EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI EYOGERA KI KU BULAMU N’OKUFA?
Bayibuli ky’Eyogera ku Bulamu n’Okufa
Katonda yagamba Adamu omuntu eyasooka nti: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala. Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti singa Adamu yagondera ekiragiro ekyo, yandibadde akyaliwo.
Eky’ennaku, Kaawa bwe yawa Adamu ekibala Katonda kye yabagaana, Adamu yasalawo okujeemera Katonda n’alya ekibala ekyo. (Olubereberye 3:1-6) N’okutuusa kati tukyafuna ebizibu ebyava mu bujeemu bwa Adamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) ‘Omuntu omu’ ayogerwako wano ye Adamu. Naye kibi ki kye yakola, era lwaki kituviirako okufa?
Ekibi Adamu kye yakola kwe kujeemera Katonda mu bugenderevu. (1 Yokaana 3:4) Katonda yagamba Adamu nti bwe yandimujeemedde yandifudde. Adamu awamu n’abaana be yandizadde bwe bandigondedde Katonda, tebandifudde. Katonda teyayagala tufe, wabula yayagala tubeerewo emirembe gyonna.
Kyeyoleka kaati nti okufa ‘kwabuna ku bantu bonna’ nga Bayibuli bw’egamba. Naye kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Waliwo ekiwonawo? Abantu bangi balowooza nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gumuvaamu ne gusigala nga mulamu. Bwe kiba kityo, kiba kitegeeza nti Katonda yalimba Adamu. Lwaki tugamba bwe tutyo? Bwe kiba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu, awo okufa tekiba kibonerezo omuntu ky’afuna olw’okukola ekibi, nga Katonda bwe yagamba. Bayibuli egamba nti: “Katonda tayinza kulimba.” (Abebbulaniya 6:18) Mu butuufu, Sitaani ye yalimba bwe yagamba Kaawa nti: “Temujja kufa.”—Olubereberye 3:4.
Ekyo nno kireetawo ekibuuzo ekirala. Bwe kiba nti enjigiriza egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu si ntuufu, kati olwo kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
BAYIBULI ETUYAMBA OKUMANYA EKITUUFU
Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda n’akola omuntu mu nfuufu y’ensi n’afuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu, omuntu n’afuuka omuntu omulamu.” Ebigambo “omuntu omulamu” biva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ne’phesh, * ekitegeeza “ekitonde ekissa omukka.”—Olubereberye 2:7.
Okusinziira ku ebyo bye tulabye, abantu tebalina mwoyo ogutafa, era ne bw’onoonya otya mu Bayibuli, tosobola kusangamu lunyiriri na lumu lulaga nti omuntu alina omwoyo ogutafa.
Bwe kiba nti enjigiriza eyo teri mu Bayibuli, lwaki amadiini mangi gayigiriza nti abantu balina omwoyo ogutafa? Enjigiriza eyo yasibuka mu Misiri ey’edda.
ENJIGIRIZA EYO GYE YAVA
Munnabyafaayo Omuyonaani ayitibwa Herodotus eyaliwo mu kyasa eky’okutaano E.E.T.,
yagamba nti Abamisiri be baasooka okukkiriza nti omuntu bw’afa, omwoyo gwe gusigala mulamu.” Abababulooni nabo baali bakkiriza nti abantu balina omwoyo ogutafa. Alexander the Great we yawambira ensi za Buwalabu mu mwaka gwa 332 E.E.T., abafirosoofo Abayonaani baali batumbudde enjigiriza eyo, era oluvannyuma lw’ekiseera kitono yabuna mu matwale ga Buyonaani gonna.Mu Bayibuli tosobola kusangamu lunyiriri na lumu lulaga nti omuntu alina omwoyo ogutafa
Mu kyasa ekyasooka E.E., Abaasene n’Abafalisaayo baayigirizanga nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gumuvaamu ne gusigala nga mulamu. Ekitabo ekiyitibwa The Jewish Encyclopedia kigamba nti: “Enjigiriza eyo Abayudaaya bagiggya ku Bayonaani, nnaddala ku mufirosoofo ayitibwa Plato.” Munnabyafaayo ayitibwa Josephus naye yagamba nti enjigiriza eyo teyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa Ebitukuvu, wabula ku “nzikiriza z’abaana ba Buyonaani,” ze yatwala ng’enfumo.
Obuwangwa bw’Abayonaani bwe bwagenda bubuna mu nsi, abo abaali beeyita Abakristaayo nabo baatandika okukkiririza mu njigiriza eyo. Munnabyafaayo ayitibwa Jona Lendering yagamba nti, “enjigiriza ya Plato eyali agamba nti emyoyo gyaffe gyaliko mu kifo ekirungi naye kati giri mu nsi eyonoonese, yakifuula kyangu okugattika enjigiriza za Plato n’enjigiriza z’Ekikristaayo.”
“AMAZIMA GAJJA KUBAFUULA BA DDEMBE”
Omutume Pawulo yagamba nti: “Mu biseera eby’omu maaso abamu bajja kuva mu kukkiriza, olw’okuwuliriza ebigambo ebibuzaabuza ebyaluŋŋamizibwa, n’okuyigiriza kwa badayimooni.” (1 Timoseewo 4:1) Ebigambo ebyo byatuukirira. Enjigiriza egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu, y’emu ku ‘njigiriza za badayimooni.’ Enjigiriza eyo teyeesigamiziddwa ku Bayibuli, wabula yasibuka mu ddiini ez’obulimba ez’edda ne mu bufirosoofo.
Yesu yagamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Bwe tusoma Bayibuli ne tutegeera amazima, tusobola okumanya enjigiriza ez’obulimba n’ebintu ebirala ebitasanyusa Katonda ebikolebwa mu madiini. Ate era amazima agali mu Kigambo kya Katonda gatuyamba okwewala obulombolombo obukwata ku bafu.—Laba ebiri wansi w’omutwe, “ Abantu Abaafa Bali Ludda Wa?”
Omutonzi waffe teyayagala tubeere ku nsi emyaka 70 oba 80 gyokka, oluvannyuma tufe tugende mu kifo ekirala tubeere eyo emirembe gyonna. Yali ayagala abantu babeere wano ku nsi emirembe gyonna nga bakola by’ayagala. Ekyo kiraga nti Katonda ayagala nnyo abantu era ekigendererwa kye kijja kutuukirira. (Malaki 3:6) Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
^ lup. 9 Mu Bayibuli y’Oluganda eya 1968, ekigambo ne’phesh kivvuunulwa nga “omukka omulamu.” Ate mu Bayibuli y’Oluganda eya 2003 kivvuunulwa nti, “omuntu yatandika okuba omulamu.”