Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi
KIKI EKIYINZA OKUTUYAMBA OKUBA N’EBISEERA EBY’OMU MAASO EBIRUNGI? OLOWOOZA:
Buyigirize obwa waggulu?
Bugagga?
Kweyisa bulungi?
Oba kintu kirala?
Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bigamba nti:
“Amagezi ga muganyulo gy’oli. Bw’ogafuna, ebiseera byo eby’omu maaso bijja kuba birungi.”—ENGERO 24:14.
Mu Byawandiikibwa Ebitukuvu mulimu amagezi amalungi agajja okukuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.