Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KIRABO KI EKISINGA BYONNA?

Okunoonya Ekirabo Ekisinga Obulungi

Okunoonya Ekirabo Ekisinga Obulungi

Si kyangu kumanya kirabo omuntu ky’ayinza okusiima, kubanga kisinziira ku oyo gw’ogenda okukiwa. Ate era ekirabo ekisanyusa omuntu omu, kiyinza obutasanyusa mulala.

Ng’ekyokulabirako, omuvubuka ayinza okuwulira nti essimu eri ku mulembe kye kirabo ekimusingira. Ate ye omuntu omukulu ayinza okwagala ekirabo ekinaagasa ab’omu maka ge bonna. Ate abamu wadde bakulu oba bato, bandyagadde kuweebwa ssente, basobole okuzikozesa kyonna kye baagala.

Bangi bwe baba baagala okuwa omuntu ekirabo bafuba okunoonya ekyo ekinaamusanyusa. Wadde ng’oluusi tekisoboka kumanyira ddala ekinaasanyusa omuntu, okulowooza ku oyo gw’oyagala okuwa ekirabo kiyinza okukuyamba. Kati ka tulabe ebintu bina eby’okulowoozaako.

Gw’ogenda okuwa ekirabo ayagala ki? Omusajja omu abeera mu kibuga Belfast eky’omu Northern Ireland yagamba nti akagaali k’empaka ke yafuna ng’alina emyaka nga 11, kye kirabo ekisinga ebirabo byonna bye yali afunye. Lwaki? Yagamba nti: “Kubanga nnali nkaagala.” Ekyo kiraga nti omuntu okusiima ekirabo oba obutakisiima, kisinziira ku ekyo ky’ayagala. N’olwekyo kiba kirungi okulowooza ku muntu gw’oyagala okuwa ekirabo. Gezaako okumanya ebintu by’atwala nga bikulu, kubanga ebyo by’aba ayagala. Ng’ekyokulabirako, bajjajja batera okwagala okubeerako awamu n’abantu baabwe. Emirundi mingi bayinza okwagala okulaba ku baana baabwe ne bazzukulu baabwe. Kibasanyusa nnyo okubeerako awamu n’abantu baabwe, gamba nga mu luwummula, okusinga okubawa ekintu ekirala kyonna.

Ekiyinza okukuyamba okutegeera omuntu by’ayagala kwe kumuwuliriza obulungi n’omanya by’atera okwogerako. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera.” (Yakobo 1:19) Bw’oba ng’onyumya ne mikwano gyo oba n’ab’eŋŋanda zo, wuliriza bulungi osobole okumanya bye baagala ne bye bataagala. Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okubawa ebirabo ebinaabasanyusa.

Ebyetaago by’oyo gw’oyagala okuwa ekirabo. Omuntu ayinza n’okusiima ekintu ekitali kya bbeeyi kasita kiba nga kye yeetaaga. Naye oyinza otya okumanya ekintu omuntu omulala kye yeetaaga?

Engeri eyinza okulabika ng’ennyangu ey’okumanya kye yeetaaga, kwe kumubuuza. Kyokka abasinga obungi ekyo tebaagala kukikola, olw’okuba baba baagala bawe omuntu ekirabo ng’abadde takisuubira. Ate era, wadde ng’abantu abamu tekibakaluubirira kwogera ku bye baagala ne bye bataagala, emirundi mingi tebatera kwogera ku byetaago byabwe.

N’olw’ekyo, faayo nnyo okumanya embeera omuntu gy’alimu. Akyali muto, mukadde, mufumbo, si mufumbo, yayawukana n’omwami we oba mukyala we, yafiirwa mukyala we oba mwami we, akola, oba takola? Lowooza ku bintu omuntu ali mu mbeera ng’ezo by’ayinza okuba nga yeetaaga.

Bw’oba oyagala okutegeerera ddala ebyetaago by’oyo gw’oyagala okuwa ekirabo, buuza abo abaayitako mu mbeera ng’eyiye. Bayinza okukubuulira ebyetaago eby’enjawulo. Bw’onoobitegeera, ojja kusobola okuwa omuntu ekirabo kyennyini kye yeetaaga.

Ekiseera. Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!” (Engero 15:23) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti ekiseera kye twogereramu kikulu nnyo. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku bintu bye tukolera abalala. Omuntu bw’afuna ekirabo mu kiseera ekituufu mw’abadde akyetaagira, kisobola okumuleetera essanyu lingi.

Ebimu ku biseera abantu mwe batera okuweera abalala ebirabo bye bino: Mukwano g’omuntu ng’agenda kuwasa oba kufumbirwa, omuvubuka ng’amalirizza emisomo gye, n’abafumbo nga banaatera okufuna omwana. Abamu bawandiika olukalala lw’ebintu ebikulu ebijja okubaawo mu mwaka ogujja. Ekyo kibasobozesa okweteekateeka obulungi ne basobola okuwa bannaabwe ebirabo bye beetaaga. *

Kyokka ekyo tekitegeeza nti ebirabo tusaanidde kubigaba ku nnaku nkulu zokka. Essanyu eriva mu kugaba osobola okulifuna ku lunaku olulala lwonna. Naye tusaanidde okuba abeegendereza. Ng’ekyokulabirako, singa omusajja awa omukazi ekirabo nga tewali nsonga nnambulukufu emuleetedde okukimuwa, omukazi oyo ayinza okulowooza nti akimuwadde lwa kuba amwegwanyiza. Bwe kiba nti omusajja oyo si ky’ategeeza, ekirabo ekyo kiyinza okuvaamu ebizibu. Kino kireetawo obwetaavu bw’okulowooza ku nsonga endala enkulu.

Ekigendererwa ky’oyo agaba ekirabo. Nga bwe tulabye mu kyokulabirako ekyo waggulu, kiba kirungi okulowooza ku ngeri oyo gw’ogenda okuwa ekirabo gy’anaakitwalamu. Mu ngeri y’emu, oyo agenda okugaba ekirabo asaanidde okulowooza ku kigendererwa ky’alina. Wadde ng’abantu abasinga obungi bayinza okulowooza nti tebalina bigendererwa bibi nga bagaba ebirabo, bangi babigaba mu biseera ebimu mu mwaka olw’okuba abalala nabo bwe bakola. Ate abalala bagaba ebirabo olw’okwagala okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo ku balala, oba nga basuubira nti nabo bajja kubaako bye bafuna.

Kati olwo oyinza otya okukakasa nti ogaba ekirabo ng’olina ekigendererwa ekirungi? Bayibuli egamba nti: “Buli kimu kye mukola mukikolenga mu kwagala.” (1 Abakkolinso 16:14) Bw’owa omuntu ekirabo olw’okuba omwagala, ajja kuwulira essanyu era naawe ojja kufuna essanyu eriva mu kugaba. Bw’ogaba n’omutima gwo gwonna, osanyusa Katonda. Omutume Pawulo yasiima Abakristaayo ab’omu Kkolinso eky’edda olw’okuwaayo kyeyagalire okuyamba bannaabwe abaali mu bwetaavu. Yabagamba nti: “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 Abakkolinso 9:7.

Bwe tulowooza ku nsonga ze twogeddeko mu kitundu kino, kijja kutuyamba okuwa abalala ebirabo ebisobola okubaleetera essanyu. Ezo ze zimu ku nsonga ne Katonda z’ayinza okuba nga yalowoozaako ng’akola enteekateeka ey’okutuwa ekirabo ekisinga ebirabo byonna. Mu kitundu ekiddako, tugenda kwogera ku kirabo ekyo.

^ lup. 13 Abantu bangi era bawa bannaabwe ebirabo ku nnaku z’amazaalibwa ne ku nnaku enkulu. Kyokka ebintu bingi ebikolebwa ku nnaku ezo, bikontana n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Laba ekitundu ekirina omutwe “Abasomi Baffe Babuuza​—Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ssekukkulu?” ekiri ku lupapula 15 olw’akatabo kano.