EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAMALAYIKA—DDALA GYEBALI? LWAKI KIKULU OKUMANYA EBIBAKWATAKO?
Eriyo Bamalayika Ababi?
Bayibuli eraga nti eriyo bamalayika ababi. Bamalayika abo baava wa? Twalabye nti Katonda yatonda bamalayika nga balina eddembe ery’okwesalirawo. Katonda bwe yamala okutonda Adamu ne Kaawa, abantu abaasooka, waliwo malayika eyakozesa obubi eddembe lye ery’okwesalirawo, n’asalawo okujeemera Katonda. Malayika oyo yasendasenda Adamu ne Kaawa nabo n’abaleetera okujeemera Katonda. (Olubereberye 3:1-7; Okubikkulirwa 12:9) Bayibuli tetubuulira linnya lya malayika oyo n’ekifo kye yalina mu ggulu nga tannajeema. Naye oluvannyuma lw’okujeemera Katonda, malayika oyo yatandika okuyitibwa Sitaani Omulyolyomi. Sitaani kitegeeza “Omuziyiza,” ate Omulyolyomi kitegeeza “Omuwaayiriza.”—Matayo 4:8-11.
Eky’ennaku, obujeemu tebwakoma awo. Mu kiseera kya Nuuwa, waliwo bamalayika “abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu” mu ggulu ne bajja ku nsi ne beefuula ng’abantu ne beegatta n’abakazi. Ekyo si kye kyali ekigendererwa kya Katonda.—Yuda 6; Olubereberye 6:1-4; 1 Peetero 3:19, 20.
Kiki ekyatuuka ku bamalayika abo ababi? Katonda bwe yaleeta amataba okuzikiriza abantu ababi, beggyako emibiri gy’abantu ne baddayo mu ggulu. Kyokka Katonda teyabakkiriza kuddayo mu ‘bifo bye baalimu’ mu kusooka, wabula yabateeka mu “kizikiza” eky’eby’omwoyo Bayibuli ky’eyita Tatalo. (Yuda 6; 2 Peetero 2:4) Bamalayika abo ababi abayitibwa badayimooni bali wansi w’obuyinza bwa Sitaani Omulyolyomi, “omufuzi wa badayimooni,” era ‘eyeefuula nga malayika ow’ekitangaala.’—Matayo 12:24; 2 Abakkolinso 11:14.
Okusinziira ku bunnabbi obuli mu Bayibuli, Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914. * Oluvannyuma Sitaani ne badayimooni baagobebwa mu ggulu ne basuulibwa wano ku nsi. Baleetera abantu okukola eby’obuseegu n’ebintu ebirala ebibi. Ekyo kiraga nti Sitaani ne badayimooni babi nnyo.—Okubikkulirwa 12:9-12.
Kyokka ebikolwa ebyo ebibi ebyeyongedde biraga nti Sitaani ne badayimooni banaatera okuggibwawo. Obwakabaka bwa Katonda bujja kufugira emyaka lukumi. Emyaka egyo bwe giriggwaako, Sitaani ne badayimooni bajja kulimbalimba abantu okumala akaseera katono, era oluvannyuma bajja kuzikirizibwa.—Matayo 25:41; Okubikkulirwa 20:1-3, 7-10.
^ lup. 6 Okumanya ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, laba essuula 8 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Oyinza n’okukafuna ku mukutu www.pr418.com/lg.