ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .
Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ssekukkulu?
Abantu bangi bakkiriza nti Ssekukkulu lwe lunaku Yesu Kristo lwe yazaalibwa. Naye wali weebuuzizzaako obanga Abakristaayo abaasooka, abaabeeranga ennyo ne Yesu, baakuzanga amazaalibwa ge? Omanyi Bayibuli ky’eyogera ku kukuza amazaalibwa? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okumanya obanga Abakristaayo basaanidde okukuza Ssekukkulu.
Okusookera ddala, Bayibuli teraga nti amazaalibwa ga Yesu oba ag’omuweereza wa Katonda omulala yenna ayogerako mu Bayibuli, gaakuzibwanga. Eyogera ku bantu babiri bokka abaakuza amazaalibwa gaabwe. Abantu abo bombi baali tebasinza Yakuwa Katonda ow’amazima, era amazaalibwa gaabwe ge baakuza tegoogerwako bulungi mu Bayibuli. (Olubereberye 40:20; Makko 6:21) Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica, Abakristaayo abaasooka tebaawagiranga “mikolo egy’ekikaafiiri egy’okukuza amazaalibwa.”
Yesu yazaalibwa ku lunaku ki?
Bayibuli tetubuulira lunaku Yesu lwe yazaalibwa. Ekitabo ekiyitibwa Cyclopedia ekyawandiikibwa McClintock ne Strong kigamba nti: “Olunaku Kristo lwe yazaalibwa terulagibwa mu Ndagaano Empya oba awalala wonna.” Awatali kubuusabuusa, singa Yesu yayagala abagoberezi be bakuzenga amazaalibwa ge, olunaku lwe yazaalibwa lwandibadde lumanyiddwa.
Eky’okubiri, Bayibuli teraga nti Yesu, oba wadde omu ku batume be baakuzanga Ssekukkulu. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia, okukuza amazaalibwa ga Yesu kusooka kwogerwako “mu kitabo ekiyitibwa Chronograph ekyawandiikibwa Omuruumi ayitibwa Philocalus mu mwaka gwa 336.” Ekyo kyaliwo nga Bayibuli yamala dda okuwandiikibwa, era nga wayiseewo emyaka egisukka mu 300 kasookedde Yesu abeera ku nsi. Bwe kityo, McClintock ne Strong baagamba nti “okukuza Ssekukkulu tekuva eri Katonda, era tekulagibwa mu Ndagaano Empya.” *
Mukolo ki Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukwatanga?
Yesu yabuulira abagoberezi be byonna bye yali ayagala bakole, era ebintu ebyo byawandiikibwa mu Bayibuli. Kyokka, okukuza amazaalibwa ge si kye kimu ku byo. Ng’omusomesa bw’atayagala baana b’asomesa bakole ebintu by’ataabayigiriza, ne Yesu tayagala bagoberezi be bakole ebintu ebisukka ku ebyo ebyawandiikibwa mu Bayibuli.—1 Abakkolinso 4:6.
Kyokka waliwo omukolo gumu abagoberezi ba Yesu abaasooka gwe baali bamanyi obulungi. Omukolo ogwo gwe gw’okujjukira okufa kwa Yesu. Yesu kennyini yabuulira abagoberezi be olunaku olw’okujjuukirirako okufa kwe, era n’engeri y’okukikolamu. Obulagirizi bwe yabawa, era n’olunaku lwe balina okujjuukirirako okufa kwe, byawandiikibwa mu Bayibuli.—Lukka 22:19; 1 Abakkolinso 11:25.
Tulabye nti Abakristaayo abaasooka tebaakuzanga mazaalibwa ga Yesu. Ate era Bayibuli teraga nti Yesu oba omuntu omulala yenna yakuzanga Ssekukkulu. Olw’ensonga ezo, Abakristaayo bukadde na bukadde okwetooloola ensi, baasalawo obutakuza Ssekukkulu.
^ lup. 6 Okumanya ebisingawo ebikwata ku nsibuko y’obulombolombo obusinga obungi obukolebwa ku Ssekukkulu, soma ekitundu ekirina omutwe, “Abasomi Baffe Babuuza . . . Kituufu Okukuza Ssekukkulu?” ekiri mu katabo Omunaala gw’Omukuumi aka Ddesemba 1, 2014. Osobola okukafuna ku www.pr418.com/lg.