Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weewale Endowooza z’Ensi

Weewale Endowooza z’Ensi

“Mwegendereze waleme kubaawo abafuula abaddu ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu . . . eby’omu nsi.”​—BAK. 2:8.

ENNYIMBA: 38, 31

1. Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa Bakristaayo banne? (Laba ekifaananyi waggulu.)

EBBALUWA omutume Pawulo gye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi yagiwandiika ng’ali mu kkomera e Rooma wakati w’omwaka gwa 60-61 E.E. Yababuulira ensonga lwaki kikulu ‘okutegeera obulungi ebintu eby’omwoyo.’ (Bak. 1:9) Pawulo era yabagamba nti: “Kino nkibabuulira waleme kubaawo muntu yenna abalimba ng’akozesa ebigambo ebisendasenda. Mwegendereze waleme kubaawo abafuula abaddu ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.” (Bak. 2:4, 8) Pawulo era yabannyonnyola ensonga lwaki endowooza ezimu ezaali zikyase ennyo zaali nkyamu era n’ensonga lwaki endowooza z’ensi zisobola okusikiriza abantu abatatuukiridde. Ng’ekyokulabirako, endowooza ezo zireetera omuntu okuwulira nti mugezi nnyo n’okwetwala nti wa waggulu ku balala. Pawulo yawandiika ebbaluwa eyo okuyamba ab’oluganda okwewala endowooza z’ensi n’ebikolwa ebikyamu.​—Bak. 2:16, 17, 23.

2. Lwaki tugenda kulaba ezimu ku ndowooza z’ensi?

2 Endowooza z’ensi zireetera abantu okubuusa amaaso oba okunyoomoola obulagirizi obuva eri Yakuwa, era mpolampola endowooza ezo zireetera okukkiriza kw’omuntu okunafuwa. Ne leero endowooza z’ensi zibunye buli wamu. Zitumbulwa ku mirimu gye tukolera, ku masomero, ne ku mikutu gy’empuliziganya gamba nga ttivi ne Intaneeti. Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tuyinza okukola okusobola okwewala okutwalirizibwa endowooza z’ensi. Tugenda kulaba endowooza z’ensi za mirundi ettaano era n’engeri gye tuyinza okuzeewalamu.

TWETAAGA OKUKKIRIRIZA MU KATONDA?

3. Ndowooza ki bangi gye balina era lwaki?

3 “Nsobola okuba omuntu omulungi ne bwe mba nga sikkiririza mu Katonda.” Mu nsi nnyingi, kya bulijjo okusanga abantu abagamba nti tebakkiririza mu Katonda; era bagamba nti tebalina ddiini. Bayinza okuba nga tebafangayo kunoonyereza obanga ddala Katonda gy’ali naye nga baagala endowooza eyo ey’obutakkiririza mu Katonda kubanga bawulira nti ebawa eddembe okukola kyonna kye baagala. (Soma Zabbuli 10:4.) Abamu balowooza nti baba bagezi nnyo bwe bagamba nti, basobola okubeera n’empisa ennungi ne bwe baba nga tebakkiririza mu Katonda.

4. Tuyinza tutya okuyamba omuntu agamba nti teri Katonda?

4 Endowooza y’abantu abagamba nti teri Katonda ntuufu? Abantu abamu bwe bagezaako okwesigama ku ssaayansi okunoonyereza obanga Katonda gy’ali beeyongera kutabulwatabulwa. Naye kyangu okumanya ekituufu ku nsonga eyo. Bwe kiba nti enju erina okubaako eyagizimba, kati ate ebintu ebiramu! Mu butuufu, n’akatoffaali akasingayo okuba akatono kaakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa okusinga ekizimbe kyonna, kubanga ko kasobola okuzaala. Obutoffaali bulina obusobozi obw’okutereka n’okukoppa obubaka, ne kibusobozesa okuzaala obutoffaali obulala obubufaanana. Ani yakola obutoffaali obwo? Bayibuli egamba nti: “Buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda.”​—Beb. 3:4.

5. Ddala omuntu asobola okumanya ekituufu eky’okukola nga takkiririza mu Katonda?

5 Tuyinza tutya okuyamba omuntu alowooza nti asobola okumanya ekituufu eky’okukola ne bw’aba nga takkiririza mu Katonda? Kyo kituufu nti Ekigambo kya Katonda kigamba nti abantu abatamanyi Katonda basobola okukola ebintu ebimu ebirungi. (Bar. 2:14, 15) Ng’ekyokulabirako, basobola okwagala bazadde baabwe n’okubassaamu ekitiibwa. Naye omuntu atakkiririza mu Katonda aba tatambulira ku mitindo gye era akola ensobi ez’amaanyi. (Is. 33:22) Abantu bangi leero abategeevu bakirabye nti embeera embi eri mu nsi eraga nti abantu beetaaga obulagirizi bwa Katonda. (Soma Yeremiya 10:23.) N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti abantu basobola okumanyira ddala ekituufu eky’okukola nga tebakkiririza mu Katonda era nga tebakolera ku bulagirizi bwe.​—Zab. 146:3.

TWETAAGA OKUBA N’EDDIINI?

6. Ndowooza ki ekwata ku ddiini bangi gye balina?

6 “Osobola okuba omusanyufu ne bw’oba nga tolina ddiini.” Abantu bangi baagala nnyo endowooza eyo ey’ensi kubanga balaba nti eddiini tezigasa. Amadiini mangi galeetedde abantu okukyawa Katonda nga gayigiriza nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira, nga gabasoloozaamu ssente, era nga geenyigira mu by’obufuzi. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abantu abasinga obungi bawulira nti basobola okuba abasanyufu nga tebalina ddiini gye balimu! Abantu ng’abo basobola okugamba nti, “Ebikwata ku Katonda mbyagala naye saagala kubeera mu ddiini yonna.”

7. Okusinza okw’amazima kuyamba kutya abantu okufuna essanyu?

7 Naye omuntu asobola okuba omusanyufu nga talina ddiini? Kyo kituufu nti omuntu aba musanyufu nga tali mu ddiini ya bulimba, naye tasobola kufuna ssanyu lya nnamaddala singa taba na nkolagana nnungi na Yakuwa ayogerwako nga “Katonda omusanyufu.” (1 Tim. 1:11) Buli kimu Katonda ky’akola kiganyula abalala. Abaweereza be basanyufu kubanga bafuba okuyamba abalala. (Bik. 20:35) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri okusinza okw’amazima gye kuyambamu amaka okuba amasanyufu. Mu kusinza okw’amazima tukubirizibwa okussa ekitiibwa mu bannaffe mu bufumbo, okussa ekitiibwa mu birayiro bye twakola nga tuyingira obufumbo, okwewala obwenzi, okukuza abaana abassa ekitiibwa mu balala, n’okuba n’okwagala okwa nnamaddala. Okusinza okw’amazima kuyamba abakulimu okuba obumu n’okuba n’oluganda olw’ensi yonna.​—Soma Isaaya 65:13, 14.

8. Tuyinza tutya okukozesa Matayo 5:3 okuyamba abantu okutegeera ekireetera abantu essanyu erya nnamaddala?

8 Omuntu asobola okuba omusanyufu nga taweereza Katonda? Lowooza ku kibuuzo kino, Kiki ddala ekireetera omuntu okuba omusanyufu? Abantu abamu essanyu balinoonyeza mu mirimu gye bakola, mu bya mizannyo, oba mu bintu ebirala ebibanyumira. Abalala balinoonyeza mu kuwasa na kuzaala baana oba mu kufuna emikwano. Ebintu ebyo byonna biyinza okuleetera omuntu essanyu, naye tebireeta ssanyu lya nnamaddala. Obutafaananako nsolo, ffe tusobola okumanya ebikwata ku Mutonzi waffe era ne tumuweereza n’obwesigwa. Twatondebwa nga tetusobola kufuna ssanyu lya nnamaddala okuggyako nga tuweereza Katonda n’obwesigwa. (Soma Matayo 5:3.) Ng’ekyokulabirako, abaweereza ba Katonda ab’amazima bafuna essanyu lingi bwe bakuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa. (Zab. 133:1) Era basanyufu olw’okuba bali bumu mu nsi yonna, balina empisa ennungi, era ebiseera byabwe eby’omu maaso bitangaavu.

TWETAAGA OKUBA N’EMITINDO GY’EMPISA KWE TULINA OKUTAMBULIRA?

9. (a) Ndowooza ki abantu bangi leero gye balina ku kwegatta? (b) Lwaki Ekigambo kya Katonda kigamba nti kikyamu okwegatta n’omuntu atali munno mu bufumbo? 

9 “Tewali kikyamu kiri mu kwegatta na muntu atali munno mu bufumbo.” Abantu basobola okutugamba nti: “Tulina okunyumirwa obulamu. Si kikyamu okwegatta n’omuntu atali munno mu bufumbo.” Naye Ekigambo kya Katonda kivumirira ebikolwa byonna eby’obugwenyufu. * (Soma 1 Abassessalonika 4:3-8.) Yakuwa y’agwanidde okututeerawo amateeka kubanga ye yatutonda. Okusinziira ku mateeka ga Katonda, omusajja n’omukazi abafumbiriganiddwa be bokka abakkirizibwa okwegatta. Katonda atuwa amateeka kubanga atwagala. Amateeka ago gatuganyula. Ab’omu maka bwe bagakolerako baba baagalana, bawaŋŋana ekitiibwa, era baba n’emirembe. Katonda ajja kubonereza abantu bonna abamenya amateeka ge mu bugenderevu.​—Beb. 13:4.

10. Omukristaayo ayinza atya okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?

10 Ekigambo kya Katonda kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okwewalamu ebikolwa eby’obugwenyufu. Ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba kwe kwegendereza ebyo bye tulaba. Yesu yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule.” (Mat. 5:28, 29) N’olwekyo, Omukristaayo alina okwewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu oba okuwuliriza ennyimba ezirimu ebintu eby’obugwenyufu. Omutume Pawulo yawandiikira Bakristaayo banne n’abagamba nti: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu.” (Bak. 3:5) Ate era tulina okwegendereza ebyo bye tulowoozaako ne bye twogerako.​—Bef. 5:3-5.

KIKYAMU OKULUUBIRIRA OMULIMU OGW’EBBEEYI?

11. Kiki ekiyinza okutuleetera okuluubirira emirimu egy’ebbeeyi?

11 “Omuntu bw’aba n’omulimu ogw’ebbeeyi kye kimuleetera essanyu.” Abantu basobola okutukubiriza okuluubirira okufuna omulimu ogw’ebbeeyi. Bayinza okutugamba nti okuba n’omulimu ng’ogwo kijja kutusobozesa okuba abatutumufu, okuba n’obuyinza ku balala, n’okuba abagagga. Olw’okuba abantu bangi balowooza nti okuba n’omulimu ogw’ebbeeyi kye kireetera omuntu okuba n’essanyu, kyangu Omukristaayo okutwalirizibwa endowooza ng’eyo.

12. Okubeera n’omulimu ogw’ebbeeyi kye kireeta essanyu erya nnamaddala?

12 Ddala kituufu nti omuntu okuba n’omulimu ogumusobozesa okuba n’obuyinza ku balala oba okuba ow’ekitiibwa kimuleetera essanyu erya nnamaddala? Nedda. Lowooza ku kino: Sitaani yayagala nnyo okuba n’obuyinza ku balala era yayagala nnyo ebitiibwa. Wadde nga bye yali ayagala yabifuna, si musanyufu, wabula munyiivu. (Mat. 4:8, 9; Kub. 12:12) Emirimu gye tukola gireeta essanyu lya kaseera buseera, naye okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Katonda ne baba nga balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo kireeta essanyu ery’olubeerera. Ate era omwoyo gw’ensi guleetera abantu okuvuganya ennyo, okwagala okuba waggulu ku balala, okuba n’obuggya, era mu nkomerero baba ‘bagoba mpewo.’​—Mub. 4:4.

13. (a) Twanditutte tutya emirimu gye tukola okweyimirizaawo? (b) Kiki ekyaleetera Pawulo essanyu erya nnamaddala?

13 Kyo kituufu nti tulina okukola emirimu okusobola okweyimirizaawo, era si kikyamu okukola emirimu gye twagala. Naye emirimu egyo si gye tusaanidde okukulembeza mu bulamu. Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala, oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” (Mat. 6:24) Bwe twemalira ku kuweereza Yakuwa n’okuyigiriza abalala Bayibuli, tufuna essanyu eritagambika. Omutume Pawulo yafuna essanyu mu kuweereza Yakuwa n’okubuulira abalala. Bwe yali akyali muto, Pawulo yali aluubirira okufuna omulimu ogw’ebbeeyi mu nteekateeka y’Ekiyudaaya, naye bwe yatandika okukola omulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa era n’alaba engeri Ekigambo kya Katonda gye kyaleeteranga abantu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, yafuna essanyu erya nnamaddala. (Soma 1 Abassessalonika 2:13, 19, 20.) Tewali mulimu guleeta ssanyu kusinga kuweereza Yakuwa n’okubuulira abalala ebimukwatako.

Essanyu erya nnamaddala liva mu kuyamba abantu okumanya ebikwata ku Katonda (Laba akatundu 12, 13)

ABANTU BASOBOLA OKWEGONJOOLERA EBIZIBU BYABWE?

14. Lwaki abantu baagala nnyo endowooza egamba nti abantu basobola okwegonjoolera ebizibu byabwe?

14 “Abantu basobola okwegonjoolera ebizibu byabwe.” Endowooza eyo esikiriza abantu bangi. Lwaki? Kubanga singa ntuufu kyandibadde kitegeeza nti abantu tebeetaaga Katonda kubawa bulagirizi era nti basobola okukola kyonna kye baagala. Oyinza okuba nga wali owuliddeko abantu nga bagamba nti ennaku zino, ebintu gamba ng’entalo, obumenyi bw’amateeka, endwadde, n’obwavu bikendedde. Lipoota emu yagamba nti: “Ensonga lwaki embeera z’abantu zeeyongedde okulongooka eri nti abantu basazeewo okufuula ensi ekifo ekirungi.” Ddala kituufu nti abantu boolekedde okugonjoola ebizibu ebibatawaanyizza okumala ebbanga ddene? Ka twekenneenye ensonga eyo.

15. Bukakafu ki obulaga nti embeera y’abantu yeeyongedde kwonooneka?

15 Entalo: Ssematalo I ne II yafiiramu abantu abasukka mu bukadde 60. Okuva Ssematalo II lwe yaggwa, abantu beeyongedde okulwana entalo endala nnyingi. Omwaka gwa 2015 we gwatuukira, abantu ng’obukadde 65 be baali badduse mu maka gaabwe olw’entalo oba olw’okuyigganyizibwa. Ate mu 2015 mwokka, abantu ng’obukadde kumi na bubiri mu emitwalo ana be badduka mu maka gaabwe olw’ensonga y’emu. Obumenyi bw’amateeka: Wadde ng’ebikolwa ebimu eby’obumenyi bw’amateeka bikendedde mu bitundu ebimu, ebikolwa ebirala gamba ng’obutabanguko mu maka, ebikolwa eby’obutujju, n’obumenyi bw’amateeka obukolebwa ku Intaneeti byeyongedde nnyo. Ate era obulyi bw’enguzi nabwo bweyongedde. Abantu tebasobola kumalawo bumenyi bw’amateeka. Endwadde: Endwadde ezimu abantu bagezezzaako okuzirwanyisa. Naye lipoota eyafulumizibwa mu 2013 yalaga nti buli mwaka abantu obukadde nga mwenda abali wansi w’emyaka 60 bafa obulwadde bw’omutima, obw’okusannyalala, kookolo, sukaali, n’obulwadde bw’amawuggwe. Obwavu: Okusinziira ku lipoota ya bbanka y’ensi yonna, mu Afirika mwokka, omuwendo gw’abantu abaavu ennyo gwalinnya okuva ku bantu obukadde 280 mu 1990 okutuuka ku bantu obukadde 330 mu 2012.

16. (a) Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okugonjoola ebizibu by’abantu? (b) Mikisa ki Obwakabaka gye bugenda okuleeta egyogerwako mu kitabo kya Isaaya n’ekya Zabbuli?

16 Leero bannabyabusuubuzi ne bannabyabufuzi beerowoozaako bokka. Kyeyoleka lwatu nti abantu abo tebasobola kumalawo ntalo, bumenyi bw’amateeka, ndwadde, n’obwavu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okumalawo ebintu ebyo. Lowooza ku bintu Yakuwa by’agenda okukolera abantu. Entalo: Obwakabaka bwa Katonda bugenda kuggyawo ebintu ebireetawo entalo gamba ng’abantu okwefaako bokka, obulyi bw’enguzi, mwoyo gwa ggwanga, eddiini ez’obulimba, ne Sitaani. (Zab. 46:8, 9) Obumenyi bw’amateeka: Obwakabaka bwa Katonda bwatandika dda okuyigiriza abantu okwagalana n’okwesigaŋŋana, ekintu gavumenti z’abantu kye ziremeddwa okukola. (Is. 11:9) Endwadde: Yakuwa ajja kuwonya abantu be endwadde. (Is. 35:5, 6) Obwavu: Yakuwa ajja kumalawo obwavu era buli omu ajja kuba bulungi. Ate era abantu bonna bajja kuba n’enkolagana ennungi naye.​—Zab. 72:12, 13.

‘MANYA ENGERI GY’OSAANIDDE OKUDDAMU BULI MUNTU’

17. Tuyinza tutya okuziyiza endowooza z’ensi?

17 Bw’obaako endowooza y’ensi gy’owulira n’otandika okwebuuza ebibuuzo, noonyereza osobole okumanya Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo era ogyogereko n’omuntu akuze mu by’omwoyo. Lowooza ku nsonga lwaki endowooza y’ensi eyo eyinza okusikiriza omuntu, lwaki nkyamu, n’engeri gy’oyinza okugiziyizaamu. Ffenna tusobola okwewala okutwalirizibwa endowooza y’ensi singa tukolera ku kubuulirira kuno: “Mweyisenga mu ngeri ey’amagezi nga mukolagana n’ab’ebweru . . . musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.”​—Bak. 4:5, 6.

^ lup. 9 Abantu bangi tebakimanyi nti ebigambo ebiri mu Yokaana 7:53–8:11 mu nzivuunula za Bayibuli ezimu tebyali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka. Nga basinziira ku bigambo ebyo, abamu bagamba nti omuntu atayonoonangako ye yekka asobola okuvunaana omuntu omulala nti mwenzi. Naye mu mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri mwalimu erigamba nti: “Omusajja bw’anaasangibwanga nga yeebase n’omukazi ow’omusajja omulala, bombi banattibwanga.”​—Ma. 22:22.