Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Sitaani bwe yagamba Kaawa nti bwe yandiridde ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi teyandifudde, yali atandikawo endowooza bangi gye balina leero nti omuntu bw’afa waliwo ekisigala nga kiramu?

Kirabika nedda. Omulyolyomi teyagamba Kaawa nti bwe yandiridde ku kibala Katonda kye yali abagaanye, yandirabise bulabisi ng’afudde naye ng’ekitundu kye ekitalabika (leero bangi kye bayita omwoyo) kisigadde kiramu ne kigenda okubeera mu kifo ekirala. Okuyitira mu musota, Sitaani yagamba nti Kaawa bwe yandiridde ku kibala, ‘teyandifudde’ n’akatono. Sitaani yali ategeeza nti Kaawa yandyeyongedde okuba omulamu, ng’ali mu bulamu obusingako obulungi ku nsi, nga tafugibwa Katonda.​—Lub. 2:17; 3:3-5.

Bwe kiba nti enjigiriza ey’obulimba egamba nti waliwo ekisigala nga kiramu ng’omuntu afudde teyatandikira mu Edeni, kati olwo yatandika ddi? Tetumanyi. Kye tumanyi kiri nti okusinza kwonna okw’obulimba kwasaanyizibwawo mu Mataba ag’omu kiseera kya Nuuwa. Tewali njigiriza n’emu ya bulimba yasigalawo oluvannyuma lw’Amataba, kubanga Nuuwa n’ab’omu maka ge abaali basinza mu ngeri entuufu bokka be baawonawo.

N’olwekyo enjigiriza eriwo leero egamba nti omuntu bw’afa wabaawo ekiwonawo eteekwa okuba nga yatandikawo oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa. Katonda bwe yatabulatabula ennimi e Babeeri, abantu “ne babuna ensi yonna,” baagenda n’enjigiriza yaabwe ey’obulimba egamba nti omuntu bw’afa wabaawo ekiwonawo. (Lub. 11:8, 9) Enjigiriza eyo k’ebe nga yatandikawo ddi, Sitaani Omulyolyomi “kitaawe w’obulimba,” ye yali emabega waayo era kyamusanyusa nnyo okulaba ng’esaasaana mu nsi yonna.​—Yok. 8:44.