Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okufa Tekwewalika

Okufa Tekwewalika

KUBA akafaananyi ng’olaba vidiyo eraga omuntu omututumufu, oboolyawo omuyimbi gw’oyagala ennyo. Etandika ng’eraga bwe yali ng’akyali muto, ng’ayiga eby’okuyimba era nga yeegezaamu enfunda n’enfunda. Oluvannyuma omulaba ng’ayimbira mu bivvulu eby’enjawulo, ng’agenda mu nsi ez’enjawulo n’atuuka n’okumanyibwa mu nsi yonna. Oba okyali awo ng’olaba ebifaananyi bye ng’akaddiye era oluvannyuma n’afa.

Vidiyo eyo eraga omuntu eyaliwo ddala era oluvannyuma n’afa. Ka kibe nti omuntu muyimbi, munnassaayansi, munnabyamizannyo, oba omuntu omulala yenna omututumufu, ekibatuukako kye kimu. Omuntu ayinza okuba ng’alina bingi by’akoze, naye olowooza teyandikoze bingi n’okusingawo singa tewaaliwo kukaddiwa n’okufa?

Eky’ennaku, ffenna ekyo kye kitulindiridde. (Omubuulizi 9:5) Ne bwe tukola ki, tetusobola kwewala kukaddiwa n’okufa. Ng’oggyeeko ekyo, tusobola okufuna akabenje oba okulwala ne tufa. Nga Bayibuli bw’egamba, tulinga olufu “olulabika akaseera akatono oluvannyuma ne lubula.”​—Yakobo 4:14.

Ekyo kireetera abamu okufuna endowooza egamba nti “ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” (1 Abakkolinso 15:32) Abantu abalina endowooza ng’eyo baba bamanyi nti basobola okufa essaawa yonna era nga tebalina ssuubi lya biseera bya mu maaso. Ekiseera kiyinza okutuuka nnaddala ng’ofunye ebizibu ne weebuuza nti, ‘Ddala obulamu bulina kuba bwe buti?’ Eky’okuddamu oyinza ku kiggya wa?

Abantu bangi balowooza nti bannassaayansi be basobola okubayamba okufuna eky’okuddamu. Bannassaayansi n’abasawo balina bye bazudde ebyongeza ku myaka abantu gye bawangaala. Era bannassaayansi abamu bakola nnyo okulaba nti abantu bawangaala n’okusingawo. Ka kibe ki ekinaavaamu, ekyebuuzibwa kiri nti: Lwaki tukaddiwa ne tufa? Waliwo essuubi lyonna nti okufa kuliggwaawo? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu bitundu ebiddako.