OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Noovemba 2017

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ddesemba 25, 2017 okutuuka nga Jjanwali 28, 2018.

Yimba n’Essanyu!

Bwe kiba nti kikuzibuwalira okuyimba mu nkuŋŋaana, kiki ekiyinza okukuyamba okweggyamu okutya n’oyimbira Yakuwa n’essanyu?

Oddukira eri Yakuwa?

Enteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu eyaliwo mu Isirayiri etuyamba okukiraba nti Yakuwa asonyiwa.

Ba Mwenkanya era Musaasizi nga Yakuwa

Ebibuga eby’okuddukiramu biraga bitya nti Yakuwa musaasizi? Bituyamba bitya okumanya endowooza gy’alina ku bulamu? Bituyamba bitya okukiraba nti mwenkanya?

“Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”

Tusobola okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu ebirala okuwagira omulimu gw’okubuulira.

Weewale Endowooza z’Ensi

Ffenna tulina okufuba ennyo okulaba nti tetwonoonebwa ndowooza za nsi. Laba ezimu ku ndowooza z’ensi z’osaanidde okwewala.

Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Mpeera

Oluvannyuma lw’okujjukiza Bakristaayo banne ku ssuubi ery’ekitalo lye baalina, omutume Pawulo yabalabula ku nsonga emu.

Oyinza Otya Okumanyiira Ekibiina Ekipya?

Bw’oba waakagenda mu kibiina ekirala, oyinza okweraliikirira. Kiki ekiyinza okukuyamba okumanyiira ekibiina ekyo?