Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kisoboka Okuba Omusanyufu mu Kiseera Kino

Kisoboka Okuba Omusanyufu mu Kiseera Kino

EKISEERA kinaatera okutuuka abantu babe mu bulamu omutali bulumi, kulwala, kukaddiwa n’okufa era naawe osobola okuba mu bulamu obwo! Kyokka, leero obulamu bujjudde ebizibu bingi. Kiki ekisobola okukuyamba okuba omusanyufu ne mu kiseera kino? Bayibuli erimu amagezi agasobola okukuyamba. Ka tulabe ebimu ku bitusoomooza mu bulamu, n’engeri Bayibuli gy’esobola okutuyambamu.

OKUBA OMUMATIVU

Bayibuli ky’egamba: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.”​Abebbulaniya 13:5.

Leero waliwo ebintu bingi abantu bye bagamba nti tulina okuba nabyo okusobola okuba abasanyufu. Kyokka, Bayibuli egamba nti tusobola ‘okuba abamativu ne bye tulina.’ Ekyo kisoboka kitya?

Weewale ‘okwagala ennyo ssente.’ Abantu bangi bateeka obulamu bwabwe mu kabi, bafiirwa enkolagana gye balina n’ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe, beenyigira mu mize emibi, era bakola ebintu ebibaweebuula ‘olw’okwagala ssente.’ (1 Timoseewo 6:10) Ekyo nga kya kabi nnyo! Kubanga ku nkomerero, omuntu ayagala ennyo eby’obugagga “tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.”​—Omubuulizi 5:10.

Yagala nnyo abantu okusinga ebintu. Kyo kituufu nti ebintu bisobola okukuyamba. Naye ebintu tebisobola kutulaga kwagala; abantu be basobola okukikola. Bw’oba ‘n’ow’omukwano owa nnamaddala’ asobola okukuyamba okuba omumativu.​—Engero 17:17.

TUSOBOLA OKUBA ABASANYUFU MU KISEERA KINO BWE TUKOLERA KU MAGEZI AGALI MU BAYIBULI

OKUGUMIRA OBULWADDE

Bayibuli ky’egamba: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi.”​Engero 17:22.

Okufaananako ‘eddagala eddungu,’ bwe tuba abasanyufu kisobola okutuyamba okugumira obulwadde. Naye oyinza otya okuba omusanyufu ng’ate oli mulwadde?

Kirage nti osiima. Bwe tussa ennyo ebirowoozo ku bizibu bye tulina, “ennaku zonna” tujja kuziraba ng’embi. (Engero 15:15) Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli etukubiriza okusiima. (Abakkolosaayi 3:15) Yiga okusiima ebirungi by’olina mu bulamu, ka bibe bitono bitya. Ebintu gamba ng’enjuba egwa, akawewo akalungi, akamwenyumwenyu k’omuntu gw’oyagala ennyo, bisobola okukuzzaamu amaanyi.

Baako by’okolera abalala. Ne bwe tuba nga tuli balwadde, tusobola okufuna essanyu eriva mu kugaba. (Ebikolwa 20:35) Abalala bwe basiima bye tuba tubakoledde, kituleetera okuwulira essanyu era ne tutalowooza nnyo ku bizibu bye tulina. Bwe tuyamba abalala okuba n’obulamu obulungi naffe kituyamba okuba n’obulamu obulungi.

OKUBA N’OBUFUMBO OBUNYWEVU

Bayibuli ky’egamba: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​Abafiripi 1:10.

Abafumbo abamala obudde obutono nga bali wamu bateeka obufumbo bwabwe mu kabi. N’olwekyo abafumbo basaanidde okufaayo ennyo ku bufumbo bwabwe, kubanga kye kimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu.

Mukolere wamu. Mufube okukoleranga awamu ebintu. Bayibuli egamba nti: “Ababiri basinga omu.” (Omubuulizi 4:9) Musobola okufumba mmwembi, okukolera awamu dduyiro, oba okusanyukirako awamu.

Kirage nti oyagala nnyo munno. Bayibuli ekubiriza omwami n’omukyala okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. (Abeefeso 5:28, 33) Okumwenyeza munno, okumugwa mu kafuba, oba okumuwaayo akalabo, kisobola okunyweza obufumbo bwammwe. Ate era, buli omu asaanidde okuba omwesigwa eri munne.​—Abebbulaniya 13:4.