwa by’omuntu ebibi biyitiridde mu nsi . . . , era n’anakuwala mu mutima gwe.”​—Olubereberye 6:5, 6.

  • Katonda ajja kuggyawo okubonaabona

    “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo; olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”​—Zabbuli 37:10, 11.

  • Katonda by’atwagaliza

    “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi. Mujja kunkoowoola era mujja kujja munsabe, nange nja kubawuliriza.’”​—Yeremiya 29:11, 12.

    “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8.