Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bannassaayansi bye bakoze bisobozesezza abantu okuwangaala?

Okunoonya Obuwangaazi

Okunoonya Obuwangaazi

“Ndabye ebintu Katonda by’awadde abaana b’abantu okukolanga. Buli kintu yakikola nga kirungi era yakikola mu kiseera kyakyo. Yateeka mu mitima gyabwe ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna.”​Omubuulizi 3:10, 11.

EBIGAMBO ebyo Kabaka Sulemaani bye yayogera edda ennyo biraga endowooza abantu gye balina ku bulamu. Olw’okuba obulamu bumpi era ng’okufa tekwewalika, okuva edda n’edda abantu babaddenga banoonya ebinaabayamba okuwangaala.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Gilgamesh eyali kabaka w’ekibuga Sumeria. Bingi nnyo ebyayogerwa ku bulamu bwe. Ekimu ku byo kye ky’okuba nti yagezaako okunoonya ekyandimuyambye obutafa naye yalemererwa okukifuna.

Munnassaayansi ow’edda ng’ali mu kkeberero lye

Mu kyasa eky’okuna E.E.T., bannassaayansi mu Kyayina baagezaako okukola eddagala lye baali balowooza nti lyandiyambye abantu okuwangaala. Ebintu bye baakolamu eddagala eryo byali bya butwa era kigambibwa nti eddagala eryo lyatta ba empula ba Kyayina bangi. Wakati w’emyaka gya 500 E.E. ne 1500 E.E., bannassaayansi mu Bulaaya baagezaako okukyusa zzaabu asobole okuliibwa kubanga baalowooza nti olw’okuba zzaabu tayonooneka, yandiyambye abantu okuwangaala.

Leero, bannassaayansi bangi bakyagezaako okunoonyereza ekiviirako abantu okukaddiwa. Okunoonyereza kwabwe kulaga nti ne leero abantu bakyalina essuubi nti basobola okuzuula ekiyinza okuggyawo okukaddiwa n’okufa. Naye biki ebivudde mu kunoonyereza kwabwe?

KATONDA “YATEEKA MU MITIMA GYABWE EKIROWOOZO EKY’OKUBEERAWO EMIREMBE GYONNA.”​—OMUBUULIZI 3:10, 11

OKUNOONYEREZA EKIVIIRAKO ABANTU OKUKADDIWA

Bannassaayansi abanoonyereza ku butoffaali bw’omubiri gw’omuntu balina ensonga ezisukka mu 300 ze bagamba nti ze ziviirako abantu okukaddiwa n’okufa. Mu myaka egiyise, basobodde okunoonyereza ku butoffaali bw’abantu n’ensolo mu laabu ne babaako bye bakola ebiyamba obutoffaali obutakaddiwa mangu. Ekyo kireetedde abagagga abamu okuvujjirira bannassaayansi ssente basobole okunoonyereza ku “kiviirako abantu okufa.” Biki ebivuddemu?

Bagezezzaako okwongeza ku myaka abantu gye bawangaala. Bannassaayansi abamu balowooza nti tukaddiwa olw’ekyo ekituuka ku butwe bwa ndagabutonde obuyitibwa telomeres. Obutwe obwo buyamba okukuuma obulagirizi obuli mu ndagabutonde ng’obutoffaali bweyawulamu. Naye buli obutoffaali lwe bweyawulamu, obutwe obwo buyimpawa. Oluvannyuma, obutoffaali bwe bulekera awo okweyawulamu tutandika okukaddiwa.

Mu 2009 Elizabeth Blackburn ne banne baazuula ekiyamba obutwe bwa ndagabutonde obutayimpawa mangu. Wadde kiri kityo, baagamba nti ekyo tekyongeza ku myaka abantu gye bawangaala.

Okuzza obuggya obutoffaali ye ngeri endala gye bagezezzaako okusobola okuyamba abantu obutakaddiwa mangu. Obutoffaali bw’omubiri gw’omuntu bwe bukaddiwa ne buba nga tebukyeyawulamu, buyinza okuleetera obutoffaali obulwanyisa endwadde obutakola bulungi ne kiviirako omuntu okuzimbazimba, okuwulira obulumi, n’okulwala. Gye buvuddeko, bannassaayansi mu Bufalansa baggya obutoffaali mu bantu abakaddiye era ng’abamu ku bo basukka emyaka 100, ne bagezaako okubuzza obuggya. Profesa Jean-Marc Lemaître, eyakulira okunoonyereza okwo yagamba nti bye baakola biraga nti “obutoffaali busobola okuzzibwa obuggya.”

DDALA BANNASASAAYANSI BASOBOLA OKUYAMBA ABANTU OKUWANGAALA?

Bannassaayansi abamu bagamba nti wadde nga waliwo ebikoleddwa okuyamba abantu obutakaddiwa mangu, tebisobola kwongeza ku myaka abantu gye bawangaala. Kyo kituufu nti emyaka abantu gye bawangaala gyeyongeddeko okuva mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda. Naye ekyo kivudde ku kuba nti abantu bafubye okuba abayonjo, okwekuuma endwadde, okugema endwadde, n’okufuna obujjanjabi. Bannassaayansi abamu bagamba nti abantu tebasussizza myaka gye balina kuwangaala.

Emyaka nga 3,500 emabega, omu ku bawandiisi ba Bayibuli ayitibwa Musa yagamba nti: “Tuwangaala emyaka 70, oba 80, omuntu bw’aba omugumu ennyo. Naye giba gijjudde ebizibu n’ennaku; giyita mangu ne tubulawo.” (Zabbuli 90:10) Wadde ng’abantu bafubye nnyo okwongeza ku myaka abantu gye bawangaala, obulamu bukyali nga Musa bwe yabwogerako.

Ku luuyi olulala, ebitonde ebimu ebibeera mu nnyanja gamba nga red sea urchin oba ekika ekimu ekya quahog clam bisobola okuwangaala emyaka egisukka mu 200, era emiti gamba nga giant sequoia gisobola okuwangaala enkumi n’enkumi z’emyaka. Bwe tugeraageranya emyaka abantu gye bawangaala ku egyo ebitonde ebyo gye biwangaala tuyinza okwebuuza nti, ‘Omuntu alina kuwangaala myaka 70 oba 80 gyokka?’