EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAMALAYIKA—DDALA GYEBALI? LWAKI KIKULU OKUMANYA EBIBAKWATAKO?
Engeri Bamalayika Gye Bayinza Okukuyamba
Bamalayika abalungi bafaayo nnyo ku bantu era banyiikivu mu kukola Katonda by’ayagala. Katonda bwe yatonda ensi, bamalayika baasanyuka nnyo. (Yobu 38:4, 7) Okuva edda n’edda bamalayika babaddenga baagala nnyo ‘okutegeera’ engeri ekigendererwa kya Katonda eri ensi gye kinaatuukirizibwamu.—1 Peetero 1:11, 12.
Bayibuli eraga nti okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, bamalayika oluusi baakuumanga abaweereza be ne batatuukibwako kabi. (Zabbuli 34:7) Ng’ekyokulabirako:
-
Yakuwa bwe yali agenda okuzikiriza Sodomu ne Ggomola, bamalayika baayamba Lutti n’ab’omu maka ge okuva mu kitundu ekyo.—Olubereberye 19:1, 15-26.
-
Abavubuka Abebbulaniya abasatu abaali mu Babulooni bwe baasuulibwa mu muliro, Katonda ‘yatuma malayika we n’abawonya.’—Danyeri 3:19-28.
-
Danyeri bwe yasuulibwa mu kinnya ky’empologoma, Katonda ‘yatuma malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma’ ne zitamulya.—Danyeri 6:16, 22.
BAMALAYIKA BAAYAMBA ABAKRISTAAYO ABAASOOKA
Emirundi mingi bamalayika baayambanga Abakristaayo abaasooka. Ng’ekyokulabirako:
-
Malayika yaggulawo enzigi z’ekkomera abatume abaali basibiddwa ne bavaamu, era n’abagamba okweyongera okubuulira mu yeekaalu.—Ebikolwa 5:17-21.
-
Malayika yagamba Firipo omubuulizi w’enjiri agende abuulire omusajja Omwesiyopiya eyali ava e Yerusaalemi okusinza.—Ebikolwa 8:26-33.
-
Ekiseera bwe kyatuuka abantu abataali Bayudaaya okufuuka Abakristaayo, malayika yalabikira omusirikale Omuruumi ayitibwa Koluneeriyo, n’amugamba ayite omutume Peetero ajje mu maka ge amubuulire ebikwata ku Katonda.—Ebikolwa 10:3-5.
-
Omutume Peetero bwe yali asibiddwa, malayika yamuggya mu kkomera.—Ebikolwa 12:1-11.
ENGERI BAMALAYIKA GYE BAYINZA OKUKUYAMBA
Tewali kiraga nti ne leero Katonda akozesa bamalayika okuyamba abantu mu ngeri ey’eky’amagero nga bwe yakolanga edda. Kyokka Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Obadde okimanyi nti bamalayika be bakulembera abagoberezi ba Yesu nga bakola omulimu gw’okubuulira?
Ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa kiraga nti bamalayika bayamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda n’ebyo by’ajja okukolera abantu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka waggulu mu bbanga, era yalina amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe ag’okulangirira eri abo ababeera ku nsi, eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu, ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: ‘Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango, musinze Oyo eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.’” (Okubikkulirwa 14:6, 7) Waliwo bingi ebibaddewo mu kiseera kino ebiraga nti bamalayika beenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Bwe wabaawo omuntu omu eyeenenya n’adda eri Katonda, “bamalayika ba Katonda basanyuka nnyo.”—Lukka 15:10.
Kiki ekinaabaawo ng’omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gumaliriziddwa? ‘Eggye lya bamalayika ery’omu ggulu’ lijja kwegatta ku Yesu Kristo, Kabaka wa bakabaka, balwane ‘olutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna’ oluyitibwa Amagedoni. (Okubikkulirwa 16:14-16; 19:14-16) Bamalayika bajja kulwanira wamu ne Yesu “ng’awoolera eggwanga ku abo . . . abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.”—2 Abassessalonika 1:7, 8.
Bye tulabye biraga nti bamalayika bafaayo nnyo ku bantu. Baagala nnyo okuyamba abo abaagala okukola Katonda by’ayagala, era Yakuwa abakozesa okuzzaamu abaweereza be amaanyi n’okubakuuma.—Abebbulaniya 1:14.
N’olwekyo, buli omu ku ffe alina okusalawo obanga anaawuliriza amawulire amalungi agabuulirwa mu nsi yonna. Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo beetegefu okukuyigiriza ebisingawo ebikwata ku bamalayika, n’engeri gye bayinza okukuyamba.