Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Katonda Yali Ludda Wa?”

“Katonda Yali Ludda Wa?”

“EKIBUUZO EKITERA OKWEBUUZIBWA KIRI NTI: KATONDA YALI LUDDA WA?”​—Byayogerwa Paapa Benedict XVI, bwe yali mu kitundu ekiyitibwa Auschwitz, mu Poland, awaali enkambi y’abasibe.

WAALI WAGUDDEWO EKIZIBU NE WEEBUUZA NTI, ‘KATONDA ABADDE LUDDA WA?’ OBA WALI OFUNYE EKIZIBU NE WEEBUUZA OBANGA DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Oboolyawo naawe wali owuliddeko nga Sheila, abeera mu Amerika. Wadde nga yakulira mu maka agaalimu eddiini, agamba nti: “Okuva mu buto, nnagendanga okusinza Katonda olw’okuba nkimanyi nti ye yantonda. Kyokka nnawuliranga nga sirina nkolagana ya ku lusegere naye. Nnalowoozanga nti andi wala nnyo. Wadde saalowoozanga nti Katonda tanjagala, nnali mbuusabuusa obanga ddala anfaako.” Lwaki Sheila yali olowooza bw’atyo? Agamba nti: “Mu maka gaffe twafuna ebizibu eby’okumukumu, era Katonda yali ng’atatufaako n’akatono.”

Okufaananako Sheila, naawe oyinza okuba ng’oli mukakafu nti Katonda gyali. Naye oyinza okuba nga weebuuza obanga ddala akufaako. Yobu yali musajja mutuukirivu era ng’akkiririza mu Katonda, kyokka naye lumu yeebuuza obanga Katonda amufaako. (Yobu 2:3; 9:4) Yobu bwe yafuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa, yabuuza Katonda nti: “Lwaki okweka amaaso go n’ontwala ng’omulabe wo?”​—Yobu 13:24.

Bayibuli eyogera ki ku kubonaabona? Katonda y’avunaanyizibwa ku bizibu bye tufuna? Waliwo obukakafu bwonna obulaga nti Katonda afaayo ku bantu bonna, era nti atufaako kinnoomu? Ddala Katonda alaba bye tuyitamu, abitegeera, atulumirirwa, era atuyamba nga tufunye ebizibu?

Mu bitundu ebiddirira, tugenda kulaba engeri ebintu Katonda bye yatonda gye biragamu nti atufaako. (Abaruumi 1:20) Oluvannyuma tujja kulaba obukakafu obuli mu Bayibuli obulaga nti Katonda atufaako. Gy’onookoma ‘okumanya’ ebikwata ku Katonda, gy’ojja okukoma okuba omukakafu nti ‘akufaako.’​—1 Yokaana 2:3; 1 Peetero 5:7.