Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ba Mwenkanya era Musaasizi nga Yakuwa

Ba Mwenkanya era Musaasizi nga Yakuwa

“Musale emisango mu bwenkanya, . . . buli omu alage munne okwagala okutajjulukuka era amusaasire.”​—ZEK. 7:9.

ENNYIMBA: 125, 88

1, 2. (a) Yesu yali atwala atya Amateeka ga Katonda? (b) Abawandiisi n’Abafalisaayo baakozesa batya obubi Amateeka?

YESU yali ayagala nnyo Amateeka ga Musa. Ekyo tekyewuunyisa nnaddala bw’olowooza ku ky’okuba nti Amateeka ago gaava eri Kitaawe, Yakuwa, ate nga Yesu ayagala nnyo Kitaawe. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 40:8 bwalaga nti Yesu yandibadde ayagala nnyo amateeka ga Katonda. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala, era amateeka go gali munda mu nze.” Mu bye yayogera ne bye yakola, Yesu yakyoleka nti Amateeka ga Katonda gatuukiridde, ga muganyulo, era manywevu.​—Mat. 5:17-19.

2 Yesu ateekwa okuba nga yanyolwa nnyo okulaba ng’abawandiisi n’Abafalisaayo bakozesa bubi Amateeka ga Kitaawe! Baakwatanga butiribiri obumu ku buntu obutono obwali mu Mateeka ago. Yesu yabagamba nti: “Muwaayo ekimu eky’ekkumi ekya nnabbugira, ekya aneta, n’ekya kkumino.” Naye obuzibu bwali buva wa? Yesu yagattako nti: ‘Naye temutuukiriza bintu ebisinga obukulu mu Mateeka: obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa.’ (Mat. 23:23) Obutafaananako Bafalisaayo, abaali bassa essira ku buntu obutono obwali mu Mateeka, Yesu yategeera emisingi egiri mu Mateeka n’engeri gye goolekamu engeri za Katonda.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Abakristaayo tetuli wansi w’Amateeka ga Musa. (Bar. 7:6) Naye Yakuwa yakakasa nti amateeka ago gateekebwa mu Bayibuli tusobole okugayigirako. Yakuwa tayagala twemalire ku buntu obutono obuli mu Mateeka, wabula ayagala tutegeere era tusse mu nkola ‘ebintu ebisinga obukulu’ ebiri mu Mateeka, nga gino gye misingi egigalimu. Ng’ekyokulabirako, misingi ki egiri mu nteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu? Ekitundu ekyayita kyalaga bye tuyigira ku ebyo omuntu eyaddukiranga mu kibuga bye yakolanga. Naye era ebibuga eby’okuddukiramu birina kye bituyigiriza ku Yakuwa n’engeri gye tuyinza okwoleka engeri ze. N’olwekyo, ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo bino ebisatu: Ebibuga eby’okuddukiramu byoleka bitya obusaasizi bwa Yakuwa? Byoleka bitya endowooza Yakuwa gy’alina ku bulamu? Byoleka bitya obwenkanya bwe? Nga twekenneenya eby’okuddamu mu buli kimu ku bibuuzo ebyo, fumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okukoppamu Kitaawo ow’omu ggulu.​—Soma Abeefeso 5:1.

EBIFO EBIBUGA WE BYALI BYOLEKA OBUSAASIZI BWA YAKUWA

4, 5. (a) Kiki ekyakolebwa okusobozesa abantu okwanguyirwa okutuuka mu bibuga eby’okuddukiramu, era lwaki? (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa?

4 Ebibuga omukaaga eby’okuddukiramu byali byangu okutuukamu. Yakuwa yalagira Abayisirayiri okugabanyaamu ebibuga ebyo kyenkanyi ku njuyi zombi ez’Omugga Yoludaani. Lwaki? Ekyo kyandisobozesezza omuntu ayagala okuddukirayo okwanguyirwa okutuukayo. (Kubal. 35:11-14) Enguudo ezaali zigenda mu bibuga ebyo zaakuumibwanga nga ziri mu mbeera nnungi. (Ma. 19:3) Okusinziira ku bitabo ebyogera ku byafaayo by’Abayudaaya, ku nguudo kwabangako obupande obuyamba abantu okumanya engeri y’okutuuka mu bibuga ebyo. Olw’okuba waaliwo ebibuga eby’okuddukiramu, kyayamba omuntu eyabanga asse omuntu mu butanwa obutaddukira mu nsi ndala, oboolyawo gye yandyenyigidde mu kusinza okw’obulimba.

5 Kirowoozeeko: Yakuwa yalagira nti omutemu alina okuttibwa. Kyokka era yakakasa nti omuntu eyabanga asse omulala mu butanwa alagibwa obusaasizi n’atattibwa! Omuyivu omu yagamba nti: “Byonna ebyali bikwata ku nteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu byali birambulukufu era nga byangu okutegeera. Enteekateeka eyo yakyoleka bulungi nti Katonda musaasizi.” Yakuwa si mulamuzi atalina kwagala era eyeesunga okubonereza abantu be. Wabula ‘alina okusaasira kungi.’​—Bef. 2:4.

6. Kiki ekiraga nti Abafalisaayo tebaakoppa Yakuwa mu kwoleka obusaasizi?

6 Kyokka bo Abafalisaayo tebaalina busaasizi. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekimu kigamba nti, Abafalisaayo tebaabanga beetegefu kusonyiwa muntu ng’akoze ensobi y’emu emirundi egisukka mu esatu. Yesu yalaga endowooza enkyamu gye baalina ng’agera olugero olukwata ku Mufalisaayo eyasaba ng’agamba nti: “Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri ng’abantu abalala—abanyazi, abatali batuukirivu, abenzi​—oba ng’ono omusolooza w’omusolo.” Omusolooza w’omusolo naye yali ali awo ng’asaba Katonda amusaasire. Lwaki Abafalisaayo tebaali beetegefu kusaasira balala? Bayibuli egamba nti baali “banyooma abalala.”​—Luk. 18:9-14.

Okifuula kyangu eri abalala okukutuukirira okubasonyiwa? Beera muntu atuukirikika (Laba akatundu 4-8)

7, 8. (a) Oyinza otya okukoppa Yakuwa nga waliwo omuntu akunyiizizza? (b) Okusobola okusonyiwa abalala lwaki twetaaga okuba abeetoowaze?

7 Koppa Yakuwa, so si Bafalisaayo. Beera musaasizi. (Soma Abakkolosaayi 3:13.) Engeri emu gy’oyinza okwolekamu obusaasizi kwe kukifuula ekyangu eri abalala okukutuukirira obasonyiwe. (Luk. 17:3, 4) Weebuuze: ‘Nyanguwa okusonyiwa abalala ne bwe baba nga bankoze ebikyamu enfunda n’enfunda? Nyanguwa okuzzaawo emirembe wakati wange n’omuntu aba annyiizizza oba aba akoze ekintu ekinnumya?’

8 Okusobola okusonyiwa abalala tulina okuba abeetoowaze. Abafalisaayo tebaali beetegefu kusonyiwa balala kubanga baali banyooma abalala. Naye ffe Abakristaayo tusaanidde ‘okukitwala nti abalala batusinga’ era nti bagwana okusonyiyibwa. (Baf. 2:3) Onookoppa Yakuwa n’oba mwetoowaze? Bwe tuba abeetoowaze, kijja kwanguyira abalala okututuukirira tubasonyiwe era kijja kutubeerera kyangu okubasonyiwa. Ba mwetegefu okusaasira abalala era toyanguyirizanga kusunguwala.​—Mub. 7:8, 9.

SSA EKITIIBWA MU BULAMU​—“TOLIBAAKO MUSANGO GWA KUYIWA MUSAAYI”

9. Yakuwa yalaga atya Abayisirayiri nti obulamu bw’omuntu abutwala nga butukuvu?

9 Ensonga enkulu eyateekesaawo ebibuga eby’okuddukiramu kwe kukuuma Abayisirayiri obutabaako musango gwa kuyiwa musaayi. (Ma. 19:10) Yakuwa ayagala obulamu era akyayira ddala “emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango.” (Nge. 6:16, 17) Olw’okuba Katonda mwenkanya era mutukuvu, yali tasobola kubuusa maaso na musaayi ogwabanga guyiiriddwa mu butanwa. Kyo kituufu nti oyo eyattanga omuntu mu butanwa yalagibwanga ekisa. Wadde kyali kityo, yalina okusooka okutuukirira abakadde n’abategeeza ensonga ye, era bwe baakizuulanga nti ddala omuntu yali amusse mu butanwa yalinanga okusigala mu kibuga eky’okuddukiramu okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa. Ekyo kitegeeza nti oluusi kyabanga kyetaagisa omuntu oyo okubeera mu kibuga ekyo ebbanga lyonna ery’obulamu bwe eryali lisigaddeyo. Ekyo kyayamba Abayisirayiri okukiraba nti obulamu bw’omuntu Yakuwa abutwala nga butukuvu. Okusobola okulaga nti bassa ekitiibwa mu Yakuwa, Ensibuko y’Obulamu, Abayisirayiri baalina okwewala okukola ekintu kyonna ekyandiviiriddeko omuntu okufa.

10. Abawandiisi n’Abafalisaayo baalaga batya nti baali tebassa kitiibwa mu bulamu?

10 Obutafaananako Yakuwa, abawandiisi n’Abafalisaayo baali tebassa kitiibwa mu bulamu. Mu ngeri ki? Yesu yabagamba nti: “Mwaggyawo ekisumuluzo ky’okumanya. Mmwe mmwennyini temwayingira era muziyiza n’abo abayingira!” (Luk. 11:52) Abawandiisi n’Abafalisaayo baali balina okuyamba abantu okutegeera Ekigambo kya Katonda basobole okutambulira mu kkubo ery’obulamu obutaggwaawo. Mu kifo ky’ekyo, baawabya abantu okubaggya ku Yesu, “Omubaka Omukulu ow’obulamu,” ne babatwala mu kkubo ery’okuzikirira. (Bik. 3:15) Abawandiisi n’Abafalisaayo baali ba malala, nga beefaako bokka, era nga tebafaayo ku bulamu bwa bantu bannaabwe. Nga tebaali ba kisa n’akamu!

11. (a) Omutume Pawulo yakiraga atya nti yalina endowooza ng’eya Katonda ku bulamu? (b) Kiki ekiyinza okukuyamba okubuulira n’obunyiikivu nga Pawulo?

11 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa ne twewala okuba ng’abawandiisi n’Abafalisaayo? Tusaanidde okussa ekitiibwa mu bulamu. Omutume Pawulo yalaga nti yali assa ekitiibwa mu bulamu ng’abuulira n’obunyiikivu. Bwe kityo, yali asobola okugamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna.” (Soma Ebikolwa 20:26, 27.) Pawulo teyabuulira lwa kutya kuvunaanibwa musaayi oba lwa kwagala bwagazi kutuukiriza mulimu ogwamuweebwa. Mu kifo ky’ekyo, yali ayagala nnyo abantu era ng’obulamu bwabwe abutwala nga bwa muwendo. (1 Kol. 9:19-23) Naffe tusaanidde okufuba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa ku bulamu. Yakuwa ayagala abantu “bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Naawe ekyo ky’oyagala? Bw’okulaakulanya obusaasizi kijja kukuleetera okubuulira n’obunyiikivu era ojja kufuna essanyu lingi.

12. Lwaki abantu ba Katonda bafuba okwewala ekintu kyonna ekiyinza okussa obulamu bwabwe mu kabi?

12 Tukiraga nti tulina endowooza ya Yakuwa ku bulamu nga twewala ebintu ebissa obulamu bwaffe mu kabi. Tulina okuba abeegendereza nga tuzimba, nga tuliko kye tuddaabiriza, oba nga tuvuga ebidduka byaffe okugenda mu nkuŋŋaana. Obulamu bw’abantu bwa muwendo okusinga ssente oba okusinga okutaasa obudde. Katonda waffe mwenkanya era bulijjo by’akola bituufu era bigwanidde. Tusaanidde okumukoppa. Okusingira ddala abakadde basaanidde okufaayo ku bulamu bwabwe n’obw’abo be baba bakola nabo. (Nge. 22:3) Omukadde bw’akulabula ku kintu ekiyinza okukuviirako akabenje, muwulirize. (Bag. 6:1) Obulamu butunuulire nga Yakuwa bw’abutunuulira era “tolibaako musango gwa kuyiwa musaayi.”

MULAMULE ‘NGA MUGOBERERA EBIRAGIRO EBYO’

13, 14. Abakadde b’omu Isirayiri bandisobodde batya okwoleka obwenkanya nga Yakuwa?

13 Yakuwa yalagira abakadde b’omu Isirayiri okuba abenkanya nga balamula. Okusookera ddala abakadde baalina okumanya byonna ebyali bizingirwamu. Baalina okufuba okumanya ebigendererwa by’omuntu eyabanga asse munne, endowooza ye, n’enneeyisa ye ey’emabega nga tebannasalawo obanga agwanidde okulagibwa ekisa. Okusobola okwoleka obwenkanya bwa Katonda, baalina okusooka okumanya obanga omuntu oyo yali asse munne “olw’okuba yamulinako empalana” oba nga ‘yakigenderera okumutuusaako akabi.’ (Soma Okubala 35:20-24.) Obujulizi obukwata ku muntu eyabanga asse bwe bwabanga bwetaagibwa, bwalina okuweebwanga omuntu asukka mu omu ng’omussi tannasingisibwa musango.​—Kubal. 35:30.

14 Oluvannyuma lw’okumanya byonna ebizingirwamu, abakadde baalina okulowooza ku muntu, so si ku ekyo kyokka kye yabanga akoze. Baali balina okutunuulira ensonga n’obwegendereza, ne batakoma kungulu. Ate era okusingira ddala baali beetaaga omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, gubayambe okwoleka okutegeera, obusaasizi, n’obwenkanya.​—Kuv. 34:6, 7.

15. Engeri Yesu gye yali atunuuliramu aboonoonyi yali eyawukana etya ku ngeri Abafalisaayo gye baali babatunuuliramu.

15 Abafalisaayo essira baalissanga ku ekyo omwonoonyi kye yabanga akoze so si ku ekyo kye yali ku mutima. Abafalisaayo bwe baalaba Yesu ng’ali ku kijjulo mu maka ga Matayo, baabuuza abayigirizwa be nti: “Lwaki omuyigiriza wammwe alya n’abasolooza omusolo era n’aboonoonyi?” Yesu yabaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga. Kale nno, mugende mutegeere amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi so si ssaddaaka.’ Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Mat. 9:9-13) Yesu yali abuusa amaaso ebibi eby’amaanyi? Nedda. Ekimu ku bintu Yesu bye yakubiriza abantu okukola kwe kwenenya ebibi byabwe. (Mat. 4:17) Wadde kyali kityo, Yesu yakiraba nti abamu ku ‘basolooza b’omusolo n’aboonoonyi’ baali baagala okukyusa amakubo gaabwe. Baali tebazze mu maka ga Matayo kulya bulyi. Bayibuli egamba nti “bangi ku bo baali bafuuse bagoberezi [ba Yesu].” (Mak. 2:15) Naye Abafalisaayo abasinga obungi tebaalaba ekyo Yesu kye yalaba mu bantu abo. Obutafaananako Katonda omwenkanya era omusaasizi gwe baali bagamba nti basinza, Abafalisaayo baali batwala bantu bannaabwe ng’aboonoonyi, era nga babatwala ng’abatasobola kukyuka.

16. Kiki abakadde ababa ku kakiiko akalamuzi kye balina okufuba okumanya?

16 Ne leero abakadde basaanidde okukoppa Yakuwa kubanga Yakuwa “ayagala obwenkanya.” (Zab. 37:28) Okusookera ddala balina ‘okunoonyereza n’okubuuliriza n’obwegendereza’ okukakasa obanga ekibi kyakolebwa. Bwe bakizuula nti kyakolebwa, ensonga basaanidde okuzikwata nga bagoberera obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. (Ma. 13:12-14) Bwe balondebwa okuba ku kakiiko akalamuzi, balina okufuba okumanya obanga Omukristaayo eyakola ekibi eky’amaanyi yeenenyezza mu bwesimbu. Oluusi tekiba kyangu kumanya obanga ddala omuntu yeenenyezza oba teyeenenyezza. Okwenenya kuzingiramu engeri omwonoonyi gy’atunuuliramu ekibi kye yakola n’embeera y’omutima gwe. (Kub. 3:3) Omwonoonyi okusobola okulagibwa obusaasizi alina okuba nga yeenenyezza. *

17, 18. Kiki ekisobola okuyamba abakadde okumanya obanga omuntu yeenenyezza mu bwesimbu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)

17 Obutafaananako Yakuwa ne Yesu abakadde tebasobola kusoma mitima. Bw’oba omukadde, osobola otya okumanya obanga omuntu yeenenyezza mu bwesimbu? Ekisooka, saba Yakuwa akuwe amagezi n’okutegeera. (1 Bassek. 3:9) Eky’okubiri, noonyereza mu Kigambo kya Katonda ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa kikuyambe okumanya enjawulo wakati ‘w’okunakuwala okw’ensi n’okunakuwala mu ngeri Katonda gy’ayagala,’ nga kuno kwe kwenenya mu bwesimbu. (2 Kol. 7:10, 11) Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bantu abeenenya n’abo abateenenya. Eyogera ki ku nneewulira zaabwe, endowooza yaabwe, n’enneeyisa yaabwe?

18 Eky’okusatu, lowooza ku muntu, so si ku ekyo kyokka kye yakola. Lowooza ku mbeera mwe yakulira, ebigendererwa bye, n’obunafu bwe. Ng’eyogera ku Yesu, omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Bayibuli egamba nti: “Talisala musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba, so talinenya ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira. Aliramula abanaku mu bwenkanya, era alinenya abantu abalala mu bugolokofu ku lw’abawombeefu ab’omu nsi.” (Is. 11:3, 4) Mmwe abakadde mukolera wansi w’obulagirizi bwa Yesu era ajja kubayamba okulamula mu bwenkanya nga ye. (Mat. 18:18-20) Nga kitusanyusa nnyo okuba n’abakadde ng’abo abafuba okukoppa Yesu, ne booleka ekisa n’obwenkanya!

19. Biki by’oyigidde ku bibuga eby’okuddukiramu by’oyagala okussa mu nkola?

19 Amateeka ga Musa galimu “ebintu ebikulu ebikwata ku kumanya n’amazima.” Gatuyigiriza ebikwata ku Yakuwa ne ku misingi gye egy’obutuukirivu. (Bar. 2:20) Ng’ekyokulabirako, ebikwata ku bibuga eby’okuddukiramu biyamba abakadde okumanya engeri gye bayinza okulamula “mu bwenkanya,” era ffenna bituyigiriza engeri ‘y’okulagamu bannaffe okwagala okutajjulukuka n’obusaasizi.’ (Zek. 7:9) Tetukyali wansi w’Amateeka ga Musa. Naye Yakuwa takyuka era obusaasizi n’obwenkanya akyabitwala nga bikulu. Nga tulina enkizo ya maanyi okusinza Katonda eyatutonda mu kifaananyi kye nga tusobola okukoppa engeri ze, era nga tusobola okuddukira gy’ali!

^ lup. 16 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Ssebutemba 15, 2006, lup. 30.