Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yimba n’Essanyu!

Yimba n’Essanyu!

“Kirungi okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda waffe.”​—ZAB. 147:1.

ENNYIMBA: 10, 2

1. Okuyimba kutusobozesa kukola ki?

OMUWANDIISI w’ennyimba omu omwatiikirivu yagamba nti: “Ebigambo ebiba mu luyimba bikuleetera okulowooza. Ebivuga bikuleetera okufuna enneewulira. Ebigambo n’ebivuga bwe bigattibwa awamu bikuleetera okufuna enneewulira y’ekyo ky’olowooza.” Okuyitira mu nnyimba tutendereza Yakuwa era tukyoleka nti tumwagala. N’olwekyo tekyewuunyisa nti okuyimba kitundu kikulu nnyo eky’okusinza okw’amazima, ka kibe nti tuyimba ffekka oba nga tuyimbira wamu n’abalala mu kibiina.

2, 3. (a) Abamu batwala batya eky’okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka mu nkuŋŋaana zaffe? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Naye eky’okuyimbira awamu n’abalala mu kibiina mu ddoboozi ery’omwanguka okitwala otya? Owulira nga kikukwasa ensonyi? Mu mawanga agamu, abasajja kibazibuwalira okuyimba mu lujjudde. Kyokka singa abo abatwala obukulembeze mu kibiina tebeenyigira mu kuyimba oba singa babaako ebintu ebirala bye beenyigiramu ng’okuyimba kugenda mu maaso, kisobola okukosa ekibiina.​—Zab. 30:12.

3 Bwe kiba nti okuyimba tukutwala nti kitundu kikulu eky’okusinza kwaffe, tujja kufuba okulaba nti tetusubwa kwenyigira mu kuyimba ennyimba zonna eziyimbibwa mu nkuŋŋaana zaffe era tetujja kufuluma wabweru ng’oluyimba lugenda mu maaso. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ntwala ntya ennyimba eziyimbibwa mu nkuŋŋaana zaffe? Nnyinza ntya okuvvuunuka ekintu kyonna ekiyinza okunnemesa okuyimba n’essanyu mu nkuŋŋaana? Era biki bye nnyinza okukola okwoleka obulungi enneewulira eziba mu nnyimba ze tuyimba?’

OKUYIMBA​—KITUNDU KIKULU EKY’OKUSINZA OKW’AMAZIMA

4, 5. Okuyimba kwalina kifo ki mu kusinza okw’amazima mu Isirayiri ey’edda?

4 Okuva edda n’edda abaweereza ba Yakuwa abeesigwa babaddenga bayimba ennyimba ezimutendereza. Tekyewuunyisa nti mu kiseera Abayisirayiri ab’edda we baabeereranga abeesigwa, okuyimba kwabanga kitundu kikulu eky’okusinza kwabwe. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi bwe yali ateekateeka obuweereza obw’oku yeekaalu, yalonda Abaleevi 4,000 okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa. Mu bo mwalimu 288 abaali ‘batendekeddwa okuyimbira Yakuwa, era bonna baali bakugu.’​—1 Byom. 23:5; 25:7.

5 Ate era yeekaalu bwe yali eweebwayo, waaliwo okuyimba ennyimba n’okukuba ebivuga. Bayibuli egamba nti: “Abafuuyi b’amakondeere n’abayimbi bwe baakwataganya wamu amaloboozi gaabwe nga batendereza era nga beebaza Yakuwa, era bwe baayimusa amaloboozi g’amakondeere, ag’ebitaasa, n’ag’ebivuga ebirala nga batendereza Yakuwa, . . . ekitiibwa kya Yakuwa kyajjula ennyumba ya Katonda ow’amazima.” Ng’abaaliwo bateekwa okuba nga bazzibwamu nnyo amaanyi!​—2 Byom. 5:13, 14; 7:6.

6. Yogera ku kuyimba okwaliwo mu kiseera Nekkemiya bwe yali ng’aweereza nga gavana mu Yerusaalemi.

6 Nekkemiya bwe yakulemberamu Bayisirayiri banne okuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi, naye yalonda Abaleevi okuyimba ennyimba nga bakubirako ebivuga. Bbugwe oyo bwe yali aweebwayo, ennyimba ezaayimbibwa zaaleetera bonna abaaliwo essanyu lingi. Ku olwo waaliwo “ebibinja ebinene bibiri eby’abayimbi.” Ebibinja ebyo byatambula nga bikwata enjuyi bbiri ez’enjawulo, oluvannyuma ne bisisinkana ku bbugwe okumpi ne yeekaalu, era eddoboozi lyabyo lyawulirwa wala nnyo. (Nek. 12:27, 28, 31, 38, 40, 43) Kya lwatu nti Yakuwa yasanyuka nnyo okuwulira abaweereza be nga bayimba n’essanyu ennyimba ezimutendereza.

7. Yesu yakiraga atya nti Abakristaayo basaanidde okutwala okuyimba ng’ekintu ekikulu mu kusinza kwabwe?

7 Ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikibwawo, ennyimba zeeyongera okuba ekitundu ekikulu mu kusinza okw’amazima. Oluvannyuma lw’okutandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya mukama waffe, Yesu n’abatume be baayimba ennyimba.​—Soma Matayo 26:30.

8. Abakristaayo abaasooka bassaawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kuyimba ennyimba ezitendereza Katonda?

8 Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bassaawo ekyokulabirako ekirungi eky’okuyimbira awamu ennyimba ezitendereza Katonda. Wadde ng’emirundi mingi baakuŋŋaaniranga mu mayumba ga bakkiriza bannaabwe, ekyo tekyabalemesanga kuyimba nnyimba zitendereza Yakuwa. Ng’aluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Muyigirizaganenga era muzziŋŋanemu amaanyi nga mukozesa zabbuli, ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo eziyimbibwa n’essanyu, nga muyimbira Yakuwa mu mitima gyammwe.” (Bak. 3:16) Ennyimba eziri mu katabo kaffe ak’ennyimba ‘nnyimba za bya mwoyo ezirina okuyimbibwa n’essanyu.’ Ze zimu ku mmere ey’eby’omwoyo etuweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”​—Mat. 24:45.

OKUVVUUNUKA EKIZIBU KY’OKUTYA OKUYIMBA

9. (a) Kiki ekiyinza okulemesa abamu okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka mu nkuŋŋaana zaffe? (b) Tusaanidde kuyimba tutya ennyimba ezitendereza Yakuwa, era baani abasaanidde okuba abasaale mu kuyimba? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

9 Watya singa okuyimba si kintu kya bulijjo mu maka gammwe, mu buwangwa bwammwe, oba mu kitundu mw’oli? Oyinza okuba ng’onyumirwa okuwuliriza ennyimba z’abayimbi abakugu. Era oyinza okuba nga bw’ogeraageranya eddoboozi lyo ku ly’abayimbi abo kikumalamu amaanyi okuyimba. Kyokka ekyo tosaanidde kukikkiriza kukulemesa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwo obw’okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, akatabo ko ak’ennyimba kakwatire waggulu, oyimuse omutwe, oyimbe okuviira ddala ku mutima. (Ezer. 3:11; soma Zabbuli 147:1.) Mu Bizimbe by’Obwakabaka bingi leero, ennyimba bwe ziba ziyimbibwa, ebigambo biragibwa ku lutimbe, era ekyo kitusobozesa okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka. Ate era kati abakadde bwe baba mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka bayimba. Ekyo kibayamba okukiraba nti balina okuteerawo abalala mu kibiina ekyokulabirako bwe kituuka ku kuyimba.

10. Kiki kye tusaanidde okujjukira singa okutya kutulemesa okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka?

10 Ekimu ku bintu ebiremesa abamu okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka kwe kutya. Bayinza okuba nga batya nti eddoboozi lyabwe lijja kuyitamu nnyo oba nti eddoboozi lyabwe si ddungi. Naye tusaanidde okukijjukira nti bwe twogera, “emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yak. 3:2) Kyokka ekyo tetukikkiriza kutulemesa kwogera. Kati olwo lwaki twandikkirizza amaloboozi gaffe agatatuukiridde okutulemesa okuyimbira Yakuwa ennyimba ezimutendereza?

11, 12. Ebimu ku bintu ebisobola okutuyamba okuyimba obulungi bye biruwa?

11 Oboolyawo tutya okuyimba olw’okuba tetwekakasa ngeri ya kuyimbamu. Naye tusobola okulongoosa engeri gye tuyimbamu singa tugoberera amagezi agatuweebwa. *

12 Osobola okuyiga okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka, singa osika omukka ogumala. Ng’amasannyalaze bwe gasobozesa bbalubu okwaka, omukka gusobozesa eddoboozi okuvaayo obulungi ng’oyogera oba ng’oyimba. Osaanidde okuyimba mu ddoboozi ly’okozesa ng’oyogera oba erisinganawo. (Laba amagezi mu kitabo, Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, lup. 181 okutuuka ku 184, wansi w’omutwe “Engeri Eddoboozi Gye Likolebwamu.”) Mu butuufu, Ebyawandiikibwa biragira abaweereza ba Yakuwa kuyimbira ‘waggulu n’essanyu.’​—Zab. 33:1-3.

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okuyimba n’obuvumu?

13 Bwe muba mu kusinza kw’amaka oba ng’oli wekka, gezaako bino: Londayo oluyimba lw’osinga okwagala mu katabo kaffe ak’ennyimba. Soma ebigambo byalwo mu ddoboozi ery’omwanguka era eriggumivu. Oluvannyuma, sika omukka oyogere ebigambo ebiri mu emu ku sentensi eziri mu luyimba olwo nga tosizza mukka. Oluvannyuma yimba ebigambo bya sentensi eyo, ng’okozesa eddoboozi lye limu. (Is. 24:14) Bw’okola bw’otyo, eddoboozi ly’oyimbisa lijja kuvaayo bulungi. Empulikika y’eddoboozi lyo tesaanidde kukumalamu maanyi.

14. (a) Okwasamya akamwa ko kiyinza kitya okukuyamba okuyimba obulungi? (Laba akasanduuko “ Okulongoosa mu Ngeri gy’Oyimbamu.”) (b) Kiki ekikuyamba okuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka?

14 Tosobola kufulumya bulungi ddoboozi okuggyako ng’oyasamizza bulungi akamwa ko. N’olwekyo bw’oba oyimba, yasamya akamwa okusingako ku lw’okaasamya ng’oyogera. Kiki ky’oyinza okukola singa eddoboozi lyo liba linafu oba nga ttono? Osobola okulaba amagezi agasobola okukuyamba mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gw’Obwakabaka, lup. 184, mu kasanduuko “Okuvvuunuka Ebizibu Ebimu.”

YIMBA OKUVIIRA DDALA KU MUTIMA

15. (a) Kiki ekyafulumizibwa ku lukuŋŋaana olubaawo buli mwaka olwa 2016? (b) Ezimu ku nsonga lwaki baafulumya akatabo k’ennyimba akapya ze ziruwa?

15 Ku lukuŋŋaana olubaawo buli mwaka olwaliwo mu 2016, twasanyuka nnyo Ow’oluganda Stephen Lett ali ku Kakiiko Akafuzi bwe yafulumya akatabo k’ennyimba akapya akayitibwa “Muyimbire Yakuwa n’Essanyu.” Ow’oluganda Lett yannyonnyola nti emu ku nsonga lwaki baafulumya akatabo k’ennyimba akapya eri nti kyali kyetaagisa ennyimba okuba nga zikwatagana n’ebigambo ebiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya eyafulumizibwa mu 2013. Ate era ennyimba ezikwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira n’eziraga nti tusiima ekinunulo zaayongerwamu. Era olw’okuba ennyimba kitundu kikulu eky’okusinza kwaffe, Akakiiko Akafuzi kaali kaagala okufulumya akatabo ak’omutindo ogwa waggulu, ng’eddiba lyako lifaanagana n’ery’Enkyusa y’Ensi Empya.

16, 17. Nkyukakyuka ki ezaakolebwa mu katabo k’ennyimba akapya?

16 Akatabo k’ennyimba ako kangu okukozesa kubanga ennyimba zaasengekebwa okusinziira ku biti bye zigwamu. Ng’ekyokulabirako, ennyimba 12 ezisooka zikwata ku Yakuwa, ate 8 eziddako zikwata ku Yesu n’ekinunulo, ate endala zikwata ku nsonga ndala. Ate era olukalala lw’ennyimba olusangibwa emabega mu katabo lusobola okuyamba mu kulonda ennyimba eziba zinaakozesebwa, gamba nga mu mboozi ya bonna.

17 Okusobola okuyamba buli omu okuyimba okuviira ddala ku mutima, ebigambo ebimu byakyusibwa okusobola okuggyayo obulungi amakulu era ebigambo ebimu ebitakyakozesebwa nnyo byaggibwamu. Ate era waliwo emitwe egimu egyakyusibwa. Ng’ekyokulabirako, omutwe ogugamba nti “Kuumanga Omutima Gwo” gwakyusibwa ne bateekawo ogugamba nti “Tukuuma Emitima Gyaffe.” Lwaki? Ku nkuŋŋaana zaffe ennene n’entono kubaako abapya bangi, abayizi ba Bayibuli, abaana abato, ne bannyinaffe, era bwe babaddenga bayimba ebigambo “kuuma omutima gwo” babadde bayimba balimu enkenyera olw’okuba babadde ng’abalagira abalala eky’okukola. N’olwekyo, omutwe gw’oluyimba olwo awamu n’ebigambo byakyusibwa.

Mwegezeemu ennyimba mu kusinza kw’amaka (Laba akatundu 18)

18. Lwaki tusaanidde okuyiga okuyimba ennyimba eziri mu katabo kaffe ak’ennyimba akapya? (Laba obugambo obuli wansi.)

18 Ennyimba nnyingi eziri mu katabo “Muyimbire Yakuwa n’Essanyu” ziri mu ngeri ya ssaala. Osobola okuyimba ennyimba ezo okwoleka enneewulira zo eri Yakuwa. Ennyimba ezimu zituyamba ‘okukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’ (Beb. 10:24) Tusaanidde okufuba okumanya ebigambo ebiri mu nnyimba ezo n’engeri gye ziyimbibwamu. Ekyo tuyinza okukikola nga tuwuliriza ennyimba ezo ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Bwe weegezaamu mu nnyimba ezo awaka, ojja kuyiga okuziyimba n’ebbugumu era ng’oziyimba okuviira ddala ku mutima. *

19. Ffenna mu kibiina tuyinza tutya okwenyigira obutereevu mu kusinza Yakuwa?

19 Bulijjo kijjukirenga nti okuyimba kitundu kikulu eky’okusinza kwaffe. Y’emu ku ngeri gye tulagamu nti twagala Yakuwa era nti tusiima by’atukolera. (Soma Isaaya 12:5.) Bw’oyimbira Yakuwa n’essanyu, kireetera n’abalala okukola kye kimu. Mu butuufu, ffenna abato, abakulu, n’abapya, tusaanidde okwenyigira mu kitundu kino ekikulu eky’okusinza kwaffe. Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kuyimba. Era ba mumalirivu okukolera ku bigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bino: ‘Yimbira Yakuwa!’ Mazima ddala ffenna tusaanidde okuyimbira Yakuwa n’essanyu.​—Zab. 96:1.

^ lup. 11 Okumanya ebisingawo ku ngeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tuyimbamu, genda ku ttivi yaffe, olabe programu ya Ddesemba 2014 (video category FROM OUR STUDIO).

^ lup. 18 Okusobola okutuyamba okwetegekera okuyimba, obuyimba buteekebwako okumala eddakiika kkumi ng’ekitundu eky’oku makya n’eky’olweggulo eby’enkuŋŋaana zaffe ennene tebinnatandika. Obuyimba obwo bukubibwa okutuyamba okuteekateeka omutima gwaffe n’ebirowoozo byaffe okuganyulwa mu programu. N’olwekyo obuyimba obwo bwe butandika tusaanide okutuula mu bifo byaffe tubuwulirize.