Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?

Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?

KATONDA teyatonda bantu nga ba kufa. Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baatondebwa nga batuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri era bandibadde bakyali balamu n’okutuusa leero. Ekyo tukimanyira ku ekyo Katonda kye yagamba Adamu ekikwata ku muti ogwali mu lusuku Edeni.

Katonda yagamba Adamu nti: “Olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:17) Kyandibadde tekikola makulu Katonda okuwa Adamu etteeka eryo singa yamutonda nga wa kufa. Adamu yali akimanyi nti bw’atandiridde ku muti ogwo teyandifudde.

KATONDA TEYATONDA BANTU NGA BA KUFA

Adamu ne Kaawa baali tebeetaaga kulya ku muti ogwo okusobola okuba abalamu, kubanga olusuku Edeni lwalimu emiti mingi egyaliko ebibala eby’okulya. (Olubereberye 2:9) Bwe batandiridde ku bibala by’omuti ogwo kyandiraze nti bagondera oyo eyabawa obulamu. Ate era kyandiraze nti bakkiriza nti Katonda ye yalina okubawa obulagirizi.

ENSONGA LWAKI ADAMU NE KAAWA BAAFA

Okusobola okutegeera ensonga lwaki Adamu ne Kaawa baafa, twetaaga okumanya ekintu ekyaliwo ekitukwatako ffenna. Sitaani yakozesa omusota okulimbalimba Kaawa. Bayibuli egamba nti: “Omusota gwali mwegendereza nnyo okusinga ensolo zonna ez’omu nsiko Yakuwa Katonda ze yali akoze. Ne gugamba omukazi nti: ‘Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?’”​—Olubereberye 3:1.

Kaawa yaddamu nti: “Tusobola okulya ku bibala eby’emiti egy’omu lusuku. Naye ku bibala eby’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yagamba nti, ‘Temugulyangako wadde okugukwatako. Bwe munaakikola mujja kufa.’” Omusota ne gumugamba nti: “Okufa temujja kufa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.” N’olwekyo, Sitaani yali ng’alaga nti Yakuwa mulimba era nti alina ebirungi bye yali ammye bazadde baffe abaasooka.​—Olubereberye 3:2-5.

Kaawa yakkiriza ekyo Sitaani kye yamugamba. Yatunuulira omuti ne yeegomba ebibala byagwo n’anogako n’alya. Bayibuli egamba nti: “Oluvannyuma bwe yali n’omwami we n’amuwaako naye n’alya.”​—Olubereberye 3:6.

Katonda yagamba Adamu nti: “Olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.”​—OLUBEREBERYE 2:17

Nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Katonda, Adamu ne Kaawa bwe baamujeemera! Kiki Katonda kye yakolawo? Yagamba Adamu nti: “Olidda mu ttaka, kubanga omwo mwe waggibwa. Kubanga oli nfuufu era mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:17-19) Ekyo kyennyini kye kyaliwo; “emyaka gyonna Adamu gye yawangaala gyali 930, n’afa.” (Olubereberye 5:5) Adamu teyagenda mu ggulu oba awantu awalala wonna. Yakuwa bwe yali tannamutonda okuva mu nfuufu, yali taliiwo. N’olwekyo, bwe yafa yafuuka nfuufu etalina bulamu. Ekyo nga kya nnaku nnyo!

ENSONGA LWAKI TETUTUUKIRIDDE

Olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, baafuuka abantu abatatuukiridde era baali tebakyasobola kubeerawo mirembe gyonna. Naye obujeemu bwabwe tebwakosa bo bokka. Abaana baabwe baasikira ekibi n’okufa nabo ne bafuuka abantu abatatuukiridde. Abaruumi 5:12 wagamba nti: “Okuyitira mu muntu omu [Adamu] ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”

Bayibuli eyogera ku kibi n’okufa nga “looti ebuutikidde amawanga gonna n’ekibikka ekyezingiridde ku mawanga gonna.” (Isaaya 25:7) Okufa kubuutikidde amawanga gonna ng’omukka ogw’obutwa omuntu yenna gw’atayinza kusimattuka. Mu butuufu, ffenna Adamu y’atuviirako okufa. (1 Abakkolinso 15:22) Ekyo kireetawo ekibuuzo kino omutume Pawulo kye yeebuuza: “Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?” Waliwo asobola okutununula?​—Abaruumi 7:24.