EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKWOLESEBWA OKULAGA EBIRI MU GGULU
Okwolesebwa Okulaga Ebiri mu Ggulu
Bayibuli erimu okwolesebwa okutuyamba okutegeera ebiri mu ggulu. Wadde ng’ebimu ebiri mu kwolesebwa okwo tebiri ddala nga bwe binnyonnyolwa, bijja kukuyamba okukuba akafaananyi kikusobozese okutegeera abo ababeera mu ggulu n’engeri gye batukwatako.
YAKUWA Y’ASUKKULUMYE KU BONNA
“Entebe y’obwakabaka yali mu kifo kyayo mu ggulu, era waliwo eyali agituddeko. Eyali agituddeko yali afaanana ng’ejjinja lya yasepi n’ejjinja lya sadiyo, era entebe ye yali yeetooloddwa musoke afaanana ng’ejjinja eriyitibwa zumaliidi.”—Okubikkulirwa 4:2, 3.
“Yali yeetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi ekyali kifaanana nga musoke aba ku kire ku lunaku olw’enkuba. Ekitangaala eky’amaanyi ekyali kimwetoolodde bwe kityo bwe kyali kifaanana. Kyali ng’ekitiibwa kya Yakuwa.”—Ezeekyeri 1:27, 28.
Mu kwolesebwa okwo, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yalaga omutume Yokaana ne nnabbi Ezeekyeri ekitiibwa kye mu ngeri gye tusobola okutegeera. Baalaba amayinja agamasamasa, musoke, era n’entebe y’Obwakabaka ey’ekitiibwa. Okwolesebwa okwo kulaga nti Yakuwa w’ali waakaayakana, walabika bulungi nnyo, era watebenkevu.
Ebyo bikwatagana bulungi n’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Yakuwa mukulu era agwanidde okutenderezebwa. Atiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. Bakatonda bonna ab’amawanga tebalina mugaso, naye Yakuwa ye yakola eggulu. Ekitiibwa n’obulungi biri mu maaso ge; amaanyi n’obulungi biri mu kifo kye ekitukuvu.”—Zabbuli 96:4-6.
Wadde Yakuwa y’asingayo okuba ow’ekitiibwa, atukubiriza okumusaba era atukakasa nti awulira essaala zaffe. (Zabbuli 65:2) Katonda atwagala nnyo, era eyo ye nsonga lwaki omutume Yokaana yagamba nti: “Katonda kwagala.”—1 Yokaana 4:8.
YESU ALI NE KATONDA
‘[Omuyigirizwa Siteefano], ng’ajjudde omwoyo omutukuvu, yatunula mu ggulu n’alaba ekitiibwa kya Katonda n’ekya Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo, n’agamba nti: “Laba! Ndaba eggulu nga libikkuse n’Omwana w’omuntu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.”’—Ebikolwa 7:55, 56.
Yesu yali yattibwa emabegako nga Siteefano tannafuna kwolesebwa okwo, era abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya Siteefano be yali ayogera nabo be baali bamuviiriddeko okuttibwa. Okwolesebwa okwo kwalaga nti Yesu yaliyo nga mulamu era nti Abeefeso 1:20, 21.
yali mu kitiibwa kya maanyi. Omutume Pawulo naye yagamba nti: “[Yakuwa] yazuukiza [Yesu] mu bafu n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby’omu ggulu, waggulu ennyo okusinga buli gavumenti, obuyinza, amaanyi, obwami era na buli linnya eryatuumibwa, si mu nteekateeka y’ebintu eno yokka, naye ne mu eyo egenda okujja.”—Ng’oggyeeko okutubuulira ku kifo eky’ekitiibwa Yesu ky’alimu, Ebyawandiikibwa era biraga nti Yesu ayagala nnyo abantu nga Yakuwa bw’abaagala. Yesu bwe yali ku nsi, yawonya abalwadde n’abaaliko obulemu, era yazuukiza abafu. Ate era Yesu bwe yeewaayo n’atufiirira, kyalaga nti ayagala nnyo Katonda n’abantu. (Abeefeso 2:4, 5) Yesu anaatera okukozesa obuyinza Katonda bwe yamuwa okukolera abantu abawulize bonna ebintu ebirungi.
BAMALAYIKA BAWEEREZA KATONDA
“[Nze Danyeri] nneeyongera okutunula okutuusa entebe ez’obwakabaka lwe zaateekebwawo, era Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda [Yakuwa] n’atuula. . . . Bamalayika lukumi emirundi lukumi baali bamuweereza, era bamalayika mutwalo emirundi mutwalo baali bayimiridde mu maaso ge.”—Danyeri 7:9, 10.
Mu kwolesebwa okwo, nnabbi Danyeri yalaba bamalayika bangi nnyo. Ebyo bye yalaba nga biteekwa okuba nga byamwewuunyisa nnyo! Bamalayika bitonde bya mwoyo; bagezi nnyo, ba maanyi nnyo, era ba kitiibwa. Mu bamalayika abo mulimu abayitibwa basseraafi ne bakerubi. Bayibuli eyogera ku bamalayika emirundi egisukka mu 250.
Bamalayika tebaasooka kuba bantu, wabula Katonda yabatonda dda nnyo nga tannaba kutonda bantu. Bayibuli eraga nti Katonda bwe yatonda ensi bamalayika baaliwo, era baasanyuka nnyo.—Yobu 38:4-7.
Engeri emu bamalayika gye baweerezaamu Katonda, kwe kwenyigira mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ogukolebwa mu nsi leero. (Matayo 24:14) Omutume Yokaana yafuna okwolesebwa okulaga nti bamalayika beenyigira mu mulimu ogwo. Yagamba nti: “Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka waggulu mu bbanga, era yalina amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe ag’okulangirira eri abo ababeera ku nsi, eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Okubikkulirwa 14:6) Wadde nga bamalayika teboogera na bantu leero nga bwe baakolanga edda, bayamba abaweereza ba Katonda ababuulira amawulire amalungi okuzuula abantu ab’emitima emirungi.
SITAANI ABUZAABUZA ABANTU BANGI
“Ne wabaawo olutalo mu ggulu: Mikayiri [Yesu Kristo] ne bamalayika be ne balwana n’ogusota, n’ogusota nagwo ne gubalwanyisa nga guli wamu ne bamalayika baagwo, naye tebaawangula, era tewaalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani, alimbalimba ensi yonna, ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”—Okubikkulirwa 12:7-9.
Waliwo ekiseera eggulu lwe lyali nga teririimu mirembe. Abantu bwe baali baakatandika okubeera ku nsi, waliwo malayika eyayagala okusinzibwa, era ekyo kyamuleetera okujeemera Katonda, bw’atyo n’afuuka Sitaani, ekitegeeza “Omuziyiza.” Oluvannyuma bamalayika abalala nabo baajeemera Katonda. Bamalayika abo ababi bayitibwa badayimooni; bawakanya enteekateeka za Yakuwa era baleetedde abantu bangi okumujeemera.
Sitaani ne badayimooni bakambwe nnyo. Tebaagalira ddala bantu era be baviiriddeko okubonaabona okusinga obungi mu nsi. Ng’ekyokulabirako, Sitaani yatta abaweereza ba Yobu n’ebisolo bye. Oluvannyuma yaleeta “embuyaga ey’amaanyi” n’esuula ennyumba abaana ba Yobu ekkumi mwe baali, bonna ne bafa. Ate era yalwaza Yobu “amayute agaluma ennyo, okuva ku bigere okutuuka ku mutwe.”—Yobu 1:7-19; 2:7.
Naye mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani ajja kuggibwawo. Okuva lwe yasuulibwa ku nsi, “amanyi nti alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Nga kirungi nnyo okukimanya nti Sitaani anaatera okuggibwawo!
ABANTU ABAGENDA MU GGULU.
‘[Yesu] yagulira Katonda abantu okuva mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, n’abafuula obwakabaka era bakabona ba Katonda waffe, era bajja kufuga ensi nga bakabaka.’—Okubikkulirwa 5:9, 10.
Nga Yesu bwe yazuukizibwa n’agenda mu ggulu, waliwo n’abantu abalala abajja okugenda mu ggulu. Yesu yagamba abatume be abeesigwa nti: “Ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Era . . . nja kukomawo mbatwale gye ndi, nammwe mubeere eyo gye ndi.”—Yokaana 14:2, 3.
Abo abagenda mu ggulu balina kye bagenda okukolayo. Bajja kufugira wamu ne Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu, era Obwakabaka obwo bujja kufuga ensi, bukolere abantu ebirungi bingi. Obwo bwe Bwakabaka Yesu bwe yagamba abagoberezi be okusaba nti bujje, mu ssaala egamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—ABO ABALI MU GGULU BYE BANAAKOLERA ABANTU
“[Nze Yokaana] ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti: “Laba! Weema ya Katonda eri wamu n’abantu, . . . Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo’”—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Okwolesebwa okwo kukwata ku kiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bunaggyawo obufuzi bwa Sitaani ensi n’ebeeramu emirembe. Ebintu ebireetera abantu okubonaabona bijja kuba tebikyaliwo. Okufa nakwo kujja kuba tekukyaliwo.
Ate bo abantu abaafa naye nga tebajja kuzuukizibwa kugenda mu ggulu? Abantu abo bajja kuzuukizibwa babeere ku nsi emirembe gyonna.—Lukka 23:43.
Okwolesebwa okwo kwonna kutulaga nti Yakuwa Katonda n’omwana we Yesu Kristo, awamu ne bamalayika era n’abo abanaafugira awamu ne Yesu, batwagala nnyo era batwagaliza birungi byereere. Bw’oba nga wandyagadde okumanya ebisingawo, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa oba genda ku mukutu gwa Intaneeti www.pr418.com/lg owanule akatabo, Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?