Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mwebazenga Olwa Buli Kintu Kyonna”

“Mwebazenga Olwa Buli Kintu Kyonna”

OLI muntu eyeebaza? Ffenna twetaaga okulowooza ku kibuuzo ekyo. Bayibuli egamba nti abantu bangi mu kiseera kyaffe bandibadde “tebeebaza.” (2 Tim. 3:2) Oboolyawo naawe olaba abantu abamu abakitwala nti abalala balina okubakolera ebintu ebitali bimu oba nti balina okubaako bye babawa. Bakitwala nti tebeetaaga kusiima balala olw’ebyo bye baba babakoledde. Kya lwatu nti tetwandyagadde kuba na bantu ng’abo.

Kyokka Yakuwa akubiriza abaweereza be ‘okulaga nti basiima.’ Mu butuufu tusaanidde ‘okwebazanga olwa buli kintu kyonna.’ (Bak. 3:15; 1 Bas. 5:18) Okuba n’omwoyo ogw’okwebaza kituganyula. Ka tulabeyo ensonga lwaki kikulu okwebaza.

OKUSIIMA ABALALA KITULEETERA OKUWULIRA OBULUNGI

Emu ku nsonga lwaki twandisiimye abalala eri nti kituleetera okuwulira obulungi. Omuntu atera okusiima abalala emirundi mingi awulira bulungi era n’abo b’asiima bawulira bulungi. Lwaki kiri bwe kityo? Lowooza ku kyokulabirako kino: Bwe wabaawo omuntu awaayo ebiseera bye okubaako ky’akukolera, kiba kiraga nti omuntu oyo akitwala nti ogwanira okukolerwa ekintu ekyo. Aba alaga nti akufaako. Bw’okimanya nti omuntu oyo akufaako, kikuleetera okuwulira obulungi. Bwe kityo bwe kyali eri Luusi. Bowaazi yalaga Luusi ekisa. Kya lwatu nti kyasanyusa nnyo Luusi bwe yamanya nti waliwo amufaako.​—Luus. 2:10-13.

Okusingira ddala kikulu okusiima Katonda. Tusaanidde okufunangayo akadde ne tufumiitiriza ku birungi ebingi Yakuwa by’atukolera awamu n’ebyo by’akolera abaagalwa baffe. (Ma. 8:17, 18; Bik. 14:17) Okufumiitiriza ku bintu Omutonzi wo by’akukolera kijja kukuleetera okweyongera okumusiima era ojja kwongera okukiraba nti akwagala nnyo.​—1 Yok. 4:9.

Ng’oggyeeko okufumiitiriza ku birungi Yakuwa by’akukolera, era osaanidde okumwebaza. (Zab. 100:4, 5) Okwebaza kireeta essanyu.

BW’OSIIMA ABALALA KIREETERA ENKOLAGANA YAMMWE OKUNYWERA

Ensonga endala lwaki osaanidde okusiima abalala eri nti kinyweza enkolagana yo nabo. Ffenna twetaaga okusiimibwa. Bw’osiima omuntu aba alina ekintu ky’akukoledde, enkolagana yo naye yeeyongera okunywera. (Bar. 16:3, 4) Ate era abantu abasiima abalala, emirundi mingi bayamba abalala. Basiima ebirungi ebibakolerwa ne kibaleetera nabo okwagala okubaako ebirungi bye bakolera abalala. Mazima ddala, okuyamba abalala kireeta essanyu. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Bik. 20:35.

Robert Emmons, omu ku badayirekita ba yunivasite emu mu California yagamba nti: “Okusobola okusiima abalala tulina okukijjukira nti buli omu yeetaaga munne. Ebiseera ebimu tubaako bye tugaba ate ebiseera ebirala babaako bye batuwa.” Okusobola okubeerawo n’okusigala nga tuli basanyufu, twetaaga abalala okutuyamba mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, bayinza okutuwa emmere oba okutujjanjaba. (1 Kol. 12:21) Omuntu asiima yeebaza abalala olw’ebyo bye baba bamukoledde. Olina empisa ey’okusiima abalala olw’ebyo bye bakukolera?

OKUSIIMA N’ENDOWOOZA GY’OLINA KU BULAMU

Ensonga endala lwaki kikulu okusiima abalala eri nti kikuyamba okussa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi mu kifo ky’okubissa ku bintu ebibi. Mu ngeri eyo, ebirowoozo byo biba ng’akasengejja. Weetaaga okussa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi mu kifo ky’okubimalira ku bizibu. Gy’okoma okusiima abalala gy’okoma okulaba ebirungi, era ekyo kikuleetera okwongera okusiima abalala. Okuba n’endowooza ennungi ku bulamu kijja kukuyamba okukola ekyo omutume Pawulo kye yayogera bwe yagamba nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe.”​—Baf. 4:4.

Okusiima kikuleetera okwewala endowooza enkyamu. Kiba kizibu okuba ng’osiima ate mu kiseera kye kimu n’oba ng’olina obuggya, ng’oli munakuwavu, oba ng’osibye ekiruyi. Abantu abasiima emirundi mingi tebaba na mwoyo gwa kwagala bintu. Baba bamativu ne bye balina.​—Baf. 4:12.

LOWOOZA KU BINTU EBIRUNGI BY’OFUNYE!

Abakristaayo tukimanyi nti Sitaani ayagala ebizibu bye twolekagana nabyo mu nnaku zino ez’enkomerero bitumaleko essanyu era bitumalemu amaanyi. Asanyuka nnyo singa ofuna omwoyo ogw’okwemulugunya. Ekyo kisobola okukuleetera obutakola bulungi mulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Mu butuufu okusiima kulina akakwate n’ekibala ky’omwoyo gwa Katonda, kubanga okulowooza ku birungi Katonda by’atukoledde n’okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bye kituleetera essanyu.​—Bag. 5:22, 23.

Okuva bwe kiri nti oli Mujulirwa wa Yakuwa, oteekwa okuba ng’okkiriziganya n’ebyo ebyogeddwa ku kusiima mu kitundu kino. Kyokka era okimanyi nti si kyangu okusiimanga abalala n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Naye ekyo tokikkiriza kukumalamu maanyi. Osobola okukulaakulanya okusiima. Mu ngeri ki? Bulijjo funangayo akadde ofumiitirize ku bintu ebibaddewo mu bulamu bwo ebyandikuleetedde okusiima. Gy’okoma okufumiitiriza ku bintu ebyo, gy’ojja okukoma okukulaakulanya okusiima. Ekyo kijja kukuyamba okuba omusanyufu okusinga abo abamalira ebirowoozo byabwe ku bizibu bye boolekagana nabyo mu bulamu. Ebirowoozo byo bisse ku bintu ebirungi Katonda n’abantu abalala bye bakola ebikuzzaamu maanyi era ebikuleetera essanyu. Oyinza n’okutandika okubaako w’obiwandiika. Buli lunaku oyinza okuwandiikayo ebintu bibiri oba bisatu ebikusanyusizza.

Abanoonyereza bagamba nti bwe tugifuula empisa yaffe okusiimanga abalala olw’ebirungi bye baba batukoledde kikwata ku ngeri obwongo bwaffe gye bukolamu ne kituyamba obuteekubagiza. Omuntu asiima aba musanyufu. Lowooza ku bintu ebirungi by’ofunye, sanyukira ebirungi by’oyiseemu, era bulijjo kirage nti osiima! Mu kifo ky’okukitwala nti ebintu ebirungi birina okukukolerwa, ‘weebazenga Yakuwa, kubanga mulungi.’ Mazima ddala, ‘weebazenga olwa buli kintu kyonna.’​—1 Byom. 16:34; 1 Bas. 5:18.