Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 52

Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Baagale Yakuwa

Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Baagale Yakuwa

“Abaana busika okuva eri Yakuwa.”​—ZAB. 127:3.

OLUYIMBA 134 Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda

OMULAMWA *

1. Buvunaanyizibwa ki Yakuwa bw’akwasizza abazadde?

YAKUWA yatonda abafumbo abaasooka nga baagala okuzaala abaana. Tekyewuunyisa nti Bayibuli egamba nti: “Abaana busika okuva eri Yakuwa.” (Zab. 127:3) Ekyo kitegeeza ki? Watya singa mukwano gwo akusaba okumuterekera ssente ennyingi ennyo. Wandiwulidde otya? Oboolyawo kikuleetera essanyu okuba nti akwesize. Naye era oyinza okweraliikirira engeri gy’onookuumamu ssente ezo. Yakuwa ye Mukwano gwaffe asingayo era akwasizza abazadde ekintu ekisingira ewala ssente okuba eky’omuwendo. Abakwasizza obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaana baabwe n’okukakasa nti abaana abo baba basanyufu.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

2 Ani asaanidde okusalawo obanga abafumbo bandizadde abaana na ddi lwe bandizadde? Era kiki abazadde kye bayinza okukola okusobozesa abaana baabwe okuba abasanyufu? Tugenda kulaba egimu ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda egisobola okuyamba omwami n’omukyala Abakristaayo okusalawo obulungi.

SSA EKITIIBWA MU EKYO OMWAMI NE MUKYALA WE KYE BABA BASAZEEWO

3. (a) Ani asaanidde okusalawo obanga omwami n’omukyala banaazaala abaana? (b) Musingi ki ogwa Bayibuli ab’eŋŋanda ne mikwano gy’omwami n’omukyala abafumbo gwe basaanidde okujjukira?

3 Mu buwangwa obumu, omusajja n’omukazi bwe bafumbiriganwa baba baasuubirwa okuzaala abaana amangu ddala nga bwe kisoboka. Ab’eŋŋanda zaabwe n’abalala bayinza n’okubapikiriza okuzaala amangu abaana. Jethro, ow’oluganda abeera mu Asiya, agamba nti, “Mu bibiina, abafumbo abamu abalina abaana bapikiriza abo abatalina baana okuzaala.” Jeffrey, ow’oluganda omulala ow’omu Asiya agamba nti, “Abamu bagamba abafumbo abatalina baana nti tebajja kuba na muntu abalabirira nga bakaddiye.” Naye omwami n’omukyala abafumbo be balina okwesalirawo obanga banaazaala abaana. Obwo buvunaanyizibwa bwabwe, so si bwa muntu mulala yenna. (Bag. 6:5) Kyo kituufu nti ab’eŋŋanda ne mikwano gy’abo ababa baakafumbiriganwa baba babaagaliza okuba abasanyufu. Naye balina okukijjukira nti eky’okusalawo okuzaala oba obutazaala kiri eri abafumbo abo.​—1 Bas. 4:11.

4-5. Nsonga ki ebbiri omwami n’omukyala ze basaanidde okukubaganyaako ebirowoozo, era ddi lwe basaanidde okuzoogerako? Nnyonnyola.

4 Omwami n’omukyala abasalawo okuzaala abaana basaanidde okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino ebibiri ebikulu: Ekisooka, ddi lwe bandyagadde okuzaala? Eky’okubiri, baana bameka be baagala okuzaala? Ddi omwami n’omukyala lwe basaanidde okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo ebyo? Era lwaki ensonga ezo ebbiri nkulu?

5 Kiba kirungi omusajja n’omukazi okwogera ku nsonga ey’okuzaala abaana nga tebannafumbiriganwa. Lwaki? Kikulu okuba n’endowooza y’emu ku nsonga eyo. Era basaanidde okumanya obanga beetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa obwo. Abafumbo abamu basazeewo okulindako waakiri omwaka gumu oba ebiri nga tebannazaala kubanga okulabirira abaana kitwala ebiseera bingi n’amaanyi. Baba baagala okusooka okwewa akadde okumanyiira obulamu bw’obufumbo n’okunyweza enkolagana yaabwe.​—Bef. 5:33.

6. Olw’okuba tuli mu biseera bizibu nnyo, kiki abafumbo abamu kye basazeewo?

6 Abakristaayo abamu basazeewo okukoppa batabani ba Nuuwa abasatu ne bakyala baabwe. Batabani ba Nuuwa ne bakyala baabwe baalindako okuzaala. (Lub. 6:18; 9:18, 19; 10:1; 2 Peet. 2:5) Yesu yageraageranya ekiseera kyaffe ku ‘nnaku za Nuuwa,’ era tewali kubuusabuusa nti ebiseera bye tulimu “bizibu nnyo.” (Mat. 24:37; 2 Tim. 3:1) Olw’ensonga eyo, abafumbo abamu basazeewo okulindako okuzaala basobole okwemalira mu bujjuvu ku kuweereza Yakuwa.

Abafumbo bwe basalawo obanga banaazaala abaana na baana bameka be banaazaala, kiba kirungi ne basooka ‘okubalirira’ ebizingirwamu (Laba akatundu 7) *

7. Emisingi egiri mu Lukka 14:28, 29 ne Engero 21:5 giyamba gitya omwami n’omukyala?

7 Abafumbo bwe basalawo obanga banaazaala abaana na baana bameka be banaazaala, kiba kirungi ne basooka ‘okubalirira’ ebizingirwamu. (Soma Lukka 14:28, 29.) Abazadde bakimanyi nti okukuza abaana kitwala ssente nnyingi. Ate era kitwala ebiseera n’amaanyi. N’olwekyo kikulu omwami n’omukyala okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ffembi kinaatwetaagisa okukola okusobola okufuna ebyetaago by’amaka gaffe? Tulina endowooza y’emu ku bintu bye tutwala nti bye byetaago by’amaka gaffe? Ffembi bwe kinaaba kitwetaagisa okukola, ani anaalabirira abaana baffe? Ani anaasinga okukwata ku ndowooza yaabwe ne ku bikolwa byabwe?’ Omusajja n’omukazi abakubaganya ebirowoozo ku bibuuzo ebyo baba bakolera ku bigambo ebiri mu Engero 21:5.​Soma.

Omusajja ayagala mukyala we afuba okumuyambako (Laba akatundu 8)

8. Kusoomooza ki Abakristaayo abafumbo kwe basaanidde okusuubira, era kiki omwami ayagala mukyala we ky’akola?

8 Buli mwana aba yeetaaga buli omu ku bazadde be okumuwa obudde. N’olwekyo omwami n’omukyala bwe bazaalira abaana okumu okumu, kiyinza okubazibuwalira okuwa buli mwana obudde bwe yeetaaga. Abazadde abamu abaazaalira abaana okumu okumu bagamba nti baawulira nga kibasukkiriddeko. Maama ayinza okuwulira nga buli kiseera mukoowu mu mubiri ne mu birowoozo. Ekyo kiyinza okukifuula ekizibu gy’ali okwesomesa, okusaba, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa. Ate era kiyinza okumuzibuwalira okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana n’okuziganyulwamu. Kya lwatu nti omusajja ayagala mukyala we afuba okumuyambako ku baana nga bali mu nkuŋŋaana n’awaka. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuyambako mukyala we ku mirimu gy’awaka. Akola kyonna ekisoboka okulaba nti bonna baganyulwa mu Kusinza kw’Amaka. Ate era taata Omukristaayo agenda wamu n’ab’omu maka ge okubuulira obutayosa.

OKUYIGIRIZA ABAANA OKWAGALA YAKUWA

9-10. Kiki abazadde kye balina okukola okuyamba abaana baabwe?

9 Ebimu ku bintu abazadde bye basobola okukola okuyamba abaana baabwe okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumwagala bye biruwa? Bayinza batya okukuuma abaana baabwe ne batoonooneka mpisa? Lowooza ku bimu ku bintu abazadde bye basobola okukola.

10 Musabe Yakuwa abayambe. Lowooza ku kyokulabirako bazadde ba Samusooni, Manowa ne mukyala we, kye bassaawo. Manowa ne mukyala we bwe baakitegeera nti baali bagenda kuzaala omwana, baasaba Yakuwa abawe obulagirizi ku ngeri y’okukuzaamu omwana oyo.

11. Nga bwe kiragibwa mu Ekyabalamuzi 13:8, abazadde bayinza batya okukoppa Manowa?

11 Nihad ne Alma ab’omu Bosnia and Herzegovina, baakoppa ekyokulabirako kya Manowa. Bagamba nti: “Okufaananako Manowa, twasaba Yakuwa atuwe obulagirizi ku ngeri gye twali tuyinza okuba abazadde abalungi. Era Yakuwa yaddamu okusaba kwaffe mu ngeri ez’enjawulo ng’ayitira mu Byawandiikibwa, ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, n’enkuŋŋaana ennene n’entono.”​—Soma Ekyabalamuzi 13:8.

12. Kyakulabirako ki Yusufu ne Maliyamu kye baateerawo abaana baabwe?

12 Mubayigirize nga mussaawo ekyokulabirako. By’oyogera bikulu, naye by’okola bye bijja okusinga okukwata ku mwana wo. Tewali kubuusabuusa nti Yusufu ne Maliyamu baateerawo abaana baabwe, nga mw’otwalidde Yesu, ekyokulabirako ekirungi. Yusufu yakolanga nnyo okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Ate era yabayamba okusiima ebintu eby’omwoyo. (Ma. 4:9, 10) Wadde ng’Amateeka gaali tegeetaagisa Yusufu kutwala ba mu maka ge e Yerusaalemi “buli mwaka” okukwata embaga ey’Okuyitako, yabatwalanga. (Luk. 2:41, 42) Bataata abamu mu kiseera kye bayinza okuba ng’eky’okutwala ab’omu maka gaabwe e Yerusaalemi baali bakitwala ng’ekibakaluubiriza, ekitwala ebiseera ebingi, ne ssente ennyingi. Naye Yusufu yali asiima nnyo ebintu eby’omwoyo era yayamba n’ab’omu maka ge okubisiima. Ne Maliyamu naye yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa, Maliyamu ateekwa okuba nga yayigiriza abaana be okwagala Ekigambo kya Katonda.

13. Nihad ne Alma baakoppa batya Yusufu ne Maliyamu?

13 Nihad ne Alma, aboogeddwako waggulu, baafuba okukoppa Yusufu ne Maliyamu. Ekyo kyabasobozesa kitya okuyamba omwana waabwe okwagala Katonda n’okumuweereza? Bagamba nti, “Mu ngeri gye tweyisaamu, twafuba okuyamba mutabani waffe okukiraba nti kirungi nnyo okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Yakuwa.” Nihad agamba nti, “Beera ekyo ky’oyagala omwana wo okuba.”

14. Lwaki abazadde basaanidde okumanya mikwano gy’abaana baabwe?

14 Muyambe abaana bammwe okulonda emikwano emirungi. Taata ne maama bombi beetaaga okumanya mikwano gy’abaana baabwe na biki bye bakola. Ekyo kizingiramu abazadde okumanya baani abaana baabwe be bawuliziganya nabo ku mikutu emigattabantu oba ku masimu gaabwe. Emikwano abaana gye baba nagyo gikola kinene nnyo ku ndowooza yaabwe ne ku nneeyisa yaabwe.​—1 Kol. 15:33.

15. Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku Jessie?

15 Kiki abazadde kye bayinza okukola singa baba tebamanyi bulungi kukozesa kompyuta n’ebirala ebiringa ebyo? Jessie, taata abeera mu Philippines, agamba nti: “Twali tumanyi kitono nnyo ku tekinologiya. Naye ekyo tekyatulemesa kuyamba baana baffe kumanya obumu ku buzibu obuli mu kukozesa amasimu ne kompyuta.” Jessie teyagaana baana be kukozesa bintu ebyo olw’okuba ye yali tamanyi kubikozesa. Agamba nti: “Nnakubiriza abaana bange okukozesa amasimu ne kompyuta zaabwe okuyiga olulimi olupya, okutegeka enkuŋŋaana, n’okusoma Bayibuli buli lunaku.” Abazadde, mufubye okusoma era n’okukubaganya ebirowoozo n’abaana bammwe ku magezi amalungi agakwata ku kuweereza abalala obubaka n’ebifaananyi ku masimu oba ku kompyuta agasangibwa wansi w’ekitundu “Abavubuka,” ku jw.org®? Mwakubaganya nabo ebirowoozo ku vidiyo Essimu Yo y’Ekifuga oba Ggwe Agifuga? ne Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi? * Ebintu ebyo bisobola okubayamba okuyigiriza abaana bammwe engeri y’okukozesaamu essimu ne kompyuta mu ngeri ey’amagezi.​—Nge. 13:20.

16. Kiki abazadde bangi kye bakola, era biki ebivaamu?

16 Abazadde bangi bafuba okuyamba abaana baabwe okubeerako n’abantu abassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuweereza Katonda. Ng’ekyokulabirako, N’Déni ne mukyala we Bomine, ababeera mu Côte d’Ivoire, baateranga okusuza omulabirizi akyalira ebibiina mu maka gaabwe. N’Déni agamba nti: “Ekyo kyayamba nnyo mutabani waffe. Yatandika okuweereza nga payoniya era kati aweereza ng’omuyambi w’abalabirizi abakyalira ebibiina.” Osobola okukolera abaana bo enteekateeka efaananako bw’etyo?

17-18. Abazadde banditandise ddi okutendeka abaana baabwe?

17 Mutandike okutendeka abaana bammwe nga bakyali bato ddala. Abazadde bwe batandika nga bukyali okutendeka abaana baabwe, kivaamu ebirungi. (Nge. 22:6) Lowooza ku Timoseewo, oluvannyuma eyatambulanga n’omutume Pawulo. Maama wa Timoseewo, Ewuniike, ne jjajjaawe, Looyi, baamutendeka “okuva mu buwere.”​—2 Tim. 1:5; 3:15.

18 Jean-Claude ne mukyala we Peace nabo ababeera mu Côte d’Ivoire baasobola okuyamba abaana baabwe bonna omukaaga okwagala Yakuwa n’okumuweereza. Kiki ekyabayamba? Baakoppa Ewuniike ne Looyi. Bagamba nti, “Twatandika okuyigiriza abaana baffe Ekigambo kya Katonda okuviira ddala nga bakyali bawere.”​—Ma. 6:6, 7.

19. Kiki ekizingirwa mu kuyigiriza abaana bo Ekigambo kya Katonda?

19 Kiki ekizingirwa mu ‘kuyigiriza’ abaana Ekigambo kya Yakuwa? Kizingiramu ‘okubategeeza n’okubajjukiza ekintu nga tukiddiŋŋana enfunda n’enfunda.’ Ekyo okusobola okukikola kiba kyetaagisa abazadde okuwangayo ebiseera okubeera n’abaana baabwe. Abazadde abamu bawulira nga kibamalamu amaanyi okujjukiza abaana baabwe ekintu kye kimu enfunda n’enfunda. Naye ekyo abazadde basaanidde okukitwala ng’emu ku ngeri gye bayambamu abaana baabwe okutegeera Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako.

Abazadde basaanidde okumanya engeri y’okutendekamu buli omu ku baana baabwe (Laba akatundu 20) *

20. Nnyonnyola engeri Zabbuli 127:4 gy’eyinza okutuyamba nga tuyigiriza abaana baffe.

20 Mumanye abaana bammwe. Zabbuli 127 egeraageranya abaana ku busaale. (Soma Zabbuli 127:4.) Ng’obusaale bwe buyinza okukolebwa mu bintu eby’enjawulo era nga bwawukana mu bunene, abaana nabo baawukana. N’olwekyo abazadde basaanidde okumanya engeri y’okutendekamu buli omu ku baana baabwe. Ow’oluganda omu ne mukyala we ababeera mu Isirayiri abaasobola okuyamba abaana baabwe ababiri okuweereza Yakuwa bagamba nti, “Buli mwana twamusomesanga yekka.” Kya lwatu nti kiri eri buli mutwe gw’amaka okulaba obanga kyetaagisa okusomesa abaana be bw’atyo era obanga kisoboka.

YAKUWA AJJA KUBAYAMBA

21. Yakuwa ayamba atya abazadde?

21 Oluusi abazadde bayinza okuwulira nga tekibanguyira kuyigiriza baana baabwe, naye abaana kirabo okuva eri Yakuwa. Bulijjo Yakuwa mwetegefu okuyamba abazadde. Awuliriza essaala zaabwe. Era addamu essaala ezo okuyitira mu Bayibuli, ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, ne mu byokulabirako ebirungi eby’abazadde mu kibiina abalina obumanyirivu.

22. Ebimu ku bintu ebisingayo obulungi abazadde bye bayinza okuwa abaana baabwe bye biruwa?

22 Wadde ng’abantu abamu bagamba nti kitwala emyaka 20 okukuza omwana, omuzadde asigala muzadde. Ebimu ku bintu ebisingayo obulungi abazadde bye basobola okuwa abaana baabwe kwe kwagala, ebiseera, n’okubayigiriza emisingi egiri mu Bayibuli. Okutendekebwa buli mwana akukolerako mu ngeri ya njawulo. Abaana bangi abakuziddwa abazadde abaagala Yakuwa bawulira nga mwannyinaffe Joanna Mae, ow’omu Asiya, eyagamba nti: “Bwe ndowooza ku kutendekebwa kwe nnafuna okuva eri bazadde bange, nsiima nnyo okuba nti banjigiriza okwagala Yakuwa. Tebampa buwi bulamu, naye bampa obulamu obw’amakulu.” (Nge. 23:24, 25) Baganda baffe ne bannyinaffe bangi nabo bawulira nga Joanna.

OLUYIMBA 59 Ya Mutenderereze Wamu Nange

^ lup. 5 Omusajja n’omukazi abafumbo bandizadde abaana? Singa basalawo okuzaala, baana bameka be basaanidde okuzaala? Era bayinza batya okutendeka abaana baabwe baagale Yakuwa era bamuweereze? Ekitundu kino kirimu ebyokulabirako eby’omu kiseera kyaffe era kyogera ne ku misingi okuva mu Bayibuli egisobola okutuyamba okuddamu ebibuuzo ebyo.

^ lup. 15 Laba ne Questions Young People Ask​Answers That Work, Omuzingo 1, essuula 36, ne Omuzingo 2, essuula 11.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Omwami n’omukyala Abakristaayo nga bakubaganya ebirowoozo ku ky’okuzaala oba obutazaala, era balowooza ku ssanyu eririmu n’obuvunaanyizibwa obuzingirwamu.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga buli mwana bamuyigiriza yekka olw’emyaka gye n’obusobozi bwe.