Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”

“Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”

OKUVA edda n’edda, abaweereza ba Katonda babaddenga bawaayo ssaddaaka eri Katonda. Abayisirayiri baawangayo ssaddaaka z’ensolo, ate bo Abakristaayo babaddenga bawaayo “ssaddaaka ey’okutendereza.” Naye era waliwo ssaddaaka endala ezisanyusa Katonda. (Beb. 13:15, 16) Abawaayo ssaddaaka ezo bafuna essanyu n’emikisa, ng’ebyokulabirako bino wammanga bwe biraga.

Omuweereza wa Yakuwa omwesigwa ow’edda ayitibwa Kaana yali ayagala omwana ow’obulenzi naye yali tazaala. Yasaba Yakuwa n’amugamba nti singa amusobozesa okuzaala omwana ow’obulenzi ‘yandimuwaddeyo eri Yakuwa obulamu bwe bwonna.’ (1 Sam. 1:10, 11) Oluvannyuma lw’ekiseera Kaana yafuna olubuto n’azaala omwana n’amutuuma Samwiri. Samwiri bwe yava ku mabeere, Kaana yamutwala ku weema entukuvu nga bwe yali yeeyamye. Yakuwa yawa Kaana emikisa olw’okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Kaana yazaalayo abaana abalala bataano era Samwiri yafuuka nnabbi era omu ku bawandiisi ba Bayibuli.​—1 Sam. 2:21.

Okufaananako Kaana ne Samwiri, ne leero Abakristaayo balina enkizo ey’okukozesa obulamu bwabwe okuweereza Omutonzi waabwe. Yesu yagamba nti bwe tubaako bye twefiiriza okusobola okuweereza Katonda, tujja kufuna emikisa mingi.​—Mak. 10:28-30.

Omukyala Omukristaayo ayitibwa Doluka eyaliwo mu kyasa ekyasooka yali amanyiddwa nnyo olw’okukola ‘ebikolwa ebirungi n’olw’okuyamba abaavu.’ Yeefiirizanga okusobola okuyamba abalala. Kyokka ekiseera kyatuuka ‘n’alwala n’afa,’ era ekyo kyanakuwaza nnyo ekibiina. Abayigirizwa bwe baakimanyaako nti Peetero yali mu kitundu ekyo, baamusaba ajje mu bwangu. Nga baasanyuka nnyo Peetero bwe yagendayo n’azuukiza Doluka era nga kino kye kyamagero eky’okuzuukiza omuntu ekisooka okwogerwako nga kikolebwa mutume! (Bik. 9:36-41) Katonda teyeerabira ssaddaaka Doluka ze yawaayo. (Beb. 6:10) Ebikwata ku Doluka byawandiikibwa mu Bayibuli tusobole okumukoppa.

Omutume Pawulo naye yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Yawaayo ebiseera bye okusobola okuyamba abalala. Pawulo yawandiikira Bakristaayo banne ab’omu Kkolinso n’abagamba nti: “Nja kusanyuka okuwaayo buli kintu era nange kennyini nkozesebwe mu bujjuvu olw’obulamu bwammwe.” (2 Kol. 12:15) Pawulo yakiraba nti okwewaayo okuyamba abalala kireetera omuntu essanyu era n’okusinga byonna kimuviirako okusiimibwa Katonda n’okufuna emikisa.​—Bik. 20:24, 35.

Yakuwa kimusanyusa nnyo bwe tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okukola omulimu gw’Obwakabaka n’okuyamba bakkiriza bannaffe. Naye waliwo engeri endala gye tusobola okuwagiramu omulimu gw’okubuulira? Yee! Ng’oggyeeko okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe mu mulimu ogwo, tusobola n’okuwaayo ssente n’ebintu ebirala okuguwagira. Ssente ezo n’ebintu ebyo bikozesebwa okutwala mu maaso omulimu gw’okubuulira, nga muno mwe muli okuyamba abaminsani n’abalala abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Ate era ssente ezo ziyamba mu mulimu gw’okukuba n’okuvvuunula ebitabo byaffe ne vidiyo, okudduukirira abo ababa bagwiiriddwaako obutyabaga, n’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Tusaanidde okukijjukira nti ‘omuntu omugabi aweebwa emikisa.’ Ate era, bwe tuwa Yakuwa ku bintu byaffe, kiba kiraga nti tumuwa ekitiibwa.​—Nge. 3:9; 22:9.