OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ddesemba 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Febwari 3–Maaki 1, 2020.

Waliwo Ekiseera eky’Okukola n’Eky’Okuwummula

Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebikwata ku Ssabbiiti Abayisirayiri ze baakwatanga era tulabe engeri gye bituyamba okumanya endowooza gye tusaanidde okuba nayo ku kukola ne ku kuwummula.

Yakuwa Akuwa Eddembe

Jjubiri eyaliwo edda etujjukiza enteekateeka Yakuwa gy’atukoledde ey’okutuwa eddembe.

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Amateeka gaali gagamba nti singa omusajja yakwatiranga omuwala “ku ttale” eyali yalagaana okufumbiriganwa n’omusajja omuwala oyo n’akuba enduulu, omuwala teyabangako musango gwa bwenzi naye ye omusajja yabangako omusango. Lwaki?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Sitaani bwe yagamba Kaawa nti bwe yandiridde ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi teyandifudde, yali atandikawo endowooza bangi gye balina leero nti omuntu bw’afa waliwo ekisigala nga kiramu?

Yakuwa Omumanyi Kyenkana Wa?

Kitegeeza ki okumanya Yakuwa, era biki bye tuyigira ku Musa ne Kabaka Dawudi ku ngeri gye tuyinza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Baagale Yakuwa

Abazadde bayinza batya okutendeka abaana baabwe okwagala Yakuwa n’okumuweereza?

“Mwebazenga Olwa Buli Kintu Kyonna”

Waliwo ensonga nnyingi lwaki tusaanidde okuba abantu abasiima.

Okyajjukira?

Onyumiddwa okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ezaafuluma mu myezi egiyise? Laba obanga okyajjukira.

Olukalala lw’Emitwe mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Zuukuka! eza 2019

Olukalala lw’ebitundu ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Zuukuka! eza 2019.